Ebyobulamu
Okulwanyisa ebola kwakumala emyezi mukaaga
Abakola ku byobulamu bagamba nti obulwadde bwa Ebola obwalumba amawanga g’obuvanjuba bwa Africa bwkaumala emyezi emirala mukaaga nga bubatta . Ab’ekibiina kya Medecins Sans Frontieres bagamba nti obulwadde buno bwasooka kuyisibwaamu maaso nga kati busimbye amakanda kizibu okuziguukululwa Bano bakwataganye n’ab’ekibiina ky’ensi yonna eky’ebyobulamu abategeezezza […]
Abaana abazaalibwa ne Mukenenya bakendedde
Ministry y’ebyobulamu etegezeza ng’omuwendo gw’abaana abazalibwa n’akawuka kamukenenya bwegweyongedde okukendera. Okunonyera kulwaga nti abaana abazalibwa ne mukenenya bakendedde okuva ku baana 15,000 mu okutuuka ku baana 8,000 omwaka guno. Minister w’ebyobulamu Dr. Rukahana Rugunda agambye omuwendo guno okukka kivudde ku kawefube akoleddwa okutangira abaana okuzaala […]
Kenya eri mu bulabe bwa Ebola
Ekibiina ky’ebyobulamu eky’ensi yonna kigamba nti eggwanga lya Kenya liri mu bulabe bw’okulumbibwa ekirwadde kya Ebola Kino kiva ku nsonga eno abantu abasinga abatambula okugenda mu mawanga agali mu bugwanjuba bwa Africa bayita mu Kenya Ekibiina kino kati kiyisizza okulabula eri amawanga ga East […]
Okuyimba kwojiwaza obwongo bw’abaana
Okuyimba oba okukuba ebyuuma by’okuyimba kiyamba abaana okwongera okusoma . Abanonyereza okuva mu Amerika bagamba nti okuyimba kuyamba nnyo abaana abali wakati w’emyaka 9 ne 10 okwongera okuyiga n’okuwawula obwongo Bino byagezeseddwa ku bibinja by’abaana bibiri ng’emu kyabadde kisoma bwekiyimbamu ate ekirala nga kisoma busomi […]
Ebola atabukidde abe Liberia
Eggwanga lya Liberia lirangiridde nti omuwendo gw’abalina ekirwadde kya Ebola gubayitiriddeko obungi nga tebakyabasobola. Bano bagamba nti yadde bakola kyonna ekisoboka okutaasa abalwadde, omuwendo gwongera kukula Bbo ab’ekibiina ky’obwannakyeewa ekya MSF bagamba nti gavumenti yasooka n’enagayaalirira obulwadde buno nga yagenda okuzuukuka nga tewakyaali kizzibwa Abantu […]
Okunywa sigala eri abali embuto butwa
Abakyala bangi b’oyitako nga bafuuwa sigala kyokka nga bali mbuto Naye okimanyi nti sigala ono akosa okussa kw’omwana Kino kiva ku mukka guno okuzikira amawuggwe ge omukka ogussibwa neguba nga tegutambula bulungi Dr Daniel Kadomero okuva mu minisitule y’ebyobulamu agamba nti sigala ono alimu taaba […]
Ebiri mu nkambi ssi byaffe
Minisitule y’ebyobulamu yetegudde eky’obutakola kimala kutaasa bantu bali mu nkambi y’ababundabunda e Kyangwali endwadde okuli ekiddukano n’omusujja gw’ensiri. Enkambi eno erimu abantu abasoba mu 2561 wabula nga bonna bakozesa kabuyonjo emu. Kati omuwandiisi w’enkalakalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr.Asuman Lukwago agamba minisitule y’ebigwa tebiraze yerina okutegekera […]
Amaggye gayingidde mu bya Ebola
Amaggye mu ggwanga lya Liberia gataddewo emisanvu egikoma ku bantu okuva mu bifo ebikoseddwa obulwadde bwa Ebola okuyingira ekibuga ekikulu Monrovia Kiddiridde omukulembeze w’eggwanga lino Johnson Sirleaf okulangirira akaseera k’akatyabaga mu ggwanga lye Obulwadde bwa Ebola bwongedde okutabuka nga bwakatta abantu 930 mu mawanga g’obugwanjuba […]
Aspirin akola ku kokoolo
Okumira eddagala lya Aspirin okumala ebbanga eddene kiyamba okukendeeza ku bulabe bw’omuntu okufuna kokoolo w’ebyenda Mu ngeri yeemu era Aspirin ono ayamba ne ku kokoolo w’emimiro Abanonyereza bagamba nti omuntu bw’amira Aspirin okumala emyaka 10 kimuyamba obutafa kokoolo w’ebika ebyo okumala ebitundu 35 okutuukira ddala […]
Abasawo b’ebicupuli bakwatiddwa
Mu disitulikiti ye Lwengo abasawo b’ebichupuli 20 bakwatiddwa. Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa abakulira eb’obulamu mu disitulikiti eno ne poliisi nga basangiddwa nga tebalina layisinsi ssaako n’okukolera mu bifo ebijama. Okusinziira ku akulira okulondoola eby’obulamu mu kitundu Michael Kayizi, bakoze ekikwekweto kino oluvanyuma lw’okukizuula nti […]