Ebyobulamu

Temwooza nkoko- basawo

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

Obadde okimanyi nti okwooza enkoko ngogenda okugifumba kyabulabe. Abantu balina ensonga za njawulo ezibakozesa kino ng’abamu bakikola kuyonja nkolo eno, abalala kujjako buwuka ate abalala bakikola kubanga bakula bakiraba Abasawo abakugu mu by’emmere wansi w’ekibiina kya FSA bagamba nti enkoko zibaako obuwuka nga busobola okusigala […]

Ensimbi mu byobulamu ntono- Bannakyeewa

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

Ebibiina by’obwannakyeewa byagaala gavumenti ensimbi z’ennajja mu mafuta zissibwe mu byobulamu Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku byobulamu , omukungu okuva mu kibiina kya bannakyeewa ekikola ku by’embalirira, David Walakira agambye nti eby’obulamu biri mu nyanga era nga byetaaga okutereeza okulaba nti abantu bongera […]

Kizaala ggumba abulamu

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

Gavumenti yeeyamye okwongera ensimbi mu kutuusa enkola za kizaala ggumba ku bantu. Ekigendererwa kulaba nti abakyala n’abaami bongera okuganyulwa. Kamisona akwataganya minisitule y’ebyobulamu n’abantu ba bulijjo Dr. Anthony Mbonye anyonyodde nti kino kijja kuyamba nnyo okukendeeza ne ku muwendo gw’abakyala abafiira mu sanya kko n’obwaavu […]

Abaana bakugemebwa kokoolo

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

Minisitule y’ebyobulamu mu ggwanga ekakasizza nti omwaka ogujja, yakugema abaana bonna abawala kokoolo wa Nabaana. Abawala abatunuuliddwa beebemyaka ekkumi . Atwala ekiwayi ekikola ku ndwadde ezitasiigibwa mu minisitule eno, Gerald Mutungi agambye nti baafunye ensimbi okuva mu GAVI okuyambako okugema abaana abawala. Ekigendererwa kyakukendeeza mikisa […]

Basayansi bafunye essuubi ku mukenenya

Ali Mivule

July 22nd, 2014

No comments

Bannasayansi bagambanti basemberedde okutuuka ku kuzuula eddagala lya Mukenenya nga lino likwekulayo akawuka yonna gyekaba kekweese Kiddiridde abasawo bano okuzuula nti ensonga lwaki siriimu abadde muzibu okuwonyezebwa yensonga nti bw’akwata omuntu amusensera mu buli kanyomero era ng’afuuka ekimu ku bikola omusaayi gwe. Wabula okunonyereza okukoleddwa […]

Abasawo b’obwongo batono

Ali Mivule

July 22nd, 2014

No comments

Omuwendo gw’abasawo abakola ku ndwadde ezokwata ku bwongo ogukendeera buli lunaku gwerarikiriza Abasawo bano benyini nabo bawulira obuzita olw’okuba nga batono nga bamaliriza bakooye nnyo n’obutakola bulungi ku bantu n’okubawa obudde Abasawo bano kati basabye nti ku buli ddwaliro lya gavumenti eddene wabeewo abasawo b’ekika […]

Akawuka ka siriimu kanafuwa bunafuyi

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Okunonyereza okukoleddwa kwolese nti akawuka ka mukenenya bwekabaako eddagala kalina engeri gyekanafunawa ekivaako abantu okulowooza nti baba bawonye naye nga ssi bweguba Kino kiddiridde omwana eyalangirirwa okubeera nti awonye siriimu ate okuddamu okumukebera nebasanga akawuka mu musaayi Abanonyereza ku mukenenya bagamba nti kino kirumya omutwe […]

Dembe egabudde ba maama

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Kati nga tusemberera olunaku lwa Eid, abantu abasinga tebagyesunga olw’embeera yaabwe ey’obulamu eteyagaza. Bangi baafuuka balunumma nga era tebalina ssuubi. Mu kino 90.4 Dembe Fm , abakozi b’engato aba BATA wamu ne Hotel Africana basazeewo okuddukirira ba maama n’okusingira ddala abasulirira okuzaala n’ebintu ebikozesebwa mu […]

Omugejjo gutabudde abazungu

Ali Mivule

July 17th, 2014

No comments

Omugejjo gutabukidde abazungu nga kati balabye biri bityo nebatandika okukugira obulango obutumbula emmere n’eby’okunywa ebiwoomerera era ebirimu butto. Obulwango bw’ekika kino ssibwakuddamu kuyita misana oba okuva bbalaza okutuuka ku lw’okutaano. Obulwango buno bagenda kubuwera mu bibanda Mu ggwanga lya Mexico , abantu abakulu ebitundu 70% […]

Siirimu wakukendeera

Ali Mivule

July 17th, 2014

No comments

Essuubi litandise okulabikako nti obulwadde bwa mukenenya buggya kuba bukkakkanyiziddwa omwaka 2030 wegunaatuukira Bino biri mu alipoota eyafulumiziddwa ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku bulwadde bwa mukenenya Alipoota eraga nti omuwendo gw’abantu abafuna obulwadde bwa Mukenya n’abafa guzze gukendeera Wabula ekibiina kino kigamba nti kino ssikyakujjira […]