Ebyobulamu
Ebola ayongedde okusensera- omumerica assiddwa mu nkambi
Obulwadde bwa Ebola bwongedde okutabuka nga mu ggwanga lya Ghana waliwo omumerika agambibwa okuba ng’afunye obulwadde buno Omusajja ono assiddwa mu nkambi yekka nga bwebakyagenda n’okumwekebejja Obulwadde buno bwakatta abantu abasoba mu 460 bukyanga bubalukawo mu ggwanga lya Guinea nebutandika okubuna okutuuka mu Liberia ne […]
Poliisi yakujjanjaba abantu
Poliisi etongozezza kawefube w’okujjanjaba abantu ng’ebimu ku bikujjuko byaayo eby’okukuza emyaka 100 Omukolo gubadde ku kibangirizi ky’eggaali y’omukka. Amyuka oomuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano,Farouk Muyirima agamba nti bagenda kujjanjaba abantue ndwadde ezitali zimu ku bwereera nga kawefube waabwe ow’okubaddiza Kino kikolebwa mu malwaliro amanene […]
Amalwaliro gakuddabirizibwa
Minisitule y’ebyobulamu etegezezza nga bw’etadde ku mwanjo eky’okuddabiriza amalwaliro mu disitulikiti ezenjawulo mu mwaka gw’ebyensimbi guno. Omuwandiisi wenkalakalira mu minisitule eno , Dr. Asuman Lukwago agamba essaawa yonna eddwaliro ly’e Mulago lyakutandika okuddabirizibwa ssaako n’amalala agali mu mbeera embi nga mu disitulikiti endala. Batuunulidde amalwaliro […]
Abantu akakadde kalamba banywa sigala
Kikakasiddwa nga bana Uganda 1.3 bwebafuweeta oba okukozesa taaba. Alippota empya eraga nti bana Uganda 8 ku 10 bakozesa ebintu ebiva mu taaba. Okunonyereza kuno okwakolebwa mu mwezi gwa November era nti abasajja 11% banywa taaba ate abakyala 4.6% nabo bakozeza taaba. Akulira okunonyereza mu […]
Ebola atabuse mwegendereze – Gavumenti
Minisitule ekola ku byobulamu mu ggwanga eyisizza okulabula abantu ku kirwadde kya Ebola ekyakatta omusawo munnayuganda. Dr. Samuel Muhumuza yafudde obulwadde buno obwamukutte ng’akola ku balwadde mu ggwanga lya Liberia Obulwadde buno bwakatta abantu 400 ate abasoba mu 700 babulina nga bali mu mawanga ga […]
Envunza zibali bubi
Minisitule ekola ku byobulamu mu ggwanga esabiddwa okuyingira mu lutalo ku nvunza mu disitulikiti ye Namutumba. Kigambibwa okuba ng’abantu abasoba mu 10 beebatwalibwa mu ddwaliro lye Nsinze health center 4 ng’obuzibu nvunza. Omubaka omukyala owe Namutumba Florence Mutyabule agamba nti abasinze okukosebwa baana okuva mu […]
Eddagala eritta obuwuka lijja lifa
Ensi eyolekedde obuzibu bw’okwesanga nti kumpi eddagala ly’ebiwuka lyonna lyandikoma okukola ku bantu Katikkiro wa Bungereza david Cameron agamba nti eddagala lya antibiotics oba ery’ebiwuka lingi terikola ku bantu abamu naddala ssinga balikozesa okumala ebbanga. Ono agamba nti bbo nga Bungereza kati batandise okwetegereza eddagala […]
Amawanga gasisinkanye ku Ebola
Ba minister b’ebyobulamu okuva mu mawanga 11 basisinkanye mu kibuga kya Ghana ekikulu Accra okutema empenda ez’okuziyizaamu obulwadde bwa Ebola okwongera okutirimbula abantu. Obulwadde buno buli mubugwanjuba bwa Africa nga bwakatta abantu 468 ate ng’abali mu lusanvu nabo bali ku bitanda. Obulwadde buno buli mu […]
Enkwanso z’abasajja tezirina njawulo
Abakyala tebasaanye kweralikirira kuzaala mu basajja bakuliridde kubanga enkwanso zaabwe tezawukana ku bato Mu ggwanga lya Bungereza, abasajja abakuliridde beebasinga okugaba enkwaso eri abakyala abazaala mu ngeri y’ekubakubamu enkwaso kubanga nga bangi babadde bagaana enkwaso zino nga bagamba nti za basajja bakadde Abakugu ababadde bakola […]
Essimu eraga obuyonjo bwo
Endabika y’essimu eraga omutindo gw’obuyonjo bwe Bannasayansi okuva mu Amerika bagamba nti ebitundu 80 ku kikumi eby’obuwuka obukwata abantu buva ku ngalo ate zetukozesa okukwata amasimu. Kigambibwa okuba ng’omuntu omu akwata ku ssimu ye emirundi 150 olunaku kale ng’omuntu ssinga afuba okukuuma obuyonjo n’obutamala gassa […]