Ebyobulamu
Abe Kasese bakaaba- teri mazzi
Disitulikiti ye Kasese ali mu bulabe bw’okufuna ekirwadde kya Kkolera Kino kivudde ku mazzi aganjudde bukyanga mugga kwa Nyamwamba gubooga nga kati abaayo tebakyalina mazzi mayonjo. Omubaka omukyala owe Kasese Winnie Kiiza sagamba nti ekibuga kye Kasese kimaze ssabbiiti kati kumpi bbiri nga tekirina mazzi […]
Sukaali atuuza abazungu obufofofo
Mu ggwanga lya Bungereza abalwanyisa obulwadde bwa sukaali bagaala wabeewo emisolo emikakali ku sukaali Ab’ekibiina ekya Action on Sugar baliko ensonga musanvu zebalambuludde nga bagamba nti zeezivuddeko obulwadde buno obweyongera naddala ku baano Muno mwemuli eby’okunywa kko n’emmere ebijjudde sukaali nga buli omu byetettanira Bagaala […]
Okwoota omusana ssi kirungi
Omuntu okumala ebbanga ng’ayota omusana kisobola omufuuka omuze ate nga kyabulabe. Omusana ono gukaza olususu ekiyinza okuvaamu endwadde endala omuli n’okukaza omubiri. Okunonyereza kuno kukoleddwa ku mmese nga kati ekirindiriddwa kugezesebwa ku bantu. Wabula ate bannasayansi abalala bagamba nti okugamba nti okwoota omusana guyinza okufuuka […]
Essomero teririna kabuyonjo
Abakulu b’essomero lya Nakyesa Bright Future Primary School mu disitulikiti ye Kayunga bekubidde enduulu ku ssomero eryaggalwa lwabutaba na kabuyonjo. Akulira essomero lino, Anthony Gabunga agamba kati abayizi abasoba mu 700 bakoseddwa nga tebasoma lwabutaba na kabuyonjo. Bano kabuyonjo gyebalina yagwamu nga abayizi kati ensiko […]
Lunaku sikoseelo-obujjanjabi bubulamu
Abantu abaweza ebitundu 20 ku kikumi mu Uganda bali mu bulabe bw’okuzaala abaana abalina obulwadde bwa sikoseelo. Kino kyeralikiriza era nga kiraga nti waliwo obweetavu bw’amalwaliro g’obulwadde buno mu ggwanga Ng’ayogerera ku mikolo egy’okukuza olunaku luno mu nsi yonna wali ku hotel Africana, amyuka omukulembeze […]
Mulago -Ssente za Sikaani empya zirabise
Eddwaliro ekkulu e Mulago lyakugula ebyuuma ebipya nga bino bibalirirwaamu obukadde bwa doola 18. Omukulu addukanya eddwaliro lino David Nuwamanya agamba nti baamaze okufuna ensimbi okuva mu Banka ya Africa era ng’ebyuuma bigenda kutuuka akadde konna. Nuwamanya agamba nti kino kyakubayamba nnyo okukoma okusindika abantu […]
Ensimbi mu byobulamu tezimala
Ab’ebibiina by’obwa nakyeewa abali mu byobulamu basabye palamenti ereme kuyisa mbaliira ya byabulamu ssinga tessa ssira ku kutaasa abakyala abali embuto n’abaana baabwe. Bannakyeewa bano bagamba nti yadde ebyafulumye mu mbalirira biraga nti ebyobulamu byayongeddwaamu ssente, tekimala Akulira ekibiina ekirwanyisa mukenenya ekya White ribbon Alliance […]
Abafumbo beebasinga obwenzi- Alipoota
Disitulikiti ye Wakiso y’esinga omuwendo gw’abakyala abali embuto nga balina akawuka mukenenya. Abakyala 207 mu ssaabiiti emu bokka beebagenze okunywa eddagala nga balina akawuka. Wakiso eddibwaako kampala ng’eno abakyala b’embuto 74 beebakebeddwa nga balina akawuka Awo Mubende y’eddako n’abakyala 42 n’endala musanvu nezigoberegana. Muno mulimu […]
Ebola etuuse mu Liberia- asse musanvu
Obulwadde bwa Ebola butuuse mu kibuga kya Liberia ekikulu Monrovia nga bwakattayo abantu musanvu Abantu bano beebakasooka okufa mu kibuga bukyanga bulwadde buno bubakulawo mu mawanga ga Africa ng’awasinga bubadde mu byaalo. Ku bafudde kuliko omusawo n’abantu bana okuva mu nju eno nga kuliko ne […]
Aspirin temumuwa ba mutima
Abasawo bawereddwa amagezi okukozesa eddagala eppya ku bantu b’emitima mu kifo ky’okugaba Aspirin. Bino biri mu mateeka amappya agafulumiziddwa ettendekero ly’ebyobulamu mu ggwanga lya Bungereza. Bano bagamba Aspirin ono avaako abantu okusanyalala eky’obulabe eri obulamu. Ababadde bakozesa Aspirin bawereddwa amagezi okukozesa eddwagala eddala nga Warfarin […]