Ebyobulamu

Ebola etabuse- Abazungu badduse

Ali Mivule

June 3rd, 2014

No comments

Mu ggwanga lya Sierra Leone obulwadde bwa Ebola bwongedde okubasenkenya nga bbo abangereza balabye tebaabisobole nebajjayo abantu baabwe Abakozi abalala abakyaliyo balagiddwa obutamala gatayaaya era nga bakugiddwa. Bbo ab’ekibiina kyensi yonna ekikola ku byobulamu bagamba nti bakola kyonna ekisoboka okutangira ekirwadde kino okubuna Obulwadde buno […]

Eddagala eritta obulumi tewali

Ali Mivule

June 3rd, 2014

No comments

Ebbula ly’eddagala eritta obulumi eri abantu abalina endwadde ezitawona litandise okweralikiriza abasawo Kigambibwa okuba nti abantu obukadde 18 beebafiira mu bulumi obw’ekitalo buli mwaka olw’okubulawo eddagala erikkakkanya ku bulumi. Mu ggwanga lya Ethiopia wokka, abalwadde ba kokoolo kigambibwa okuba nti batuuka n’okwesuula mu motoka nga […]

Hepatitis B aremedde e Kasese

Ali Mivule

June 3rd, 2014

No comments

Obulwadde bw’ekibumba obumanyiddwa nga Hepatitis B, obwakwata abe Kasese temukwatiddwa mu ngeri ematiza Dr. Fredrick Businge agamba nti ab’obuyinza mu district eno tebakoze kimala kuyambako kusomesa bantu ku ngeri y’okwewalamu ekirwadde kino. Ono agamba nti mu kibuga kye Kasese kyokka, abantua baweza ebitundu 64% tebamanyi […]

Obutimba bw’ensiri tebumala

Ali Mivule

June 3rd, 2014

No comments

Ministule ekola ku byobulamu asabidwa okutandika kawefube w’okugaba obutimba mu malwaliro ne mu bisulo by’amasomero kawefube ku musujja gw’ensiri bw’aa wakuvaamu ebibala. Omubaka we Kasese omukyala Winfred Kiiza agamba nti yadde waliwo obutimba obugabwa mu maka, tekimala ssinga abamu balekebwa ebbali. Kiiza awadde eky’okulabirako eky’eddwaliro […]

Ebivavava birungi ku baana

Ali Mivule

June 2nd, 2014

No comments

\   Abaana abato basobola okwagala okulya ebivavava ssinga bitandika kubaweebwa nga tebannaweza myaka 2 nebasobola okubimanyiira Abaana bangi bagaana okulya ebivavava yadde nga birungi nnyo eri obulamu bwaawe Ebivava nno bino bitangira endwadde nyingi mu baana nebabeera nga balamu bulungi Abazadde bakubirizibwa okuwa abaana baabwe […]

Abalina Kkolera beeyongedde

Ali Mivule

June 2nd, 2014

No comments

Nga 2 bebakafa, omuwendo gwabantu abakakwatibwa ekirwadde kya Kkolera mu district ye Namayayingo gweyongedde okulinya okutuuka ku bantu 54, yadde nga ministry y’ebyobulamu n’abakulira ebyobulamu ku district bakola ekisoboka okutakiriza embeera. Omubaka wa pulezidenti mu district eno  Mpimbaza Ashaka ategezezza nga kati abamu ku balina […]

Etteeka ku sigala mulirinde

Ali Mivule

May 30th, 2014

No comments

Gavumenti yeeyamye okuyisa eteeka erikugira abantu naddala abavubuka okufuweeta ttaaba. Kino kibikuddwa minister w’ebyobulamu Dr. Ruhakana Rugunda ku mukolo gwokujukira olunaku lwokulwanyisa okufuweeta ttaaba munsi yonna. Lugunda asabye ebibiina ebirwanyisa okufuweeta ttaaba okukukwanta ensonga z’eteeka lino n’obugumikiriza. Buli nga 31 May, ekitongole  ky’ebyobulamu mu nsi […]

Abanene beeyongedde mu nsi

Ali Mivule

May 29th, 2014

No comments

Omuwendo gw’abantu abasukkiridde obunene gwongedde okulinnya okutuuka ku bantu obuwumbi 2 Omuwendo guno kumpi gwekubisizzaamu ng’abantu abaali abanene mu mwaka gwa 1980 baali obukadde 875 Okunonyereza okukoleddwa era kulaga nti tewabaddewo ggwanga lutuukirizza lutalo ku bunene Agamu ku mawanga agasingamu abantu abanene kuliko America, China, […]

Obuyonjo eri abakyala abali mu nsonga kikulu

Ali Mivule

May 28th, 2014

No comments

Olwaleero Uganda yeegasse ku ku nsi yonna okukuza olunaku lw’obuyonjo olwabawala abali mu nsonga. Olunaku luno lugendereddwamu kugonjoola bizibu abakyaala n’abawala byebayitamu nga bali mu nnaku zaabwe. Mu mwaka gwa  2012, ekibiina okuva mu ggwanga lya Budaaki ekya  Netherlands Development Organisation kyakola okunonyereza nekizuula nti […]

Obulwaliro 3000 bwebwakaggalwa

Ali Mivule

May 27th, 2014

No comments

Obulwaaliro obutunda eddagala obutatukagana namutindo obusukka mu 3000 bwebwakaggalwa mu bitundu ebyesudde ekibuga Kampala. Kati buli ddwaliro erikeberebwa nga lituukagana na mutindo liteekebwaako akabonero akalaga nti lisaanidde olwo obutalina bisanyizo buggalwa. Akulira ekitongole ekikola ku by’eddagala Gordon Ssematiko agamba nti obulwaliro bungi bwakereberwa nga tebulina […]