Abasawo mu district ye Kamuli bediimye.
Bano bemulugunya kumala myezi 2 nga tebalaba mu musaala.
RDC Herman ssentongo yazze n’abamu ku bakulira eby’obulamu mu district eno mu kampala okulaba lwaki n’okutuusa kati abasawo tebanasasulwa.
Ku ddwaliro ekkulu abasinga bekolera gyabwe awatali kukwata ku mulwadde.
Omulwadde bwa kokoolo akwata abasajja bwandiba nga buyita mu kwegatta
Bannasayansi abakyagenda mu maaso n’okunonyereza ku kirwadde kino , bagamba nti obubonero bwonna bwebafuna bulaga akakwate wakati wa bino.
Abasawo bano wabula bagamba nti bino tebisaanye kuleetera bantu kufndikira nti kokoolo ono ava mu kwegatta.
Abanonyereza okuva mu university ye Califonia bakebezze kokoolo w’abasajja abatali bamu okuva lwebafumuna
Amaloboozi agasaba nti wabeewo amateeka ku mmere abantu jebalya gatandise okuwulirwa
Ab’ekibiina ekirwanyisa omugejjo mu nsi yonna bagamba nti emmere emu yabulabe eri obulamu bw’abantu obutawukanako na bintu birala nga sigala
Bano bagaala wabeewo okukoma ku kkampuni ezikola emmere egezza abantu ng’emmere eno ewandikiibwaako ebigambo ebinene nti egezza nga bwekikolebwa ku sigala
Ab’ekibiina kino ekya The Food and…
Ng’okukwekwenya abasajja okwekebeza kugenda mu maaso, okunonyereza kulaga nti abasajja abeekebeza ennaku zino beeyongedde
Akola ku kuziyiza ekirwadde kino mu kakiiko akalwanyisa mukenenya Betty Nabukeera agamba nti basaawo enkambi z’abasajja ez’enjawulo era ng’abasajja bangi bajjumbidde ddala ba dereeva ba biloole
Nabukeera akitadde ku kusomesa abantu okuliwo nga kati abantu bakimanyi nti kirungi okwekebeza
Mu kaseera kano abasajja abaweza…
Okulya ebijjulo bibiri olunaku kiyamba okukendeeza ku bulwadde bwa sukaali
Abanonyereza okuzuula bino bekenyezza abantu 27 beebatadde ku bijjulo bibiri olunaku n’abalala abalidde ebijjulo bisatu naye nga bitonotono.
Kyazuuliddwa nti abantu abalya ebijjulo bibiri bakozze ne sukaali mu mibiri gyaabwe n’akendeera okusinga ku banaabwe abalidde ebijjulo ebisatu oba ababadde balyankuza
Abakugu bamaliriza nga bagamba nti kyandibadde kirungi abantu…
Omujjuzo mu ddwaliro kya KCCA e kisugu kuzadde ebbula ly’eddagala mu ddwaliro lino.
Omusawo mu ddwaliro lino, Molly Businge agamba nti buli lunaku bafuna abalwadde abasoba mu 250 ate ng’eddagala balifuna buli luvanyuma lwa myezi 2.
Businge agamba nti gavumenti era yandibawadde ku byuuma ebikola okulongoosa okutonotono okwewala okusindika abalwadde e Mulago kubanga nayo abaliyo bangi
Abasuubuzi wansi w’ekibiina kya KACIITA bagaala nnongosereza mu bbago ly’etteeka erinakoma ku banywa sigala
Abasuubuzi bano nga bakulembeddwaamu abakulira Everest Kayondo balabiseeko mu palamenti nebawa ebirowoozo ku bbago lino
Kayondo agamba nti mu buwaayiro bwebawakanya mwemuli eky’obutalanga sigala kubanga kijja kukosa abasuubuzi
Wabula Kayondo awagira eky’ebiwandiiko ebirabula abantu ku kunywa sigala.
Palamenti kyaddaaki eyisizza ebbago ly’etteeka elikaliga abo abasiiga banaabwe obulwadde bwa mukenenya mu bugenderevu.
Kiddiridde okukubaganya ebirowoozo ku bbago lino ng’ababadde basing okuliwakanya beebebibiina byobwa nnakyeewa
Kati omuntu anasiiga munne siriimu mu bugenderevu wakusibwa emyaka 10 oba okuwa engassi ya bukadde butaano oba byombi.
Akawaayiro kano keekabadde kasinga okusimbirwa ekkuuli bannakyeewa.
Etteeka lino era lirimu akawaayiro nga waliwo ensimbi…
Minisitule y’ebyobulamu egamba nti okukendeeza omuwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya kisoboka ssinga buli omu akwatiza waali.
Omwogezi wa minisitule Rukia Nakamatte agamba nti nebwebanassa eddagala mu ddwaliro naye ng’abakyala bangi tebagenda mu malwaliro kuba kumala biseera.
Nakamatte agamba nti abakyala abasinga okufa nga bazaala baba bajjamu mbuto n’abatayagala kukozesa nkola za kizaala ggumba.
Ono agamba nti waliwo obwetaavu…
Ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku byobulambu kirangiridde nti obulwadde bwa poliyo obutabuse ennaku zino bugenda kussa ebyobulamu ku katyabaga era ng’ekya mangu kirina okukolebwa
Kiddiridde obulwadde buno okubalukawo mu mawanga agatali gamu ku ssemazinga wa Asia, Africa ne mu kyondo ky’amawanga ga buwarabu.
Ekibiina kino kiragidde nti abantu okuva mu mawanga gonna agakoseddwa babeera nga…