Minisitule ekola ku byobulamu ekakasizza nti obulwadde obutta abantu e Moyo cholera
Mu ngeri yeemu era n’omuwendo gw’abafudde obulwadde buno gulinnye okuva ku basatu okudda ku bana .
Abalala 64 baweereddwa ebitanda mu ddwaliro lya Obongi health center four
Omwogezi wa minisitule y’ebyobulamu, Rukia Nakamatte agamba nti abasawo bamaze okutuuka wansi mu balwadde era nga babakolako n’okwongera okulaba…
Olunaku lwaleero lwa musujja gwansiri
Olunaku luno lwassibwaawo ab’ekibiina ky’amawanga amagatte okujjukiza abantu nti omusujja guno gwamaanyi era buli omu asaanye okukwatira waali okulwanyisa obulwadde buno
Mu nsi yonna abantu obuwumbi busatu beebali mu bulabe bw’okufuna omusujja gw’ensiri ate nga bbo abaweza akakadde beebafa omusujja guno buli mwaka
Buli sekonda 30 lweziyitawo, wabaawo omwana afa omusujja gw’ensiri mu…
Amata kikulu nnyo eri obulamu bw’omuntu naye obadde okimanyi nti gano ate gayinz aokufuuka kanaluzaala
Amata agatali mafumbeko geegasinga okuba ag’obulabe nga gano galwaaliza ddala.
Dr Charles Kasozi okuva mu ddwaliro e Mulago agamba nti endwadde omuli ey’okuzimba omubiri, omusujja gw’omubyenda, ekiddukano n’endwadde endala nyingi biva mu kunywa amata amabisi
Dr Kasozi agamba nti amata gano amabisi gabaamu…
Omuwendo gw’abalwadde abaddukira mu bulwaliro bwa KCCA okufuna obujjanjabi guyitiridde obungi
Ekyewunyisa nti bangi ku bano tebava na mu kampala.
Akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi agamba nti kino kikosezza emirimu gyaabwe naddala bwegutuuka ku ddagala kubanga liggwaawo mu kiseera kyebaba tebetegekera
Musisi wabula agamba nti abasawo babagaana okugoba abalwadde nga bonna bafuba okulaba nti babakolako.
Asabye gavumenti okulongoosa…
Nga Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’omusujja gw’ensiri, minisitule y’ebyobulamu efunvubidde okulwanyisa omusujja guno okugumala mu ggwanga.
Omwogezi wa ministry eno Rukia Nakamatte agamba oluvanyuma lw’okumaliriza okugaba obutimba bw’ensiri okwetolola eggwanga, kati bakubaga entekateka endala akana ne kawefube omulala okulwanyisa obulwadde buno.
okusinziira ku bwino gwebalina, malaria akola ebitundu 50% ku balwadde abajanjabibwa nga bava…
Okunywa giraasi z’omwenge ezisukka mu ssatu aba awanika emikisa gye egy’okugejjulukuka
Kino bw’okubisaamu wiiki kitegeeza nti omuntu aba yeeyongerako gulaamuzi 900
Okunonyereza kuno kwakoleddwa ku bantu emitwalo 2,042
Kino kiva ku nsonga nti abantu abanywa omwenge bagaala nnyo okulya ate nga balya mmere nkolerere
Wabula ate abakugu abalala bagamba nti okunonyereza kuno kwatambulidde ku bulamu bw abantu sso ssi…
Olukiiko lwa baminista lusemberedde okuyisaamu ekiteeso ekinasobozesa eddwaliro lya kokoolo okwetongola
Eddwaliro lino eryatondebwaamu mu mwaka gwa 1967 bulijjo litambulira wansi w’eddwaliro ekkulu erye Mulago
Omwogezi wa gavumenti Rose namayanja agamba nti kino kijja kuyamba eddwaliro lino okufuna ensimbi eziwerako okuyambako
Namayanja era nga omuwendo gw’abantu abalina obulwadde bwa kokoolo gweyongedde kale nga y’ensonga lwaki eddwaliro lino lyetaagamu…
Abaana abasoba mu 150 abalina obulwadde bw’omutima beebagenda okufuna obujjanjabi.
Aba’eddwaliro ly’omutima e Mulago beebakwataganye ne banna Rotary okuyamba abaana bano ng’ebimu ku bikujjuko by’okukuza emyaka etaano bukyanga ddwaliro lino litandika.
Amyuka akulira eddwaliro lye mitima Dr Peter Lwabi agamba nti abaana bano bakulongosebwa abasawo bannayuganda abaatendekebwa abasawo abazungu mu nkambi eyasooka
Ono wabula agamba nti nga bakuza…
Obulwadde bwa kokoolo w’olususu bwongedde okutabukira abali e Bunmgereza nga bwekubisizzaamu emirundu etaao mu myaka 40 egiyise
Abantu omutwaalo gumu mu enkumi ssatu beebalina obulwadde buno okuva ku bantu lukumi mu lunaana ababulna mu myaka gy’esanvu
Abamu bagamba nti kino kivudde ku bantu okumanya ebisingawo ku bulwadde buno nebadukira mangu mu malwaliro
Kokoolo w’olususu yoomu ku kokoolo akulira…
Gavumenti eweereddwa amagezi okutendeka ab’obukiiko bwekyalo ab’ebyobulamu abajja okutendeka abalala engeri y’okulwanyisamu omusujja gw’ensiri n’okugwewalamu.
Okusinziira ku Doctor Rose Katushabe owa Miracle clinic e Wandegeya, abantu banji n’okusingira ddala ababeera mu bifo by’enzigotta tebamanyi mugaso gw’okusula mu butimba bw’ensiri kale nga banji bafudde.
Katushabe agamba singa obukiiko buno butendekebwa, bwakuyamba abantu okutendekebwa engeri y’okulwanyisamu omusujja guno.
Malaria atta…