Ebyobulamu

Abalema bafunye ku ssuubi- ekyuuma kikiino

Ali Mivule

April 8th, 2014

No comments

Mu ggwanga lya Bungereza, kati omuntu waddeembe okugenda ku ddwaliro n’agula akuuma akokozesebwa okukebera Mukenenya Etteeka eribadde ligaana kino likyuusiddwaamu nga kati abantu bajja kusobola okwekeberera ewaka nga bw’olaba ku mbuto. Kino kigendereddwaamu kuyamba abantu abali mu mitwaala ebiri n’ekitundu mu ggwanga lya Bungereza abatamanyi […]

Etteeka ku siriimu teryetaagisa

Ali Mivule

April 8th, 2014

No comments

Abali mu mulimu gw’okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya basabye ababaka ba palamenti okwongera okwetegereza etteeka erikwata ku siriimu nga tebannalowooza kuliyisa. Bano wansi w’ekibiina kya UGANET bagamba nti obuwayiiro obumu mu tteeka lino bugenda kuzza Uganda emabega ku bulwadde bw amukenenya Bano amakanda bagasimbye ku kawaayiro […]

Okujingirira ebiwandiiko bya Mukenenya

Ali Mivule

April 8th, 2014

No comments

Akakiiko akakola ku bulwadde bwa mukenenya kavumiridde eby’okuguza abantu ebiwandiiko ebiraga nti tebalina mukenenya Okunonyereza okwakolebwa aba BBC kwalaga nti bannayuganda bangi  abasaba emirimu ebweru oba nga bagenda okufumbirwa bagula ebiwandiiko ebitali byaabwe Ssentebe w’akakiiko ka mukenenya, Propf Vinand Natulya agamba nti ebikolwa nga bino […]

Abasoma obusawo e Mulago beediimye

Ali Mivule

April 8th, 2014

No comments

Emirimu egimu gisanyaladde mu ddwaliro ekkulu e Mulago oluvanyuma lw’abayizi abasoma obusawo mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga bayambako mu kujanjaba mu ddwaliro lino, okwediima  lwabutasaulwa musaala kati giweze emyeezi 2. Bano kati basazeewo kudda ku byaabwe mu bisulo byaabwe era bekolera gyaabwe. Omwogezi w’eddwaliro […]

Ebye Mulago byampuna- amazzi bagagabana na byaalo

Ali Mivule

April 7th, 2014

No comments

Ebizuuliddwa mu ddwaliro e Mulago byenyamiza. Obadde okimanyi nti ebyaalo bibiri biramba ebiriraanye Mulago biri ku mazzi g’eddwaliro Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko k’ebyobulamu nga bakulembeddwaamu Kenneth Omona bagamba nti amaka mangi gatambulira ku mazzi ge Mulago. Omu ku baddukanya eddwaliro lino, David Nuwagaba […]

Lunaku lwa byabulamu mu nsi yonna

Ali Mivule

April 7th, 2014

No comments

Leero lunaku lwa byabulamu mu nsi yonna. Olunaku luno lukuzibwa buli nga 7 omwezi gw’okuna okujjukira olunaku ekibiina ky’ensi yonna lwekyatandikibwaawo mu mwaka gwa 1948 Buli mwaka gubeera n’omulamwa naye nga ku luno gwassiddwa ku ndwadde eziva ku biwuka ebaba birumye omuntu Obulwadde buno businga […]

Amannyo amalungi buwanguzi

Ali Mivule

April 7th, 2014

No comments

Abasawo b’amannyo bagamba nti abaddusi b’emisinde abakuuma amannyo gaabwe nga malamu bulungi bongera emikisa gyaabwe egy’okuwangula empaka zebetabamu Mu Lukiiko lwa bannabyamizannyo olw’ebyobulamu olwabaddewo mu kibuga Londo, abasawo bagambte nti amaanyo amalamu gakola kyamaanyi ku bulamu bwa bannabyamizannyo naddala abaddusi Abasawo bano bagambye nti ebbanga […]

Bannayuganda bangi banyigirizibwa ku bwongo

Ali Mivule

April 7th, 2014

No comments

Abanonyereza mu Uganda bagamba nti okunyikirizibwa ku bwongo buzze kweyongera era nga gavumenti ekeekadde efe ku buzibu buno. Omukugu okuva ku John Paul II Justice and Peace Centre Kamilla Krygieragamba nti ebizibu mu bannayuganda byeyongera buli lukya mu bulamu bwa bulijjo n’enfuna yaabwe nga kino […]

Abasawo bakomewo

Ali Mivule

April 4th, 2014

No comments

Kawefube w’okusikiriza abasawo bannayuganda abaddukira ebweru okudda ku butaka atandise. Ababaka okuva mu palamenti y’amawanga ga Africa beebamuwomye omutwe okuyamba okwongeza ku basawo mu ggwanga. Ababaka bano bagamba nti ensonga eno bagitegeezaako ne pulezidenti n’agiwagira nga kati okwogereza abasawo bano kwekugenda mu maaso. Omu ku […]

Exercise nnungi

Ali Mivule

April 3rd, 2014

No comments

Okukola exercise eri abantu abalina emyaka 20 kiyamba okuwawula obwongo Abanonyereza okuva mu ggwanga lya America bagamba nti omuntu okudduka, okuwuga oba okuvuga akagaali kimuyambira ddala okulowooza amangu Exercise zino zisinga kuyamba mutima nabwongo okubeera nga biri era ng’eno y’ensonga lwaki biba birungi Okunonyereza okuzudde […]