Ebyobulamu
Ebola mu Guinea tatiisa
Ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku byobulamu mu nsi yonna kigamba nti obulwadde bwa Ebola obukijjanya abe Guinea buli mu bifo bitono Omwogezi w’ekibiia kino Gregory Hart agamba nti obulwadde buno tebunnatuuka kweralikiriza Wabula ate bbo abali mu ggwanga lya Guinea bagamba nti obulwadde buno bubawadde […]
Olutalo ku bujama
Mu disitulikiti ye Ibanda, ab’obuyinza batongozezza olutalo ku bujama. Akulira ebyobulamu mu disitulikiti ye Ibanda,Michael Origye agambye nti ekigendererwa kyakulaba nti abantu bakwatira wamu okulwanyisa obujama Origye agamba nti abasawo bamaze okulambula ebitundu ebitali bimu omuli Bufunda, Kyaruhanga, Kigarama, Rugazi ne Kagongo Wards nga basomesa […]
Obujjanjabi ku sickle cells bubulamu
Gavumenti esabiddwa okufuba okulaba nti etuusa ku bantu obujjanjabi wa siko seelo mu mwaliro gaayo gonna. AKulira ekibiina ekirwanyisa endwadde eno ekya Sickle Cell Association Ruth Mukiibi agamba nti amalwaliro agasinga tegalina byuuma bikola ku balinaa obulwadde buno. Ono agamba nti eno y’ensonga lwaki abalwadde […]
Okulya ebivavava n’ebibala kiyamba
Okulya ebivavaava n’ebibala buli lunaku kiyamba omuntu okuwangaala Okunonyereza okuzudde bino kukoleddwa ku bakyala n’abaamu emitwaalo mukaaga n’ekitundu. Mu ngeri yeemu ebivavava bino bikendeeza obulabe bw’omuntu okufuna kokoolo n’omutima Abasawo bamalirizza nga basaba abantu okwekubiriza okulya ebibala n’ebivavava
Amalwaliro gakuddabirizibwa
Minisitule ekola ku byobulamu mu ggwanga amaliriza okutegeka ettaka kw’egenda okuzimba amalwaliro omwenda mu kawefube w’okukendeeza omujjuzo mu galiwo Omwogezi wa minisitule y’ebyobulamu, Rukia Nakamatte agamba nti omulimu guno gwtandika omwaka oguwedde era nga gwakumalawo obukadde bwa doola 59 Nakamatte agamba nti buli kimu bakikwasizza […]
Abakyala beekalakaasizza e Mulago
Abalwanirizi b’eddembe ly’abakyala amakya ga leero bakedde kwekalakaasa mu mirembe olw’ebbula ly’amazzi ku ddwaliro ekkulu e Mulago. Bano bakutte ebidomola by’amazzi ebikalu nga kati baagala gavumenti eyambe ku bbula lyamazzi lino eriyingidde wiiki ey’okusatu. Omu ku bakulembeddemu okwekalakaasa kuno Miria Matembe agamba baagala kulaba nga […]
Omwenge guleeta kokoolo
Obadde okimanyi nti omwenge ogwo gw’onywa buli kawungeezi gusobola okukuleetera kokoolo w’omukamwa Dr. Edward Mukasa agamba nti bakizudde nti ekisinga okuleeta kokoolo ye kokoolo w’omu kamwa gwe mwenge era ng’abantu bandibadde bagwewala Dr Mukasa agamba nti omwenge guno ate bwegugattibwaamu sigala gujabagira
Abaswo b’amannyo ab’ebicupuli bakwatibwe
Minisitule ekola ku byobulamu mu ggwanga eragidde abatwala ebyobulamu mu disitulikiti zonna okukola ebikwekweto ebikwata abasawo b’amannyo bonna eb’ebicupuli. Minister omubeezi ow’ebyobulamu Dr Ellioda Tumwesigye agamba nti abantu abakuula amannyo abasinga tebalina bumanyirivu Ellioda agamba
Abafiirwa omwana balemedde ku nsonga
Kooti ettadewo olunaku lwa nga 7 ogwokuna okuwulirirako omusango ogukwata ku mwana eyabikibwa nti afudde kyokka nga mulamu Omwana ayogerwaako yali wa Anthony Mutyaba ne Justine Nassimbwa abawaaba eddwaliro lya case hospital nga bagaala kuliyirirwa olw’omwana waabwe eyafa Kigambibwa okuba Nassimbwa yalumwa olubuto nga wa […]
Kyadaaki aadi y’abaana e Mulago efunye amazzi
Kyadaaki waadi y’abaana eya Mwana mugimu mu ddwaliro ekkulu e Mulago efunye ku mazzi oluvanyuma lwembiro okubalukawo mu baana abajirimu. Omu ku basawo mu waadi eno Hanifa Namusoke ategezezza nti kati bali ku ssuubi embeera yanditerera olw’ekimmotoka kya mazzi okuletebwa . Kino wekijidde nga minister […]