Ebyobulamu
Abazadde basobola okusala amasavu
Abasawo mu ggwanga lya Canada bagamba nti abakyala nga bamaze okuzaala batandika okukogga ng’abaana bawezezza emyezi esatu era nga kino kikoma ku mwaka gumu Abakyala abalemererwa okukoggera mu bbanga lino oba abamu nebagejja baba bassa obulamu bwaabwe mu matigga Abakyala bano batera okufuna puleesa ate […]
Baweze okulya obuwundo
Eggwanga lya Guinea liweze ey’okulya obuwundo mu kawefube w’okulwanyisa obulwadde bwa Ebola. Mu ggwanga lya Guinea obuwundo yakulya kya ttunzi kyokka nga kyakakasiddwa nti bwebavuddeko ekirwadde kya Ebola Abantu 62 beebakafa obulwadde buno obulabiddwaako ne mu ggwanga lya Liberia ne Sierra Leone. Obulwadde bwa Ebola […]
Lwaki musalako Mulago amazzi-babaka
Abali mu mulimi gw’okulwanirira ebyobulamu ebirungi eri bannayuganda bakwemulugunya mu palamenti nga bagaala eyingira mu mbeera mu ddwaliro ekkulu e Mulago Ssabbiiti ewedde, eddwaliro lino lyasalwaako amazzi olw’ebbanja kya buwumbi 6 Bannakyeewa bano nga bayita mu kibiina kyaabwe ekya Voices for health bagamba nti embeera […]
Ebbago ku Mukenenya-obuwaayiro obumu busuuliddwa
Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga za mukenenya bakkiriziganyizza okusazaaamu akawayiiro mu bbago ly’etteeka ku mukenenya akakifuula eky’obuwaze abasawo okwatuula abantu abalina obulwadde bwa mukenenya Akawayiiro namba 23 mu bbago lino kabadde kawa dokita olukusa okwatuula omuntu gwebakebedde n’aasangibwa n’akawuka ka mukenenya […]
Gavumenti enanonyereza ku bbula lya Oxygen
Gavumenti esabye palamenti okugiwa obudde okunonyereza ku bigambibwa nti waliwo abantu abafudde mu ddwaliro e Mulago olw’ebbula lya Oxygen Ng’ali mu palamenti akawungeezi ka leero, minisita w’ebyobulamu Dr Ruhakana Rugunda agambye nti yawuliddeko ku mawulire gano kyokka nga tannagakakasa n’asaba okutuuka olunaku lw’enkya Omubaka Moses […]
okwayuuya kukendeera ng’omuntu akaddiye
Bannasayansi bazudde nti buli muntu lw’akula ekendeeeza emirundi gy’ayayuuya Okuyaayuuya okusinga okwogerwaako wano kw’ekwo omuntu kw’afuna ng’alabye munne ayayuuya Abanonyereza kati bali mu kwongera kunoonya okuzuula oba okuyaayuya kuyinza okubeera kusikire Abantu abawussse obwongo nabo kigambibwa okuba nga tebatera kuyayuuya
abaana abamu bakeerewa okuvubuka
Bannasayansi bakizudde nti abaana abamu balwaawo okuvubuka ate balala nebakeera Kigambibwa okuba nti kiva ku musaayi ng’abamu balina endagabutonde ezirwaaawo okulagira omubiri okukola enkyukakyuka ku mubiri ng’omwana avubuse Abanonyereza okuva mu bungereza batunuulidde abaana okuva mu maka musanvu Abaana abawala abasinga batandika okukyuuka emibiri nga […]
Obubaka ku mukenenya bwakukyuuka
Akakiiko akakola ku bulwadde bwa mukenenya kagenda kukyuusaamu mu nkola y’okulwanyisa mukenenya Mu nkola eriwo, gavumenti etumbula eky’abantu okwewala ebikolwa by’okwegatta, okubeera abeesigwa n’okukozesa kondomu Ssentebe w’akakiiko ka Mukenenya Prof Vinand Natulya agamba nti bakizudde nti bino ebisatu bino tebimala nga balina okuyiiya engeri gyebayambako […]
Lunaku lwa mazzi- okumalawo obukyafu kyetaagisa mazzi
Ngensi yonna ngeri mukukuza olunaku lwe bya mazzi, aba Wakiso district, olutalo balutadde ku bukyafu bwebagambye nti buyitiridde era nga bwebusinga okuvaako endwadde ezikyasinga okutta abantu mu district. Bino byogeddwa Ssentebe wa district eno, Matia Lwanga Bwanika, bwabadde aggalawo omusomo ogubadde ku kitebe kya district […]
abakyala abakujjukujju bazaala abaana abagezi
Kikakasiddwa nti abakyala abakujjukujju bazaala abaana abakujjukkujju Okunonyereza kuno kukoleddwa ku ba maama 500 Abakyala abatunuuliddwa bekenyezeddwa n’abaana baabwe okumala emyaka ena Abanonyereza bamaze nga basaba nti omuntu yenna ayagala okulongoosa embeera z’abaana yanditandikidde ku ba maama