Ebyobulamu
Okusonda ez’ekikulukuto- Airtel ewaddeyo
Nga Buganda ekyagenda mu maaso n’okusonda ensimbi ez’okulwanyisa ekikulukuto mu bakyala, olwaleero aba kkampuni ya Airtel awaddeyo obukadde 100 okuyambako. Minisita wa Buganda akola ku nsonga z’abavubuk an’emizannyo, Herny Sekabembe Kiberu agambye nti ensimbi zino zigenda kuyambako okutuuka mu bakyala abalumizibwa nga n’abasinga baboolebwa Ono […]
Oxygen w’ali- Mulago
Eddwaliro lye Mulago liwakanyizza ebigambibwa nti tewaliiwo mukka gwa Oxygen Kiddiridde ebyafulumizibwa nga biraga nti abalwadde mukaaga abaali ku Oxygen beebafa oluvanyuma lw’omukkaga guno okuggwaawo Omwogezi w’edwaliro lino Enoch Kusaasira agamba eddwaliro lino lyelikola omukka guno kale nga tegusobola kuggwawo Eddwaliro lino nno olwaleero lifunye […]
Akafuba kangi mu balina mukenenya
Minisitule ekola ku byobulamu mu ggwanga yenyamidde olw’omuwendo gw’abantu abalina obulwadde bwa mukenenya abalina akafuba Okusinziira ku minisitule no, buli balwadde b’akafuba 10 , bataano oba musanvu baba balina ne siriimu Omwogezi wa minisitule y’ebyobulamu Rukia Nakamatte agamba nti abalwadde abasinga batuuka mu malwaliro nga […]
Akafuba- abasoba mu 6000 bakafuna buli mwaka
Okunonyereza kulaze nga Bannayuganda abasoba mu 6000 bwebakwatibwa ekirwadde ky’akafuba buli mwaka. Kino kibikuddwa minisitule y’eby’obulamu nga eggwanga ly’etegekera okukuza olunaku lw’abalwadde b’akafuba. Omwogezi wa ministry eno Rukia Nakamatte agamba singa tekikoleddwako mangu, bangi bakomekereza bakisiize abalala. Ebikujjuko by’omwaka guno byakukuzibwa mu district ye Iganga […]
Ebbula ly’amazzi e Mulago- Akafubo
Abakulira eddwaliro ekkulu erye Mulago n’abakungu b’ekitongole kya mazzi bakusisinkana olunaku olwaleero okuteesa ku kumalawo ebbula ly’amazzi mu ddwaliro lino oluvanyuma lw’okusalwako wiiki namba olw’ebbanja. Omwogezi w’eddwaliro lino Enoch Kusasira agamba nti bakufuba okulaba nga batuuka ku nzikirizigana okutaasa ku mbeera. Wiiki ewedde abakulira eddwaliro […]
Abaana abassa enyo nga bali mu mbuto tebatera kukula
Abanonyereza bazudde nti kisoboka okutegeera nti omukyala wakuzaala omwana nga tannaba kwetuuka Abasawo bagamba nti omwana yenna bw’aba assa nnyo ng’ali mu lubuto , taba bulungi era nga tasobola kunywerera munda Mu ngeri yeemu era abaana abassa ennyo nga bali mu mbuto batera okubeera n’obuzibu […]
Akalwaliro omwafiiridde omukyala kakyaamu
Ebipya byongedde okuzuulwa ku kalwaliro akafiiriddemu omukyala agambibwa okuba nga yabadde ajjamu olubuto. Kigambibwa okuba ntia kalwaliro kano kabadde kakola mu bukyaamu Omu ku bakulembeze babasawo Dr magaret Mungherera agamba agaba nti akalwaliro kanao tekabadde na bumanyirivu mu kulongoosa. Ono agamba nti ssinga ab’oluganda lw’omukyala […]
Lwaki abakyala bafiira mu ssanya- Gavumenti ewaabiddwa
Ab’ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abantu ku byobulamu bagenze mu kooti ey’okuntikko nga beemulugunya ku mbeera mu malwaliro ga gavumenti evaako abakyala okufiira mu ssanya. Bano bayise mu bannamateeka Peter Walubiri ne David Kabanda abagamba nti tebakkiririza mu kusalawo okwakolebwa kooti etaputa semateeka Kooti yagamba nti ebintu […]
Endwadde z’amannyo nyingi mu bannayuganda
Minisitule ekola ku byobulamu mu ggwanga eraze obwenyamivu olw’amantu obutafa mu ndwadde ezikwata amannyo. Minisita omubeezi akola ku byobulamu Dr Ellioda Tumwesigye agamba nti abantu abaweza ebitundu 93 ku buli kikumi balina ebizibu nku mannyo gaabwe. Mu ngeri yeemu, abantu ebitundu 35 ku kikumi beebatasobola […]
Abasawo bawummuziddwa
Abasawo babiri bawumuziddwa oluvanyuma lwokukikakasa nti ddala bano bezibika eddagala . Dr Joseph Isanga omusawo mu ddwaliro ly’e Kabonga awumuziddwa oluvanyuma lw’okukikakasa nti yezibika eddagala eribalirirwamu obukadde bw’ensimbi 30. Akulira akakiiko k’abasawo akakwasisa empisa , Dr Okello Ogwang agamba Dr Isanga nga ono yasingisibwako n’omusango […]