Abaana abasoba mu mitwalo 24 beebatali bageme.
Abaana bano kitegeeza nti bali mu bulabe bw’okufa endwadde omunaana zinnamutta
Minisitule ekola ku byobulamu egamba nti abaana boogerwaako bazze beetuma wakati w’omwaka 2006 ne 2012
Kati nno minisitule erabye biri biti n’essa emikono ku ndagaano n’ab’amalwaliro g’obwannanyini okulaba nti gayambako mu kukunga abantu okugemesa abaana baabwe
Akulra ebyobulamu Dr.Jane Ruth Aceng…
Embeera y’ebyobulamu mu kitundu kye Kalerwe etandise okweralikiriza abaayo
Abantu bano bagamba nti wabaddewo n’okweyongera mu ndwadde ng’omusujja gw’ensiri n’ekiddukano
Akulira ekimu ku bibiina ebitumbula ebyobuyonjo mu kitundu kino Regina Namara agamba nti abantu balwaala olw’embeera embi ate nga n’abamu bafa kubanga tebafuna ddagala.
Embeera eno esinze kukosa baana na bakyala
Ekitongole ky’ebyeddagala mu ggwanga kyakuvunaana abo bonna obulwaliro bwaabwe obwagalwa naye nga betumikirizza nebaddamu okubuggula.
Kino kiddiridde ebigambibwa nti bananyini bulwaliro buno okwetolola eggwanga bagera ab’ekitongole kino bagenze nga baddamu okukola.
Kati akulira ekitongole kino Gordon Ssematiko agamba banji baguddewo mu bubba nga tebanatukiriza mutindo gwetagisa okutunda eddagala lino n’okujanjaba abalwadde.
Wabula agamba nti banji batukirizza omutindo ogwetagisa…
Kizuuliddwa nti kisoboka okutegerekeka nti omuntu atandise okuwutta obwongo ssinga bakebera omusaayi gwe
Abasawo okuva mu ggwanga lya America bagamba nti omusaayi gw’omuntu ssinga gubaamu amasavu agaweza ebitundu 90 ku kikumi, olwo abeera mu bulabe bw’okuwutta mu bbanga lya myaka esatu egiddako
Abakugu bagamba nti bakwongera okwekebejja ebizuuliddwa kyokka ssinga biba bituufu olwo obulwadde buno buba bugenda…
Gavumenti etandise ku mulimu gw’okutumbula eddagala eriweweeza ku mukenenya erikolebwa wano mu mawanga amalala.
Eddagala lino likolebwa aba quality chemicals.
Minisita akola ku byobulamu Dr Ruhakana Rugunda agamba nti ssinga kkampuni eno ekola eddagala erimala Uganda , eddagala eddala liyinza okutundibwa mu mawanga amalala agaliranye Uganda ne Africa okutwaliza awamu.
Ekitongole ekivunanyizibwa ku by’eddala mu ggwanga ekya National Drug Authority kakufuuza abatembeeya eddagala mu kibuga kamapala n’ebitundu ebirala.
Kino kiddiridde okwemulugunya nga bano bwebatunda eddagala eriyiseeko nga lyabulabe eri abalwadde.
Akulira ekitongole kino Gordon ssematiko agamba bazzenga balabula abantu bano wabula nga baling abafuuyira endiga omulele.
Agamba bano n’ebikapu mwebatundira eddagala bikyafu kale nga abalwadde bandisanye eddagala baligule…
Abakulira eddwaliro ly’eMulago beganye ebigambibwa nti abasawo mu ddwaliro lino bediimye.
Kino kiddiridde ebigambibwa nti abasawo abasoba mu 100 baatadde wansi ebikola lwakulwawo kusasulwa musaala.\
Omwogezi w’eddwaliro lino Enock Kusaasira agamba ku bakozi abasoba mu mutwalo omulamba, abali eyo mu 217 bokka bebatanafuna musaala gw’omwezi oguwedde.
Kusaasira agamba abasawo abatanafuna musaala beebo abaluddewo okuwayo empapula zomusaala okuva mu…
Kizuuliddwa nti ebbugumu elisukkiridde lyongera ku musujja gw’ensiri okweyongera eri abantu ababeera mu bifo ebitali bya kikko.
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti abanti ababeera mu nsozi za Africa ne South America beebamu ku balumwa ennyo omusujja mu nnaku z’ebbugumu.
Kino kikivaako ensimbie zissibwa mu kujjanjaba omusujja okweyongera.
Ministule ekola ku byobulamu erabudde nti omuwendo gw’abantu abalina obulwadde bwa mukenenya gwolese okweyongera mu baana abato.
Minista akola ku byobulamu Dr Ruhakana Rugunda agamba nti abavubuka aboogerwaako beebali wakati w’emyaka 24 okutuuka ku 35
Rugunda agamba nti abavubuka bangi abalina emyaka gino tebafa ku bulamu bwaabwe nga bangi tebakozesa bupiira ate nga bakyakaze nnyo
Minista bino abyogedde…
Ekifananyi kino kya BBC
Abasawo abaludde nga bayiiya engeri y’okujjanjabamu akawuka ka mukenenya baliko webatuuse bwebayambye abalwadde 12 ababadde bakafuna akawuka okuwona
Kino kireeseewo essuubi nti abantu banakoma okumira eddagala buli lunaku ate nebasigala ngabalamu
Abalwadde abakoleddwako okunonyereza kuno bagyiddwaako omusaayi nebakubwaamu eddagala lino
Bano balondoddwa era okuddamu okukeberebwa ngabawonye