Ebyobulamu
Abakyala tebafibwaako
Abakyala abalina obulwadde bwa Mukenenya mu Africa tebafuna buyambi bwebetaaga Ab’omukago gwa palamenti ya Africa balaze obwenyamivu nti abakyala bakyaboolebwa olw’okubeera n’akawuka ka mukenenya. Ababaka abakyala mu palamenti eno boogeddeko eri bannamawulire nebategeeza ng’abakyala bwebalekeddwa amabega mu nsonga eziwera ebikwata ku byobulamu ate nga beebamu […]
Abasawo tebamala
Abakulembeze mu disitulikiti ye Lwengo bakaba lwa basawo batamala. Akulira disitulikiti eno, George Mutabaazi agamba nti amalwaliro ga gavumenti mu disitulikiti eno gafuna abalwadde bangi naye nga tebasobola kukolebwaako olw’omuwendo gw’abasawo omutono. Mutabaazi agamba nti bategeeza ko dda gavumenti ku nsonga yaabwe kyokka nga tebakolebwako […]
Okulwanyisa ekikulukuto- Buganda ebiyingiddemu
Obwakabaka bwa Buganda butandise kawefube ow’okulwanyisa ekirwadde kya fistula . Kawefube ono atongozeddwa Katikiro ngayita mu misinde egyokujukira amazalibwa ga Kabaka, era ng’ensimbi ezinava mu misinde gyino zakulwanyisa ekirwadde kya Fistula. Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga agambye nti abantu abasinga tebasobola kufuna bujanjabi bwa […]
Okugoyebwa omwenge tekitegeeza kunywa mulala
Kikakasiddwa nti omuntu okugoyebwa omwenge oba kiyite hangover tekitegeeza nti ajja kwanguwa okuddamu okunywa omwenge omulala. Okugoyebwa kuno tekulina kakwate konna ku kusalawo kw’omuntu okwongera okunywa omwenge oba nedda Ekibinja ky’abanonyereza okuva mu Missouri babadde baddamu abo abagamba nti omuntu agoyebwa omwenge kimwanguyira okuddamu okunywa […]
Akanguyira katta
Ekifanannyi ino kivudde ku Mukutu gwa BBC Abantu abalina akasunguyira bangu nnyo bakulumbibwa obulwadde bw’omutima Abanonyereza abazudde bino bavudde mu America nga bagamba nti lw’ekiruyi omuntu ky’aba awulira, kikosa omutima era gusobola n’okwesiba olumu Kino kibaawo mu ssaawa bbiri ng’omuntu anyiize Wabula abasawo bano tebannakakasa […]
Abakyala tebazaalira ewaka
Ministry y’ebyobulamu esabye abakulembeze ku mitendera gyonna okukubiriza abakyala okukomya okuzaalira ewaka. Avunanyizibwa ku nnaku z’amaka, Albert Kasozi Lule, agambye nti kibaluma nnyo okulaba nti abakyala ebitundu 35 bokka beebazalira mu malwaliro olwo ebitundu 65 nebazalira ewaka era ekitadde obulamu bwabwe ku mattigga. Kasozi […]
Amambulugga gatta obusajja
Abaana bangi balwaala amambulugga nga bato. Abazadde bangi bwebajjanjaba abaana bano nebawona tebafa ku birala Kati nno basawo bagamba nti amambulugga gano bwegatuuka mu baana abalenzi gasobola okubaviirako okufuuka ba ssekibotte. Amambulugga gano nno gakwata mangu era nga gujabagira ssinga gadda mu Muntu emirundi. Omusawo […]
Eby’abasawo tubikolako
Eby’omusaala gw’abasawo e Kalangala abassizza wansi ebikola nga beekalakaasa ekolebwaako. Abasawo bano beedimye nebagaana okukola nga bagamba nti babanja emyezi mukaaga ate abamu bbo basasulwaako bitundu. Akulira ekitongole ekirondoola entambula y’eddagala mu malwaliro ga gavumenti Dr Dina Atwine agamba nti bazzeemu okwekenneenya enkalala okusasulirwa abakozi […]
Abasawo e kalangala beekalakaasizza
Abasawo mu ddwaliro ekkulu e Kalangala bassizza wansi ebikola lwa musaala Omu ku bakozi bano atatubuulidde mannya ge agamba nti abamu bamaze emyezi mukaaga nga tabafuna musaala. Ate abalala bafuna bitundu. Omusawo ono agambye nti bafunye okutegeeza bekikwatako naye nga tewali kikolebwa era […]
Abaana okugugumuka kabonero kabi
Abaana abato okugugumuka nga beebase bayinza okuba akabonero akalaga nri banditawanyizibwa ku bwongo mu biseera byaabwe eby’omu maaso Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti yadde abaana abangi bagugumuka, bwekiremera ku mwana kayinza okuba akabonero akalaga obuzibu obusingako Okuwoggganira mu tulo, n’okwogerera mu tulo bwebumu ku bubonero. Abanonyereza […]