Ebyobulamu
Dr Tamale abyegaanye
Omusawo amanyiddwa mu kujanjaba abakyala Dr Edward Tamale Ssali ebyokuviirako omukyala gwebalongoosa okufa abyeganye. Ono avunanibwa kuvaako kufa kwa Mercy Ayiru eyamufaako mu ddwaliro lye e Bukoto. Ono era aganye okukuba ebilayiro nga ali mu kooti era nategeeza nga omukyala ono bweyamwekenenya oluvanyuma lw’okumulongoosa nga […]
Embuto zisobola obutavaamu
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti ensonga ezivaako embuto okuvaamu zisobola okwewalibwa Abanonyereza bagamba nti ekisinga okuvaako embuto okuvaamu naddala mu mawanga agakula edda , mugejjo okuva ku kulya enyo ate ng’ebiriibwa birimu amasavu mangi. Mu ngeri yeemu era abakyala abanywa omwenge n’okukola ennyo naddala mu biseera […]
Abalala balumirizza omusawo
Abantu abalala babiri olwaleero bongedde okulumiriza omusawo agambibwa okukuba omwana empiso n’ekigendererwa ky’okumusiiga obulwadde bwa mukenenya. Olwaleero Mariam Sayuuni nga musirikale e wandegeya ategeezezza ng’omusawo ono RoseMary Namubiru bweyamutegeeza nti akikoze mu butali bugenderevu yadde nga teyegaana kusiiga mwana ono obulwadde Omusirikale ono agambye nti […]
400 beebafuna mukenenya buli lunaku
Obadde okimanyi nti buli lunaku abantu 400 beebafuna ekirwadde kya Mukenenya. Amyuka akulira ekibiina ekirafubana okutumbula ebyobulamu , Denis Kibira agamba abantu bangi baleese obugayaavu mu lutalo ku mukenenya olwo naye neyegiriisa. Ono omusango agusalidde gavumenti olw’okulemererwa okuteekawo ebikozesebwa mu kukebeza siriimu. Agamba amalwaliro ga […]
Ekiremesa abaana kizuuliddwa
Abakugu mu nsonga z’okuyonsa abaana bagamba nti bafunye eky’okuddamu eri abaana abatayagala kuyonka Bano bagamba nti abaana bangi bagaana okuyonka olw’ensonga nti ennimi zaabwe ziva tezitambula Abasawo bano wansi w’ekibiina kya NCT bagamba nti kino kikolebwa mu ggwnaga lya Bungereza ate nga ssikizibu lwakuba nti […]
Mulemesa olutalo ku mukenenya
Akakiiko akakola ku kulwanyisa obulwadde bwa mukenenya kalaze okutya olw’okuboolebwa lw’abalwadde ba mukenenya okweyongedde. Bano babadde banukuula ku ngeri amawulire gyegabadde gakolebwaamu ku musawo RoseMary Namubiru agambibwa okugezaako okusiiga omwana omuto obulwadde bwa mukenenya. Akulira akakiiko kano Prof Vinand Natulya agamba nti abantu bangi batandise […]
Lunaku lwa Kondomu
Olwaleero lunaku lwa bupiira bukali mpitawo mu nsi yonna. Mu Uganda olunaku lukozeseddwa okwongera okubangula abantu ku ngeri y’okukozesaamu obupiira ate nga mu bitundu ebitali bimu obupiira bugabiddwa Ab’ekibiina kya AIDS HealthCare Foundation nga bayita mu Uganda Cares bayimiridde ku nkulungo z’omu kibuga omuli wandegeya, […]
Mulalama akutte abalala
Abantu bataano beebawereddwa ebitanda oluvanyuma lw’okukwatibwa omusujja gwa mulalama. Bano basiibuddwa mu distulikiti ne Arua ne Adjumani Ku lunaku lw’okubiri ,minisitule ekola ku by’obulamu yakakasa nti mulalama yali abaluseewo mu bitundu ebya West Nile era ngabantu abawerera ddala 36 baali bamaze okumufuna. Omwogezi wa minisitule […]
Mulalama- Gavumenti esitukiddemu
Ministry y’eby’obulamu eyongedde amaanyi mu kulwanyisa omusujja gwamulalama Omusujja guno gwabaluseewo mu bitundu bya Arua n’ebirala ebya West Nile Omukungu mu minisitule eno, Paul Kaggwa agamba nti bataddewo akakiiko akagenda okukolagana n’abakungu ba district ezikoseddwa okulaba nti emirimu gitambula Kaggwa agamba nti balagidde n’abakungu […]
Eddagalla lya kokoolo kyaddaaki lituuse
Gavumenti kyaddaaki ewerezza eddagala lya kokoolo mu ddwaliro e Mulago Kiddiridde abakulira eddwaliro lino okwekubira omulanga nga bayita ku mukutu guno nga bategeeza nga abantu bataano bwebafa buli lunaku olw’obutabaawo ddagala Eddwaliro lino libadde lifuna abantu 150 buli lunaku naye nga bataano kubano bafa kubanga […]