Ebyobulamu

Poliyo azzeemu mu Afghanistan

Ali Mivule

February 11th, 2014

No comments

Wabaluseewo obulwadde bwa poliyo mu ggwanga lya Afghanistan mu kibuga Kabul Omwana omuwaka y’akakasiddwa okuba n’obulwadde buno obwaali bwasemba okulabikako mu mwaka gwa 2001. Ministule y’ebyobulamu mu ggwanga lino emaze okulagira nti wabeewo kugema abaana bonna Obulwadde bwa poliyo bukyaali kizibu mu mawanga agatali gamu […]

Eddagala kya kokoolo likyabuze

Ali Mivule

February 11th, 2014

No comments

Ebbula ly’eddagala ku ddwaliro lya kokoolo e Mulago likyagenda mu maaso n’okuluma Tuzzeemu kugenda ku ddwaliro lino ng’abalwadde bangi bakonkomalidde wabweeru w’eddwaliro nga basobeddwa Akulira eddwaliro lino Dr Jackson Oryem agamba nti abajja babagamba kugenda wabweru gyebaba bajja eddagala kyokka ng’abamu tebalina ssente kubanga lyabuseere. […]

E Mulago teri ddagala lya Kokoolo

Ali Mivule

February 10th, 2014

No comments

Embeera ku ddwaliro lya kokoolo e Mulago yeeralikiriza. Obadde okimanyi nti buli lunaku abantu bataano beebafa olw’obutabaawo ddagala. Eddwaliro lino kati kumpi emyezi ebiri nga terifuna ddagala. Kino kikakasiddwa amyuka akulira eddwaliro lino, Dr Victoria Walukansa Dr Walukansa agamba nti buli lunaku bafuna abalwadde 150 […]

Okumira obukerenda bw’omusaayi

Ali Mivule

February 7th, 2014

No comments

Abasawo bakakasizza nti okumira obukerenda obuzzaamu omusaayi emyezi esatu ng’omukazi tanafuna lubuto kyamugaso nyo okusinga okubumira ng’omukyala ali lubuto Omusawo okuva mu ddwaliro e Mulago  Dr. Moses Othin agambye nti obukerenda buno bulimu ekirungo kya Victim B obuyamba omwana ali mu lubuto. Ono era sgambye […]

Ali Mivule

February 6th, 2014

No comments

Abantu abalina okutawanyizibwa mu bulamu basabiddwa bulijjo okujjumbira abantu ababudabuda abantu bayite ba kansala. Akulira eddwaliro lye butabika, Dr David Basangwa agamba nti abantu bangi balina okunyigirizibwa ku bwongo nga batuuka n’okwetuga Dr Basangwa agamba nti abantu bangi batendewalirwa era gyebiggweera nga bakoze ebitajja Ono […]

Obuduuka bw’eddagala bulabuddwa

Ali Mivule

February 5th, 2014

No comments

Ab’ekitongole kya KCCA olwaleero basisinkanye ab’obuduuka obutunda eddagala mu Kampala mu kawefube w’okutereeza omulimu guno. Eno gyebategerezeddwa nga lisinsi zaabwe bweziggwaako ku nkomerero y’omwezi guno era nga balina okuzizza obujja Akulira eby’obulamu mu KCCA, Dan Okello agamba nti era bagenda kunyweeza amateeka ku buduuka buno […]

Ab’amaggye balongoosezza

Ali Mivule

February 5th, 2014

No comments

Olunaku olwaleero amaggye gakoze bulungi bwansi nga era gatandikidde mu katale kewa kisekka gyebalongoserezza ebifo ebyenjawulo. Bino by’ebimu ku bikujuko ebikulembedemu okukuza olunaku amaggye ga NRM lwegasooka okulumba Barakisi ye Kabamba nga 6 omwezi guno. E Wa Kisekka wabula obwedda emirimu bagikola bafuna okucookozebwa okuva […]

Lunaku lwa Kokoolo- bangi bali mu bulabe

Ali Mivule

February 4th, 2014

No comments

Olwaleero Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lwa kokoolo. Ab’ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku byobulamu bagala wabeewo okukoma ku bantu abanywa sigala n’omwenge. Ekibiina kino kigamba nti omuwendo gw’abantu abalina gwakweyongera okutuuka ku bukadde 24 ssinga kino tekikolebwa Ekibiina kino kigamba nti waliwo era […]

Abakungu bagobeddwa

Ali Mivule

February 4th, 2014

No comments

Abakungu okuva mu ministule y’ebyobulamu bagobeddwa mu kakiiko akabalirira ensimbi z’omuwi w’omusolo. Abakulu ababadde bakulembeddwaamu omwuandiisi w’enkalakkalira mu minisitule eno, Dr Asuman Lukwago babadde bagenze kutangaaza babaka ku byafulumira mu alipoota ya ssababazi w’ebitabo bya gavumenti ey’omwaka 2011. Ensimbi eziwerako obuwumbi 3 zeezitamanyiddwaako mayitire nga […]

Embiro e Hoima zikendedde

Ali Mivule

February 4th, 2014

No comments

Minisitule ekola ku by’obulamu egamba nti obulwadde bw’embiro z’omusaayi e Hoima basobodde okubutangira okukwata abantu abalala. Obulwadde buno obwabalukawo ku kyaalo kiyoola e hoima bwatta abantu 6 ate abalala nebaweebwa ebitanda Omwogezi wa ministule y’ebyobulamu, Rukia Nakamatte agamba nti Ttebannafunayo Muntu afuna bulwadde buno bukyanga […]