Minisitule ekola ku by'obulamu egamba nti obulwadde bw’embiro z’omusaayi e Hoima basobodde okubutangira okukwata abantu abalala.
Obulwadde buno obwabalukawo ku kyaalo kiyoola e hoima bwatta abantu 6 ate abalala nebaweebwa ebitanda
Omwogezi wa ministule y’ebyobulamu, Rukia Nakamatte agamba nti Ttebannafunayo Muntu afuna bulwadde buno bukyanga batandika okusomesa abantu ku ngeri y’okubwewalamu.
N’abo abaali bafuna embiro zino basiibuddwa
Obunzaali obusinga obungi ku katale bujingirire.
Obusinga obubi bwebwo obusibibwa mu buveera nga bukoleddwa mu laagi ez’enjawulo.
Akulira ekibiina ekigatta bannamakolero , Sebaggala Kigozi agamba nti obunzaali buno bulimu ebirungo ebikyaamu era eby’obulabe eri obulamu b’omuntu
Obunzaali buno bwa bika 20 kyokka nga tayogedde bika byaabwo.
Kizuuliddwa nti abantu ebitundu 2 ku bisatu abagenda mu ndongo omuziki gusigala gubakubira mu matu.
Kino kivaako bangi okufa amatu.
Okunonyereza kuno kwakoleddwa ku bantu 1,000 ababadde banyumirwa ebinyumu.
Abasawo bano bagamba nti kyandibadde kirungi omuntu n’ayamba obuuma obukuuma amatu obutayonooneka olw’embekuulo ebeera mu binyweero.
Obadde okimanyi nti okuboggolera omwana kimukosa
Abasawo bagamba nti buli mwana lw’aboggolerwa akyuukako ku bwongo
Dr Charles Kasozi okuva e Mulago agamba nti kiba kirungi omuzadde n’awuliriza omwana oba okwogerako naye
Musawo agamba nti okuwogganira omwana kikosa obuvumu bwe era bangi ku baana abayita mu mbeera eno bakulu bebwaalabwaala.
Endwadde z’ekikaba zikyaali waggulu mu bifo by’enzigotta.
Ayogedde bino y’akulira eddwaliro lya Marie Stopes e Namuwongo ng’agamba nti buli lunaku bafuna abantu bataano
Abasinga ku bano nti akibi bajja buyise ekikalubya obujjanjabi
Eno y’ensonga lwaki ab’eddwaliro lya Mariestopes bataddewo enkambi abantu mwebagenda okuyita okwekebeza obulwadde bw amukenenya, ne kokoolo era abasangibwa nga balwadde bajjanjabwe.
Enkambi eno egenda kumala ennaku…
Ab'obuyinza mu disitulikiti ye Mbarara bawanjagidde bekikwatako okubaweereeza eddagala ly'omusujja gw'ensiri.
Kiddiridde amalwaliro agasinga okuggwaamu eddagala nga katia balwadde abagenda mu malwaliro gano bagoba bagobe.
Akulira eby’obulamu mu disitulikiti eno, Dr Amoti Kaguna agamba nti amalwaliro ga gavumenti agasinga tegalina ddagala lya musujja.
Dr Kaguna ategeezezza nti bafuna abantu abali wakati wa 5 n’olukumu nga beetaga ddagala lya…
Ab’ekitongole ky’eddagala ekya National drug authority bakuggala obulwaliro bwonna obutalina layisinsi.
Akulira ekitongole kino Dr Gordon ssematiko agamba layisinsi zonna ziweddeko leero ng’omuntu yenna atalina layisinsi okuva enkya wakukwatibwa
Asabye n’abantu benyini obutagenda mu bulwaliro butalina layisinsi kubanga buba tebwekebejjeddwa
Mu ngeri yeemu aba KCCA bakutandika ekikwekweto okukwata abasawo ab’ebicupuli n’abalina obulwaliro obumenya amateeka.
Akulira eby’obujjajanbi ebyawamu mu KCCA…
Minisitule ekola ku byobulamu efunye bu baasi 12 obugenda okuyambako mu kutambuza abasawo
Bugenda kusindikibwa mu bitundu by’eggwanga byonna 12.
Mu ngeri yeemu bu kabangali obulala 7 obugenda okukanikanga ebyuuma by’amalwaliro ebinaava bifunye bizibu.
Bugenda kukola mu bitundu byonna eby’eggwanga nga mu bamu ku bagend aokufuna mu kuliko Arua, Gulu, kabaale n’endala.
Minista w’ebyobulamu Dr Ruhakana Rugunda ategeezezza nti…
Gavumenti etandise okusomesa abantu ku ngeri y’okutangiramu ekirwadde ky’embiro z’omusaayi ekyabaluseewo e Hoima.
Ekirwadde kino kisse abantu 6 ate ng’abawera bajjanjabibwa mu ddwaliro e Hoima
Obulwadde buno buva ku bujama era nga bukamula mangu omuntu olw’ekiddukano yenna n’aggwaamu
Minista ekola ku byobulamu, Dr Ruhakana Rugunda agamba nti obujama bwo bungi mu bantu nga n’abamu tebalina zi kabuyonjo ate…
Ekitongole kya KCCA Kyakukwatagana n'abakola ku byobulamu wano mu kampala bakole ebikwekweto ku basawo abafere n’abatunzi b’eddagala abatatukagana na mutindo.
Ebikwekweto bino byakutandika mu wiiki 2 nga bakutuuka mu malwaliro ga gavumenti n’agobwananyini.
Akulira eby’obulamu mu KCCA Dr Daniel okello agamba Kampala alimu obulwaliro obutonotono obuli eyo mu 1500 nga bwetaaga okulondoolwa okulaba engeri gyebukolamu emirimu gyaabwo.
Mu…