Abatuuze ku kyaalo Kitabu Mu gombolola ye Kyalahumba mu disitulikiti ye Kasese baguddemu ekyekango omukyala bw'azadde omwanang'alina emitwe ebiri.
Ekikulekule kino kizaaliddwa omukyala ategerekeseko erya mukyala Kighina wali ku Ddwaliro lya St. Francis of Assisi health center ku kyaalo Kitabu.
Omwana ono afudde amangu ddala nga yakazaalibwa
Abeerabiddeko n’agaabwe bakakasizza nga bwebaziise omwana ono nga alina amagulu abiri,…
Minisitule ekola ku by'obulamu ekakasizza nti obulwadde obwakatta abantu 6 e Hoima bwa kiddukano kya musaayi
Obulwadde buno bwatandikira ku kyaalo kiyoola era nga bukutte abawera
Obulwadde buno bukosa ekyenda omuntu n’afuna obuzibu mu lubuto ekivaako okuddukana.
Minisitule egamba nti amaze okusindika abantu baayo okuyambako okusomesa abantu ku ngeri y’okukuumamu obuyonjo
Mu ggwanga lya Hong Kong, enkoko ezisoba mu mitwalo 2 zittiddwa oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti nyingi zibadde zirina akawuka akaleeta ssenyiga w’ebinyonyi.
Enkoko zino zibadde ziggyiddwa mu ggwanga lya China.
Gavumenti era eweze eby’okuyingiza enkoko mu ggwanga okumala ssabiiti ssatu
Obulwadde bwa senyiga w’ebinyonyi muyite bird flu yatandika okukwata abantu mu mwaka 2013
Embeera yeemu mu ggwanga lya China…
Abakyala abalya ebintu ebirimu amasavu nga bali embuto basaanye okuwulira bino.
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti buli mukyala lw’alya ebisava bikosa obwongo bw’omwana ekivaamu ye mwana okugejja ekisukkiridde ng’akuze
Okunonyereza kuno bakukoze ku mmese era nga kulaze akakwate wakati w’abazadde abanene okuzaala abaana abanene.
Obunene bufuuse ensonga naddala mu mawanga agaakula edda kyokka nga buno era kituufu nti buva…
Bannasayansi bagamba nti waliwo akakwate wakati kokoolo w’olususu n’okunywa omwenge
Kigambibwa okuba nti omwenge guno gulimu ebirungo ebivaamu kokoolo ow’olususu.
Gujabagira ssinga omuntu anywedde omwenge ogwo yeeyanika mu musana n’atuyaana .
Bannasayansi kuno kwebasinzidde okusaba abantu okwegendereza nga banyw aomwenge gubanga gw abulabe eri obulamu bwaabwe
Gavumenti yakuvaayo n’enkola erambika obujjanjabi eri abantu abalina endwadde ezitawona.
Akulira ekibiina ekitumbula enkola eno, Rose Kiwanuka agamba nti abalwadde bangi abalina endwadde ezitawona abayinza okuyambibwa kyokka nga bafiira mu kwewunika kubanga tebalina buyambi bwonna
Kiwanuka agamba nti abalwadde bangi abalina kokoolo ne mukenenya beetaaga obujjanjabi buno
Akikkatiriza nti ssinga enkola eno ebaawo, olwo buli ddwaliro kiba kirikakatako…
Mu ggwanga lya Bungereza etteeka erigaana abavubuka abali wansi w’emyaka 18 okufuuka sigala omulongoseemu liyise.
Sigala ono yefananyirizaako ddala sigala owa bulijjo kyokka ng’ono bamupikabupisi era ng’avaamu ekikka ekikkakkanya omuywi wa sigala
Sigala ono asinga kusangibwa mu mawanga ga Bulaaya nga yatondebwaawo okuyamba abantu okuva ku sigala mpola kubanga tabaamu taaba mungi.
Abantu abakunukkiriza mu kakadde akamu n’ekitundu…
Bulijjo endowooza eri nti okubeera ne sukaali omungi kyekiyinz aokuvaako omuntu okufuna obulwadde bw’omutima.
Kati nno kikakasiddwa nti sukaali ono n’abalina omutima basobola okufuna obulwadde bw’omutima
Sukaali ono asobola okuzibikira emisuwa egitambuza omusaayi omuntu n’akutuka omulundi gumi
Abasaawo bano bagamba nti kino kitegeeza nti omuntu alina kubeera ne ka sukaali katono ddala okuyimirizaawo omubiri gwe era nga wekasukkira…
Omukyala eyafuna obuzibu ku bwongo ng’ali lubuto kyaddaaki aggyiddwa ku byuuma ebibadde bimuyamba okussa.
Abasawo bazuula nti omukyala ono alina omusaayi ogwakwata ku bwongo era bwebatyo nebamussa ku byuuma okulaba nti asooka okuzaala omwana.
Omukyala ono ow’omu kibuga Texas ekya America wa myaka 33 ng’ali lubuto lwa wiiki 14
Ab’enganda ze beebaddukira mu kooti nga bagamba nti kuno…
Kizuuliddwa nti abavubuka abalina kokoolo basobola okuweweerako ssinga bawuliriza mu nyimba zebaagala.
Abanonyereza okuva mu America batunuulidde abalwadde ba kokoolo abali wakati w’emyaka 11 ne 24 nga bano babadde bawuliriza enyimba okumala ssabiiti 3.
Bano bakizudde nti enyimba zino zibayamba okubazzaamu essuubi nebaddamu n’okwagala ab’emikwano n’enganda zaabwe
Abaana bano nno era bangi bayiga enyimba nga boogera ku bulamu…