Abakugu mu by’obulamu bagamba nti ekisinze okuvaako abantu okulwaala amaanyo bwebutamanya kusenya.
Omusawo mu ddwaliro e Mulago, Dr Charles Kasozi agamba nti okusenya mu ngeri etali ntuufu kukosa ekibuno n’amannyo genyini era nga kyabulabe n’okusingako omuntu atasenya
Dr Kakooza agamba nti ate abalala balwaawo okusenya olwo amannyo gaabwe gegafuna obuwuka.
Ono agamba nti omuntu asaanye okumala eddakiika bbiri…
Ekitongole ekikola ku by’okugaba omusaayi kisuubira okufuna omusaayi oguweza unit 2000 mu kawefube w’okugaba omusaayi agenda okumala wiiki nnamba.
Uganda yetaaga unit z’omuaayi emitwalo 25 okusobola okumalawo ebbula ly’omusaayi mu malwaliro ga gavumenti gonna
Akulira ekitongole kino Dr Dorothy Kyeyune bw’abadde atongoza kawefube ono ku ofiisi z’abakozi mu kampala asabye abantu okuwagira enteekateeka eno nga bayita mu…
Eddwaliro ekkulu e Gulu lyetaaga kyuuma ekikebera obulwadde bwa kokoolo.
Omubaka omukyala we Gulu, Aol Betty Acan gamab nti abantu abatwalibwa mu ddwaliro lino n’obulwadde buno bangi ate nga bangi babutegeera kikereezi olw’ensonga nti baba tebasobola kukeberebwa
Mu ngeri yeemu omubaka Acan agamba nti ddwaliro lino liri mu mbeera mbi teririna byuuuma bukozesebwa kyokka nga tebalina kya…
Abasawo mu ggwanga lya Sweden batandise okugezesa eky’okukyuusa nabaana w’omuntu nebamuzza mu mulala .
Kino kikolebwa okuyamba abakyala ababa tebasobola kuzaala ate nga bandifunye ababawa abaana
Kino basoose kukikola ku ba luganda
Akulembeddemu enteekateeka eno ye Dr Mats Barnstorm, ng’agamba nti abakyala bangi mu nsi yonna bajja kusobola okuyambibwa
Kino kijja kuyamba abakyala abazaalibwa nga tebalina nabaana oba nga…
Obadde okimanyi nti okumeketa emwanyi naddala enkalu kiyamba omuntu okujjukira enyo.
Okunonyereza okukoleddwa mu gwanga lya America ,kulaze ng’okumeketa emmwanyi bwekuyamba mu kuwagala obwongo bw’omuntu.
Okunonyereza kuno kukoleddwa ku bantu 160, nekukizuula nti abantu bano bajjukira nyo bwogerageranya abo abamira empeke.
Wabula abakungu basabye abantu obuteyibala kubanga okulya enyo emwanyi ate kiretera omuntu okubulwa emirembe wamu n’otulo.
Wadde nga waliwo eddagala ,abantu 400 beebakwatibwa ekirwadde ky’ebigenge buli mwaka mu Uganda
Ku bano, ebitundu 10% baana bato abali wakati w’emyka 8 – 15.
Omukungu okuva mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Frank Mugabe agambye nti abaana bato obulwadde buno babujja ku bantu abakulu, abalagajalira okunywa eddagala.
Dr Mugabe agambye nti ekirwadde kino kisinga kwegirisiza mu district omuli Kampala,…
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti okulya ennyo ebibala n’ebivaava kiyamba okukendeeza ku bulwadde bwa Asma.
Okunonyereza kuno kusoose kukolebwa ku mmese nekulaga nge bino bwebizibukula amawuggwe omuntu n’asobola okussa obulungi.
Mu ngeri yeemu era bino byongera abasirikale b’omuntu mu mubiri.
Abanonyereza bano era bagamba nti abantu okuva ku mmere ya bulijjo nebadda ku nongoseemu, kyekimu ku biyinza okuba nga…
Omukyala eyafiirwa omwana we gweyali yakazaala addukidde mu kooti.
Mastulah Nambooze y’awaabye eddwaliro lya Case medical clinic n’omusawo eyamuzaalisa Dr Haruna Mwanje.
Omukyala ono agamba nti omusawo ono yamulagajjalira ekyavaako omwana we okufa ate naye y’akosebwa ku nabaana
Ono agamba nti mu mwezi gw’omwenda mu mwaka 2012, yatandika kunywa eddagala mu ddwaliro lino okutuusa mu mwezi ogw’okusatu ogw’omwaka…
Minisitule y’ebyobulamu erangiridde nga distilukiti eziriraanye Napak awabaluse obulwadde bwa Hepatitis E bweziri mu katyabaga k’abazibeeramu okufuna obulwadde bwebumu.
Obulwadde buno bwakatta abantu 13 ate ng’abalala abawera bali ku bitanda
Obulwadde bwa Hepatitis E bukwata kibumba ng’era buva ku bujama
Omwogezi wa minisitule y’ebyobulamu, Rukia Nakamatte agamba nti obulwadde buno tebulina ddagala libuwonya mu kadde kano ng’abantu balina…
Omuwendo gw’abantu abanene ennyo mu nsi yonna gweyongedde nga gwekubisizzaamu emirundi kumpi ena.
Abantu kati abanene munsi yonna basoba mu kawumbi akalamba
Okunonyereza kuno kukoleddwa abasawo okuva mu Bungereza nga bazze babala abantu abanene ennyo okuva mu mwaka ogwa 1980.
Kigambibwa okuba nti ku buli bantu basatu b’osanga kubaako omunene ennyo era nga gavumenti ezitali zimu zisabiddwa okussaawo…