Ebyobulamu
Okuzaala omwana omu kuleese ebizibu mu China
Mu ggwanga lya China, enkola yaabwe ey’okuzaala omwana omu buli maka etandise okubatabukira. China yatandika enkola eno mu mwaka gwa 1979 nga teri muntu akkirizibwa ku zaala baana basukka mu omu. Ekintu kino kyaleetebwa okukendeeza mu muwendo gw’aba china ogwaali gususse obungi kyokka nga kati […]
Abalwadde bakulya nga balimi
Abalwadde mu ddwaliro ekkulu e Mulago bakulya nga balimi ku ssekkukkulu. Bano bagenda kulya mmere ya njawulo ku lunaku luno okwawukanako n’ebinjanjaalo n’akawunga byebalya bulijjo Kusaasira agamba nti bagenda kusala ente n’okufuna emmere ey’enjawulo okuliisa abalwadde baabwe Kusasira agamba nti tebagaala antu baabwe kujula babeere […]
Ebimotoka bya kasasiro bizze
Mu kawefube ow’okugogola ekibuga okutemagana, KCCA efunye ebimotoka ebitambuza kasasiro Minista wa kampala Frank Tumwebaze agambye nti bino byaguliddwa ku nsimbi z’eggwanga eziwerera ddala obwumbi 2 Ono agambye nti ebimotoka bino kuliko ebinyiga kasasiro ate ng’ebirala bbyo bimutambuza
Eddagala erizza obuto omuntu
Bannasayansi okuva mu ggwanga lya America bagezesezza eddgala eriyinza okuyamba abantu okudda obuto. Eddagala lino lisoose kugezesebwa ku nsolo era nerivaamu ebibala. Eddagala lino lizza buggya emisuwa ng’owemyaka 60 akyuuka emisuwa negyenkana omuvubuka ow’emyaka 20. Emisuwa gino wabula yadde gidda buto naye tegyegolola Bannasayansi bano […]
Abakubwa obutayimbwa beeyongedde
Ng’ebula nnaku mbale ssekkukkulu etuuke, abantu abatwalibwa e Mulago nga bakubiddwa obutayimbwa nabo beeyongedde Mu mwezi gumu gwokka , abalwadde 100 n’omusobyo beebaweebwa ebitanda Akulira abalongoosa emitwe mu ddwaliro e Mulago, Dr Michael Muhummuza aamba nti abasinga okutwalibwa babeera bagoba ba bodaboda
Okukuuma obuyonjo e Mulago
Mu kawefube ow’okwongera okuwanika omutindo gw’obuyonjo mu ddwaliro, ab’eddwaliro lye Mulago bongezezza ku mirundi gyebalongoosa waadi zaabwe Eddwaliro lino libadde lirongoosebwa emirundi esatu olunaku kyokka nga kati bakulongoosa buli webalaba akacaafu Omwogezi w’eddwaliro lino, Enock Kusaasira agama nti abalwadde bagaala beeyagalire mu ddwaliro lino nga […]
Baggadde obulwaliro
Ab’ekibiina ekikola ku ddagala ekya The National Drug Authority kitandise okukola ebikwekweto okuggala amalwaliro agatatuukagana na mutindo Obulwaliro obusoba mu kikumi bwebwagaddwa mu bugwanjuba ne mu buva njuba bw’eggwanga Akulira ekibiina kino, Gordon Ssematiko agamba nti bafubye okulabula bannanyini bulwaliro buno naye nga bafuuyira ndiga […]
Obutebaka kirumya omutwe
Abakugu mu by’obulamu bakizudde nti obuteebaka kimala kiviirako abantu okulumwa omutwe. Omukungu okuva mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Isa Makumbi agambye nti omuntu obuteebaka kimala kimuviirako okulumwa omutwe entakera. Makumbi agambye nti omuntu omulamu erina okwebaka essawa 8 olunaku. Wabula ono agambye nti okunywa enyo amazzi […]
Abalwadde b’amannyo bangi
Abantu 5000 abalina obuzibu ku mannyo beebagenda okujjanjabibwa ku bwereere mu nkambi ekubiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago Enkambi eno etegekeddwa aba Rotary clb Kampala north n’aba NSSF Akulira essomero ly’abalwadde b’amannyo, Dr Liuos Muwazi agamba nti obuzibu obuzibu bw’amannyo bwa maanyi kyokka nga tebufiiriddwaako […]
E Butabika, abasawo batono
Ebbula ly’abasawo mu dwaliro lye Butabika lizingamiza emirimu. Akola ng’akulira edwaliro lino Dr.Juliet Nakku agambye nti omuwendo gw’abalwadde ogweyongera buli lukya, ate ng’abasawo batono gutadde edwaliro mu katyabaga. Dr. Nakku agamba nti wadde nga government yabasubiza okubawa abasawo abalala, wabula kino tekinakolebwa.