Ebyobulamu
Abaana banafuwa
Abaana bangi tebasobola kudduka kutuuka ku bakadde baabwe nga bwebaali nga bato. Abakugu bagamba nti abaana abazaalwa bajja banafuwa era nga nebebazaala nabo bakunafuwa Abanonyereza bano batunuulidde abaana abasoba mu bukadde 25 m,u mawanga 28 okwetoloola ensi Kino kigenda kuyamba bangi okutegeera lwaki bajjajja ffe […]
Siriimu akwata mangu nga yakakwata omuntu
Kizuuliddwa nti omuntu aba yakafuna obulwadde bwa mukenenya aba asinga mangu omulala ssinga wabaawo okwegatta Ab’akakiiko akakola ku bulwadde bwa mukenenya bagamba nti akaseera kano kabulabe nnyo Omusawo okuva mu kakiiko kano, Dr Vinand Natulyaagamba nti mu ssabiiti 3 oba nnya, omuntu nga yakafuna obulwadde […]
Lunaku lwa kabuyonjo-Bangi beekuniza
Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lwa kabuyonjo abantu bangi okwetoolola ensi n’okutuusa kati tebamanyi mugaso gwa kabuyonjo. Ekibiina ky’amawanga amagatte kitegezezza ng’abantu abasoba mu bukadde 2 mu nsi yonna bwebatalina kabuyonjo nga kino kiviriddeko bangi okufa endwadde eziva ku bukyaafu sso nga […]
Akafuba- Abe Iganga basetuuse
Abasawo mu distuliki ye Iganga bali mu kucacanca oluvanyuma lw’okukizuula nti abantu abekebeza obulwadde bw’akafuba beeyongeredde ddala Abaddukanya distulikiti eno bagamba basobodde okuzuula abantu 50 abalina akafuba ekibadde kitasoboka luli nga bazuulayo abantu 10 bokka Akulira ekiwayi ekirwanyisa obulwadde buno mu district eno, Joseph Iga […]
Obutimba bujja
Ministry y’ebyobulamu ekakasizza nga abantu b’omu masekkati g’eggwanga bwebali ab’okufuna obutimba bw’ensiri ku bwerere nga omwezi guno tegunaggwako. Omwogezi wa ministry eno Rukia Nakamatte agamba disitulikiti ez’okuganyulwa mu kino kuliko Luwero Masaka, Mpigi and Rakai nendala nga ate disitulikiti okuli kampala ne wakiso zakuweebwa obutimba […]
Mugende babakebere omusaayi-Museveni
Pulezidenti Museveni akubirizza bannayuganda okwekebeza okumanya webayimiridde mu nsonga za mukenenya Kino pulezidenti agamba nti kyakuyamba okutegeera abalwadde era batandisibwe ku ddagala nga bukyaali. Ono agamba nti endwadde ya mukenenya ekyaalian akakwate ku ku nneyisa y’omuntu ng’engeri endala omuyita obulwadde buno ng’empiso, omusaayi kko n’obuva […]
Ebbula ly’obupiira
Ebbula ly’obupiira bugalimpitawa lirumbye abe Kamuli. Kino kikakasiddwa akulira enteekateeka y’okugabira abantu eddagala eriweweeza ku mukenenya e Kamuli George Kalembe. Alaajanidde ekitongole kya National Medical Store okubaddukiria kubbula lyo’bupiira buno elimaze ebbanga lya myezi ebiri miramba. Kalembe ategezezza Dembe FM nti kino kizingamizza omulimu ogw’okulwanyisa […]
Abasawo bakwatiddwa e Sembabule
Abasawo 12 beebakwatiddwa lwa kwepena mirimu Kino kisanyalazza emirimu ku ddwaliro lye sembabule nga tewaliiwo basawo Akuliddemu ekikwekweto, Swaibu Bagendana agamba nti bafunye okwemulugunya okutali kumu okuva eri abakozi olw’okugendanga mu malwaliro nga teri basawo Ono agamba nti abasing okukosebwa beebakyaala b’embuto n’abalina obulwadde bwa […]
Pulezident museveni wakwekebeza Mukenenya
Mu kawefube ow’okusikiriza abafumbo okwekebeza obulwadde bwa mukenenya, pulezidenti Museveni wakwebeza nga bali ne kabiite we Janat Museveni olunaku lw’enkya. Ekiwandiiko ekivudde mu kakiiko akakola ku bya mukenenya kiraga nti pulezidenti kino agenda kukikolera ku ddwaliro lye Kiswa erisangibwa e Bugoloobi Pulezident era wakukozesa akakisa […]
Okutulugunya omwana kikosa obwongo
Okutulugunya omwana nga muto Kireka enkovu ku bwongo bwe. Eno y’ensonga lwaki abatulugunyiziddwa bafuna ebizibu ne bewunika ate abalala bakola ebikolwa ebibi ennyo olw’embeera eno. Okunonyereza okwakoleddwa ku bavubuka kwazudde akakwate wakati w’omwana engeri gy’akuzibwaamu n’ekyo ky’afuuka mu bulamu ng’akuze. Kino kiyitirira ssinga omwana ono […]