Amawulire
Eddwaliro lye Mityana teririna ggwanika
Embeera y’eddwaliro lye Mityana yeeralikiriza. Kizuuliddwa nti eddwaliro lino teririna ggwanika nga kati waliwo kasitoowa akatono akatasobola nakugyamu mirambo gisukka 5 mwebagizinzika. Kasitoowa kano kafunda nyo nga ate temuli byuuma binyogoza , so nga n’akasolya katonnya. Kati giweze emyezi 2 nga tewali ddagala lyakukuba mu […]
Abaana balongoseddwa emitima
Abaana 20 beebalongoseddwa emitima mu ddwaliro ekkulu e Mulago. Abaana bano balongooseddwa ku bwereere ekibinja kya basawo abawerede ddala 40 nga bano babadde bayiga kulongoosa kw’ekika kino. Kawefube ono bannaRotary eya kampala mu bukiikakkono nga bali wamu n’ekibiina kya Gift of life beebamusakiridde Minisita akola […]
Mugule ebyuuma-Pulezidenti Museveni
Pulezident museveni alagidde aba ministry y’ebyobulamu okugula ebyuuma byonna ebyetaagisa ku dwaliro ekkulu e Mulago Kino kizze ng’ebyuuma ebisinga birina ebizibu ,ebipya byebyetaagisa nga n’ebimu byatalagga dda. Minista w’ebyobulamu, Dr Ruhakana Rugunda agamba nti batandise kawefube w’okugula ebyuuma bino okulaba nti eddwaliro litereera mu buli […]
Quinine alemeza
Kizuuliddwa nti empiso za Quinine ezikubwa abantu zeezimu ku bintu ebisinga okulemeza abantu naddala abaana. Kigambibwa nti abantu ebitundu 40 ku kikumi eky’abalemera ku ngeri ezitategerekeka baba bakubiddwa mpiso zino Omusawo omukugu, Dr Michael Mukasa agamba nti ssinga eddagala lya quinine likozesebwa bubi ku muntu, […]
Abasawo b’amagumba tewali
Uganda erina abasawo 26 bokka abayunga ga bano beebakola ku bukadde bw’abantu 33. Minista w’ebyobulamu Dr Ruhakana Rugunda agamba nti kino kirese abantu abawera abamenyese nga tebaliiko ayamba era gyebigweera nga bagenze ku basawo b’ekinnansi Rugunda agamba nti mu malwaliro agamu okwetoloola eggwanga teriiyo musawo […]
Tebakima ddagala
Ab’ekitongole ekitereka eddagala beesambye eby’okubeera nti beebali emabega w’amalwaliro agataliimu ddagala. Omwogezi w’ekitongole kino Dan Kimosho agamba nti kino kiva ku bakulira amalwaliro okusuulayo ogwannagamba ng’abasinga tebaweereza kusaba kwaabwe nga bukyaali Kimosho agamba nti kikakata ku buli mukulu mu ddwaliro okussaamu okusaba ku ddagala lyeyetaaga […]
Abakulembeze e Masaka baboggodde ku sikaani
Ab’obuyinza mu district ye Masaka basabye gavumenti okusitukiramu okubafunira ekyuuma ekikola sikaani ekiggya. Kino kiddiridde ekyuuma ekibaddewo okufa nga kati abalwadde balina okunoonya gyebakolera sikaani nga tebannajjanjabibwa Omubaka w’ekibuga kye Masaka Mathius Mpuuga agamba nti ekyuuma kino kyafa dda ensonga nebazituusa ne mu palamenti naye […]
Embeera mbi mu malwaliro
Embeera y’amalwaliro mu ggwanga ekyayungula amaziga Ababaka ba palamenti abali mu kulambula amalwaliro bakizudde nti mangi tegalina ddagala Awamu teliiyo mpiso n’obukozesebwa okusaako abantu omusaayi oba amazzi Kino kirabiddwaako e Mukono ne Jjinja Ate yyo e jjinja kiri bubi nnyo nga n’ekyuuma ekitereka ebikyaafu kyaafa […]
Dduyiro ayamba abayizi
Okukola dduyiro eri abayizi kibayamba okukola obulungi mu bibiina Okunonyereza kuno okwakoleddwa ku baana enkumi ttaano kulaze akakwate wakati w’okukola dduyiro n’obuwanguzi eri abayizi mu masomo g’olungereza, Okubala ne sayansi. Buli mulenzi lweyeyongera okukola dduyiro ayongera okutereera emirundi 17 ate abawala emirundi 12. Okukola dduyiro […]
Eby’omukyala eyafiiridde mu ssanya biranze
Gavumenti esabiddwa okwongera emisinde mu kawefube w’okuddabiriza amalwaliro ga gavumenti okwetoloola eggwanga okukendeeza ku muwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya. Omubaka we Bukhooli mu bukiikakkono, Baka Mugabi agamba nti gavumenti erudde ng’eyimba nga bw’eganda okuddabiriza amalwaliro kati emyaka esatu nga tewali kikolebwa. Ono agamba nti abakyala […]