Wali oyogeddeko n’omuntu ng’acuuma akamwa.
Buli muntu ndowooza teyadyagadde kufulumya mukka mubi naddala nga guyita mu kamwa oba mu nyindo
Ekirungi nti embeera eno ssiyalubeerera era esobola okuwona.
Omukka guno nno guva mu kamwa , mu kibuno, mu mannya ne ku lulimi
Dr. Jeffrey Spiegel okuva mu America , agamba nti omukka guno guyinza okwewalibwa ssinga omuntu asenya amannyo…
Abantu bangi bafuna ebizibu nebamenyekako emikono.
Kati nno okweralikirira kukome anti ab’eddwaliro e Mulago baleese emikono egyekimpatiira naye nga gino gikola buli kimu okwawukanako n’egibaddewo
Omukono guno ogugabwa e Mulago ku bwereere omuntua sobola okugukozesa okuwandiika okusitula omwana n’ebirala
Abazadde bangi bazaala abaana nga tebamanyi nti baliko obukyaamu bwonna
Embeera yeemu eri omukyala Nicole eyazaala mutabani we ng’alaba mulamu awatali buzibu bwonna
Wabula omwana ono gyeyajja akula bakizuula nti yali akozesa oludda lumu okukola emirimu
Omwana ono bamutwala mu ddwaliro okwekebejjebwa kyokka era tewali kirabika
Omwana ono bayongera okumwekebejja era okukizuula nga yasanyalala ko ekyuuyi olw’obulwadde bw’ensimbi obwaali…
Obadde okimanyi nti okukola dduyiro abangi zemumanyi nga exercise kyongera okunyweeza omubiri gwo obutalwaalalwaala.
Dr.Phenecance Bwambale okuva mu ddwaliro e Mulago agamba nti okukoladuyiro kuba nga kuyonja mubiri era nga buli Muntu nga bwakeera n’alongoosa enyumba bw’alina okulongoosa omubiri
BWambale agama nti omubiri buli lw’okukozesa dduyiro gunaaza ebikyaafu byonna nebifuluma olwo omuntu n’asigala nga muyonjo.
Ababaka ba palamenti abakyala abali mu kisinde ky’ababaka abakyala ne ba minister ku semazinga wa Africa bakujaguza ameefuga g’eggwanga mu ngeri ya njawulo nnyo.
Bano bagenda kumala olunaku luno nga balambula waadi z’amalwaliro agatali gamu
Akulira ekisinde kino mu Ugandan Sylivia Namabidde agamba nti okutalaaga waadi zino bagenda kukutambuliza ku mulamwa gw’okukendeeza emizizoko egivaako abakyala okufiira mu…
Kikakasiddwa nti eggwanga lya Sweden lyelisinga okuwembejja abakadde.
Afghanistan ate yeeyasinga okubakijjanya ku luuyi luli
Ab’ekibiina ky’amawanga amagatte beebatuuse ku bino mu kunonyereza kwebakoze mu mawanaga 91 era ng’okunonyereza kuno kukwatagana n’olunaku lw’abakadde olukwatiddwa mu nsi yonna olwaleero.
Ab’ekibiina kino bagamba nti amawanga mangi tegalina nteekateeka nnambulukufu eyamba bakadde olwo nebafuuka abasabirizi ate nga baba tebakyasobola kukola
Ab’ekibiina kino…
Ekitongole ekikola ku by'eddagala mu ggwanga ekya National Drug authority kyewozezzaako ku musolo ogujjibwa ku bantu abayingiza obupiira bu galimpitawa mu ggwanga
Bano bagamba nti ensimbi ezijjibwa ku bantu bano ziyamba mu kwekebejja bupiira buno okulaba nti butuukagana n’omutindo.
Omwogezi w’ekitongole kino, Fred Sekyana agamba nti ensimbi zino wabula bafuba okuzikuumira wansi okusobozesa buli Muntu okuyingiza obupiira.
Ono…
Abalongo ba nabansasaaana abazaaliddwa e Mbarara bafudde.
Abalongo bano babadde balina emitwe ebiri, amagulu abiri, emikono ebiri kyokka nga balina ekifuba kimu.
Maama waabwe Anabella Kansiime yagaanye eby'okukyuusa abaana bano okubazza e Mulago era nga kino kyekyalemesezza eb'eddwaliro okubaako nekyebakola.
Akulira eddwaliro lino Dr George Upenytho agamba nti abaana bano babadde ba bingi ebitambula bulungi mu mibiri gyaabwe…
Waliwo abalongo ba nabansansana abazaaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Mbarara.
Abalongo bano balina emitwe ebiri, amagulu abiri, emikono ebiri kyokka nga balina ekifuba kimu.
Maama waabwe Anabella Kansiime balongosezza mulongoose mu kubazaala.
Akulira eddwaliro lino Dr George Upenytho agamba nti bagenda kukyuusa abaana bano babatwale mu ddwaliro e Mulago kyokka nga baluddewo kubanga maama waabwe ekyagaanye
Dr. Upenytho agamba…
Ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku by’obulamu kyakutongoza enteekateeka enakendeeza ku ndwadde ezitatera kufiibwaako.
Enteekateeka eno eganda okumala emyaka 5 yakuwemmenta obukadde bwa doola 55.
Akulira ekibiina ky’obyobulamu, Dr. Wondimagegnehu Alemu agamba nti kikakakata ku buli gavumenti okussa ensimbi mu ndwadde zonna okukendeeza ku muwendo gw’abafa.
YYe akulira ekibiina ekikola ku ndwadde ezitafiibwaako, Dr . Edridah Tukahebwa agamba nti…