Ebyobulamu

Sikaani mu ddwaliro e Masaka efudde

Ali Mivule

October 22nd, 2013

No comments

Ekyuuma ekikola sikaani mu ddwaliro e Masaka kifudde. Ekyuuma kino tekikyasobola kufulumya bifananyi era nga tekisobola kukolebwa kale ng’ekipya kirina okugulwa. Akulira eddwaliro lino Eleazar Mugisha agamba nti bagezezzaako okulaba oba ekyuuma kino kisobola okuddabirizibwa naye byonna kusiiwa nsaano ku mazzi. Eddwaliro lye Masaka ssi […]

Abali mu kunywa eddagala lya Mukenenya beyongedde

Ali Mivule

October 21st, 2013

No comments

Akakiiko akakola ku bulwadde bwa mukenenya aka Uganda Aids Commission agamba nti omuwendo gw’abafuna obulwadde bwa mukenenya gukendedde olw’abantu abali ku ddagala okweyongera. Akulira akakiiko kano, Dr Kiwummulo Apuuli agamba nti omuntu buli lw;abeera ku ddagala emikisa gye egy’okutambuza obulwadde bwa mukenenya gikendeera Mu myezi […]

Kokoolo w’emba mu baana

Ali Mivule

October 21st, 2013

No comments

Kokoolo afubutukira mu mba yeeyakasinga okuluma abaana. Ebituntu 60 ku bantu abatwaliddwa ku ddwaliro lya kokoolo e Mulago baali baana. Ku baana bano 10 mukaaga balina kokoolo ono ow’omumba Omusawo ajjanjaba abaana, Dr Allen Namaala agamba nti obuzibu bwebasinze okusanga nti abazadde abaana babaleeta baweddeyo […]

Gavumenti yetegekedde obulwadde obwakutte abalamazi

Ali Mivule

October 21st, 2013

No comments

Emmeeza ey’enjawulo essiddwawo ku kisaawe Entebbe okukebera abantu abava emitala w’amayanja Mu bano kwekuli abalamazi okuva mu ggwanga lya Saud Arabia . Kiddiridde ekirwadde ekikosa okussa kw’omuntu ekimanyiddwa nga MERS okulumba abalamazi ng’abasoba mu 51 beebakoseddwa Omukungu mu ministry y’ebyobulamu ng’akulira ekitongole ekinonyereza ku ndwadde […]

Lunaku lwa bya bulamu bwa bakyala

Ali Mivule

October 16th, 2013

No comments

Gavumenti esabiddwa okwongera amaanyi mu kumanya ebiruma abavubuka mu byobulamu. Okusaba kukoleddwa akabondo k’ababaka abasawo ne ba minista mu kabonga Uganda yegatta ku nsi yona okukuza olunaku lw’okukandula amaloboozo ku by’enzaala y’abakyala Akulira akabondo kano, Sylivia Namabidde agamba nti Uganda esingamu bavubuka kyokka nga ebyobulamu […]

Eddagala erigema mukenenya

Ali Mivule

October 14th, 2013

No comments

Kawefube w’okugezesa eddagala erigema obulwadde bwa Mukenenya egenda bukwakku. Abagezesa batambuddeko ebitundu 50 ku kikumi yadde nga tebaatudde ddi lwebamaliriza omulimu. Okugezesa kuno kugenda mu maaso mu Kenya, Tanzania ne America Omuwi w’amagezi eri gavumenti ku by’okugema mu kibiina ky’ensi yonna ekikola ku byobulamu Dr […]

Lunaku lwa kulaba

Ali Mivule

October 10th, 2013

No comments

Olwaleero Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’okulaba Olunaku luno lwassibwaawo okussa essira n’okujjukiza abantu ku bizibu ebiyinza okuviirako omuntu obutalaba Muno mwemuli endwadde ezikwata amaaso negafa naye nga zisobola okwewalibwa Abakugu mu nsonga z’amaaso bagamba nti okulya obubi oba okulya ebitali bituufu kyekimu […]

Abakyala bali embuto tebalina kulowooza nnyo

Ali Mivule

October 10th, 2013

No comments

Abakyala abafuna okunyigirizibwa nga bali embuto bali mu bulabe bw’okuzaala abaana abanyigirizibwa nga bakuze Abaana abaazalwa abazadde ab’ekika kino batera okutabukira ddala nebagwa n’eddalu Okunonyereza okwavuddemu bino kwatunuulidde bamaama abawerera ddala kanaana abafuna okutawanyizibwa nga bali embuto

Eggwanika ssi lyakutereera

Ali Mivule

October 10th, 2013

No comments

Embeera  ku ggwanika e mulago yakusigala nga mbi okutuusa nga KCCA amaze okuddabiriza eggwanika lyaayo. Aba KCCA bagamba nti eggwanika lyaabwe lyakuggwa okuddabirizibwa mu mwezi gw’okusatu omwaka ogujja. Akulira eddwaliro lye Mulago, Dr Baterena Byarugaba agamba nti mu kadde kano tebalina kyakukolera mbeera eno. Dr […]

Okuwunya akamwa, manya bino

Ali Mivule

October 8th, 2013

No comments

  Wali oyogeddeko n’omuntu ng’acuuma akamwa. Buli muntu ndowooza teyadyagadde kufulumya mukka mubi naddala nga guyita mu kamwa oba mu nyindo Ekirungi nti embeera eno ssiyalubeerera era esobola okuwona. Omukka guno nno guva mu kamwa , mu kibuno, mu mannya ne ku lulimi Dr. Jeffrey […]