Ebyobulamu

Ba maama abato beebaviirako abaana baabwe okufa

Ali Mivule

September 30th, 2013

No comments

Abaana abazaalwa abakyala abali wansi w’emyaka 30 batera okufa okwawukanako n’abo abazaaliddwa bannaabwe abakulu Okunonyereza kuno kukoleddwa okumala emyaka 20 nga kizuuliddwa nti abakyala ababeera abato baba babulabe eri abaana baabwe Abanoonyerezza bano bagamba nti ba maama abato beetaga nnyo okuyamba okumanya abaana baabwe nebasobola […]

Enyindo emeze mu kyenyi

Ali Mivule

September 26th, 2013

No comments

Omusajja eyagongobala enyindo ng’agudde ku kabenje agenda kussibwaako endala. Xiaolian, 22, akabenje yakafuna mu mwaka gwa 2012 Abasawo bagezaako okulongoosa enyindo naye nebalemererwa era bwebatyo basalawo okumusalako obunyama bwebagattagatta nebabumuteeka mu kyenyi olwo nebakubamu eddagala era ng’okuva olwo bubadde bumera Omusajja ono obuyamba buno bumuviiriddemu […]

Dokita bamuyise bukubirire

Ali Mivule

September 26th, 2013

No comments

Kooti ento eya Buganda road eyise omusawo wabakyala Dr Edward Tamale Ssali alabikeko gy’eri Dr Ssali avunaanibwa kulagajjalira mulwadde ekyamuviirako okufa Ono abadde alina okulabikako mu kooti olunaku lwaleero lyokka nga talabiseeko Dr Ssali nga y’akulira eddwaliro ly’abakyala e Bukoto avunaanibwa n’abasawo Christopher Kirunda kko […]

Temwerumya njala

Ali Mivule

September 25th, 2013

No comments

Okwerumya enjala omuntu n’atalya mmere kyabulabe eri obulamu. Omusawo omukugu mu nsonga z’emitima, Wilson Nkyakoojo agamba nti obutalya kivaako omubiri okuzaala amasavu mu mubiri omuntu n’agejja ekimuviirako okufuna obulwadde bw’omutima. Omusawo ono agamba nti abantu bangi ennaki zino beerumya nnyo enjala ate ng’abamu bakigenderera naye […]

Tomala gafumita mubiri gwo

Ali Mivule

September 24th, 2013

No comments

Ekibiina ekilondoola ensonga z’ebyobulamu kyeralikiridde olw’abakyala abakozesa empiso okufumita emibiri gyaabwe Ekibiina kya National Institute for Health and Care bagamba nti abakyala bayitirizza okubomola emibiri gyaabwe mu ma saluuni n’awaka ate nga kyabulabe. Abasawo bagamba nti okukozesa empiso zeezimu kissa obulamu bw’abafumitibwa mu katyabaga k’okufuna […]

Okwebaka emisana kurungi eri abaana

Ali Mivule

September 24th, 2013

No comments

Okwebasa omwana omuto okumala wakiri essaawa emu ng’amaze okulya eky’emisana kimuyamba okukwata by’asoma. Okunonyereza kuno kukoleddwa  ku baana basatu abali wansi w’emyaka esatu. Abasawo bagamba nti buli mwana bweyebakako akkakkana n’okukakasa by’asoma era ng’agenda okuzuukuka ng’awummuza obwongo.

Obulwadde obukwata ekibumba butabukidde ebe Serere

Ali Mivule

September 24th, 2013

No comments

Obulwadde bwa Hepatitis B obwalumba abantu ne Serere butunduzza emitima gy’abakulembeze mu kitundu kino. Okusinziira ku bakulira district eno, abantu ebitundu bitaano ku kikumi eby’abantu mu district eno balina ekirwadde kino. Kino kitegeeza nti buli lw’obala abantu 100, bataano baba balina ekirwadde kino. Minisitule ekola […]

Obulwadde bwa mukenenya bukendedde

Ali Mivule

September 24th, 2013

No comments

Alipoota efulumiziddwa ekibiina ky’amawanga amagatte ku bulwadde bwa mukenenya eraga nti bukenderedde ddala. Abantu abaafa omwaka oguwedde baali akakadde kamu mu emitwaalo 60 okwawukanako n’omwaka gwa 2005 abantu obukadde bubiri mu emitwaalo 30 mwebafiira Mu ngeri yeemu n’omuwendo gw’abantu abafuna ekirwadde kino gukenderedde ddala Bwegutuuse […]

Amalwaliro temuli musaayi

Ali Mivule

September 23rd, 2013

No comments

Ebbula ly’omusaayi kikyaali kizibu kya maanyi mu malwaliro agasinga Eno y’ensonga lwaki abantu bakubirizibwa bulijjo bagabe nga omusaayi okumalawo ekizibu kino Olwaleero unit z’omusaayi 100 zeezikunganyiziddwa ku Datamine technical business school. Akulira ettendekero lino, Deo Nyanzi agamba nti omusaayi guno gugenda kutwalibwa mu malwaliro agali […]

Kamulali mulungi, ssi mulungi

Ali Mivule

September 23rd, 2013

No comments

Obadde okimanyi nti okulya kamulali kiyamba omuntu okulya emmere ewerako. Kino kisinga kukola eri abo abatatera kumulya Omusawo omukugu mu nsonga z’okulya, Gloria Nabasa agamba nti kamulali ono ayookya n’amasavu omuntu n’asigala nga mulamu. Mu ngeeri yeemu kamulali ono era alimu ne Vitamin A ne […]