Minisitule ekola ku by’obulamu akakasizza nti abavubuka okumala geegadanga kyekivuddeko mukenenya okweyongera.
Minisita akola ku by’obujjanjabi obusookerwaako, Sarah Opendi agamba nti abavubuka bangi balowooza nti waliwo eddagala eriweweza ku mukenenya olwo nebalowooza nti baba bawona.
Opendi wabula agamba nti bakusigala nga bakola obubaka obugenda eri abavubuka okulaba nti kino kikendeera
Okusinziira ku minisitule y’ebyobulamu, abantu 7 ku kikumi…
Abaana abali wakati w’omwaka 1- 15 bawereddwa omukisa okukozesa kabuyonjo ku bwerere mu bitundu bye Katanga.
Kino kikoleddwa okukendeza ku kumansa kazambi mu kitundu kino.
Ssentebe w’ekyaalo, Hassan Wasswa agamba nti abaana bano babadde basanga obuzibu okufuna webeyambira olw’ensonga nti eziriyo za ssente.
Enkambi abantu mwebanayita okumanya ebikwata ku bulamu bwaabwe yakubaawo ku lw'omukaaga luno.
Enkambi eno amanyiddwa nga Full Woman health camp ku luno essira yakulissa ku bya ndya bya baana n'abakyala abali embuto.
Omukungu mu Monitor publications, Jackie Tahakanizibwa agamba nti enkambi eno egenda okubeerawo omulundi ogw'okutaano, yakukozesebwa abakyala ,abaami n'abaana okumanya ebisingawo ku bulamu bwaabwe ate ku…
Abakyala ababeera mu mawanga agaakula edda balina emikisa gy’okuwangaala okusinga banaabwe mu mawanga amaavu
Ab’ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku byobulamu bagamba nti abakyala batono mu mawanga agakyakula abasukka emyaka ataano.
Kino kiva ku ndwadde ezibaluma ezitaggwa omuli n’ezo ezitalina kuba za bulabe
Ekibiina kino kigamba nti walina okubaawo ebikolebwa ebya mangu okulaba nti abakyala bakoma okufa mu ngeri…
Obuteebaka kimala kya bulabe nnyo eri obulamu bw'omuntu.
Okusinziira ku basawo, omuntu alina okwebaka okumala essaawa munaana okubeera obulungi kyokka nga bangi tebaziweza.
Bannasayansi bagamba nti obuteebaka buvaako endwadde z’omutima omuli ogwewuuba, nga gusobola n’okwesiba omulundi gumu omuntu n'afa ekibwatuukira.
Abantu abaweza ebitundu 90 ku kikumi bafuna obulwadde bw’omutima olw’ensonga nti tebeebaka kimala.
Kyokka era mu ngeri yeemu abakyala…
Obulwadde bw’akafuba kizuuliddwa nti bwava mu Africa emyaka bufukunya amabega
Kino kisanguddewo bulijjo ebyogerwa nti obulwadde buno bwava ku nsolo emyaka omutwalo mulamba emabega
Okunonyereza kuno kulaza nti abavaako obulwadde buno baali bayizzi emyaka emitwaalo 70 emabega
Wabula tebalaze wa wenyini mu Africa wava obulwadde buno.
Obulwadde bw’akafuba butta abantu abasoba mu kakadde buli mwaka mu nsi yonna.
Gavumenti ekakasizza nti tebajja kusobola kufuna misaala gya bazaalisa ku malwaliro ga health center 3 ne 4.
Minister akola ku by’ensimbi, Matia Kasaija agamba nti batunuuliddwa byakutereeza byabuzimbi omuli enguudo sso ssi byabulamu
Kasaija agamba nti wabula abasawo bano tebasaanye kuggwaamu maanyi .
Wabula ekitongole eky’obwa nnakayeewa akola ku nsonag za bamaama abafiira mu Sanya kigamba nti tebagenda…
Tewanabaawo Muntu mulala efuna musujja oguva ku nkwa ogumanyiddwa nga Congo Crimean hemorrhagic fever mu district ye Agago
Akulira eby'obulamu mu district eno, Dr Emmanuel Otto agamba nti abantu abasatu abaweebwa ebitanda nabo baasibuddwa ku lunaku lw’omukaaga
Abantu bano bagyibwaako omusaayi neguvaayo nga gulaga nti tebalina bulwadde buno
Otto agamba nti kati kyebagaala kwekwongera okubangula abantu u ngeri…
Ministry y’ebyobulamu egamba nti omuze gw’abakyala okujjamu embuto guvudde ku bantu okutaputa obubi obubaka ku nkola za kizaala ggumba.
Abakyala abatannaba kwetuuka abawerera ddala emitwaalo 30 beebajjamu embuto buli mwaka.
Minister omubeezi akola ku by’obujjanjabi ebisookerwaako, Sarah Opendi agamba nti abakyala bangi tebatamanyi bikwata ku nkola zino nga bazoogerera ebikyaamu ate gyebigweera nga bafunye embuto ezandibadde ziziyizibwa.
Ono…
Abalwadde mu ddwaliro e kkulu e Mulago bakaaba lwa kyuuma kya Scan ekyaafa
Ekyuuma kino okukikozesa e Mulago abantu basasula emitwalo 12 kyokka nga mu malwaliro amalala bawa emitwalo 25
Omu ku bakoseddwa ye Ronald Nsamba asangiddwa ku kitanda nga kuno nno amazeeko ennaku ttaano ng’alinda ekyuuma kitereere naye nga butereere