Bannasiyansi bazudde lwaki omuntu alwaawo okumanyiira ekifo ky’atabeeramu buli lunaku
Abanonyereza okuva mu university ya Oxford bagamba nti kino kiva ku mbeera omuntu gy’ayitamu ng’atambula naddala bw’aba atambulidde mu nyonyi.
Bano abagamba nti byebazudde byakubayamba ookukola eddagala omuntu ly’ayinza okumira ng’ali mu nyonyi oba ng’agivuddeko omubiri gwe neguba nga gutereera mangu
Mu ngeri yeemu era bano bagamba nti…
Okulya ebibala nga apple n’entuntunu enzungu ziyite grapes kiyamba okukendeeza emikisa gy’omuntu okufuna obulwadde bwa sukaali.
Ate bwo obubala obumanyiddwa nga blue berries bukendeeza obulabe okutuuka ku bitundu 26 ku kikumi okwawukanako n’ebibala ebirala.
Okunonyereza kuno kwakoleddwa ku bantu abasoba mu mitwalo 18 mu ggwanga lya America
Wabula nno abakugu abalala mu ndwadde ya sukaali bagaba nti ebibala…
Omuwendo gw’abaana abazaalwa nga balina akawuka ka mukenenya bakendedde
Ab’eddwaliro erijanjaba n’okubudabuuda abalina mukenenya ekya Mildmay bagamba nti buli mwezi abaana abazaalwa nga balina kawuka bali 14 bokka okwawukanako n’emabega bwebaali nga 40.
Akulira eddwaliro lino,Dr.Babara Mukasa kino akitadde ku nkola eziyiza ba maama okusiiga abaana baabwe obulwadde.
Ono agamba nti bafuba okukebera abakyala abali embuto nebatandikirawo okubawa…
Ekitongole ekikola ku kuwandiisa abantu abazaalibwa n’abafa kisabye gavumenti kuvaayo n’enkola enayamba okulaba nti abantu bonna bawandiisibwa
Ekitongole kino kigamba nti yadde tteeka nti abantu bonna abazaalibwa n’abafa bawandiisibwa, tekikoleddwa bulungi kubanga tewali nkola nnungamu ekirambika.
Okusinziira ku alipoota eyakolebwa mu mwak agwa 2011,ku baana abato abali wansi w’emyaka 5, ebitundu 30 ku buli kikumi bokka beebawandiise
Bino…
Gavumenti erangiridde enteekateeka z’okutuusa obujjanjabi eri abantu abalina obulwadde obutawona mu districts 112 ezikola Uganda
Ng’ayogerera mu lukiiko olukubaganya ebirowoozo ku nzijanjaba eno, minster Sarah Opendi agambye nti bagenda kutandika na kusomesa ba naasi abakola ku bantu bano nga tebannatuuka mu bitundu eby’enjaawulo.
Ku bantu 10 bannayuganda b’osanga, omu yetaaga obujjanjab buno kyokk anga bubadde bwa bbula…
Gavumenti ekubaganye empawa ku by’omusujja oguva ku nkwa ogumanyiddwa nga Congo Crimean fever.
Yadde nga waliwo abantu abalala bana abaakakasiddwa okufuna ekirwadde kino, ate minister akola ku byobujjanjabi ebisookerwaako, Sarah Opendi agamba nti tewali muntu mulala era nga bafunye okutaayiza obulwadde buno obutagenda mu bitundu birala.
Opendi agamba nti bukyanga bulwadde buno bubalukawo ssabiiti bbiri emabega Ministry…
Amalwaliro gonna mu ggwanga galina obuzibu bw’obutaba na bitanda
Ministry ekola ku byobulamu egamba nti yeetaga obuwumbi 22 nga zino zakugula bitanda na mifaliso
Minister omubeezi akola ku byobulamu, Dr Ellioda Tumwesigye agamba nga bafunye ensimbi zino omugotteko gujja kukendeerako mu malwaliro
Ensonga eno ereeteddwa ababaka Betty Amongi ne Kenneth Omona abalaze obwenyamivu olw’embeera y’amalwaliro embi ennyo naddala…
Abaana abawala abafuna embuto nga bato bali mu bulabe bw’okufuna ebizibu ate ebisingako
Abakugu mu nsonga z’abakyala bagamba nti buli muwala lw’afuna olubuto nga muto akosa obulamu bw enaddala nabaana kubanga aba tasobola kuwnairira lubuto
Omusawo mu ddwaliro e Mulago Dr Charles Kiggundu agamba nti omwana yenna bw'azaala nga muto amagumba ge gassibwaako amaanyi mangi olwo n'akosebwa…
Ekyuuma ekikola sikaani mu ddwaliro e kkulu ee Mulago kizzeemu okufa.
Guno gwakusatu ng’ekyuuma kino kifa mu mwezi etaano gyokka
Ekyewunyisa nti ekyuuma kino kyagulwa omwaka oguwedde ku buwumbi 2
Abalwadde 40 beebakolebwaako buli lunaku ku kyuuma ku shs emitwalo 12
Sikaani mu malwaliro amalala yamitwaalo 20 ne 25 era nmg’ekozesebwa ku balwadde abalina obuzibu ku bwongo, mu kifuba…
Okunywa enjaga y’obuwunga kikyuusa obwongo bw’omuntu mu ssaawa busaawo nga yakagirya
Enjaga eno esooka kuttattana bwongo olwo omunti n’ajja nga yeerabira by’abadde akola n’ekivaamu kwekukola obusolo.
Okunonyereza okwazudde bino kwakoleddwa ku mmese era ng’abasawo bagamba nti bigenda kubayamba okwongera okutegeera engeri enjaga gy’ekosaamu abaginywa