Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Ebyobulamu

Obujjanjabi eri abalina endwadde ezitawona

Ministry y’ebyobulamu ebaze kunkola analambika obujjanjabi eri abantua balina endwadde ezitawona Minister omubeezi akola by’obujjanjabi obusookerwaako Sarah Opendi agamba nti kino kijja kuyamba abantu bano okufuna obujjanjabi obuli ku mutindo. Akulira ekibiina ekigatta abantu abalabirira abalwadde ab’ekika kino,Fatia Kinyange mukakafu nti ng’enkola eno ezze, omuwendo gw’abafa nga tebannatuuka gwakukendeera

Read More

Mugabe omusaayi

Ekitongole ekikola ku by’omusaayi mu ggwanga kisabye gavumenti owkongera okubangula abanti ku kalungi akali mu kugaba omusaayi Eggwanga lyeetaga unit z’omusaati emitwaalo 24 buli omwana ktyokka nga ku zino ebitundu 70- byokka byebifunika Omukungu mu kitongole kino Richard Karugaba agamba nti abantu balina okwongera okumanta lwkai omuntu asaanye okugaba omusaayi Mu kadde kano ab’ekitongole kino kataddewo enkambi eri…

Read More

Tewali ssente

Gavumenti ekyakukuta n’ensimbi ez’okujjanjaba abantu abalina omusujja oguva ku nkwa nga guno gumanyiddwa nga Congo Crimean Fever. Minister omubeezi akola ku byobulamu, Ellioda Tumwesigye agamba nti bawaddeyo okusaba kwaabwe eri bekikwatako kyokka nga tebannafuna nsimbi zino. Tumwesigye agamba nti basuubira okufuna ensimbi nga bayita mu mbalirira ey’enjawulo kyokka ng’eno tennayisbwa Ono wabula agamba nti obulwadde buno basobodde okubwanganga…

Read More

Okunywa sooda kulalula abaana

Abazadde abawa abaana soda muwulire bino Ng’gyeeko eky’okulwaaza abaana bano, abasawo b’abaana bagamba nti abaana abanywa ennyo soda balwaana nnyo era nga kino bakitandika bakyaali ba myaka 5 Abaana n’abazadde mu ggwnaga lya America beebakoleddwako okunonyereza kuno.. Abaana bano yadde batandika okuagoberera nga bakazaalwa, eby’okunywa soda babitandika bawezezza emyaka 5 Kyazuuliddwa nti abaana abanywa soda emirundi ena olunaku babadde…

Read More

OKukogga kisoboka

Abantu bano baggwaamu amaanyi nga bagejjulukuse. Naye obadde okimanyi nti buli Muntu asobola okukogga okutuuka ku size gy’ayagala. Obujulizi buva eri omusajja amanyiddwa nga Tim Mc Carty eyali aweza kilo ezikukukkiriza mu 200. Omusajja ono yali afuukidde ab’omu maka ge ettalo era batandika okumwesamba omuli n’abaana be Kino kyamuyisa bubi kyokka kyamuwa amaanyi okutandika okusala amasavu Yasalawo okutandika okutambula nga…

Read More

Kokoolo w’emimiro alina akakwate ku kusenya

Wazze wabaawo okukubagana empawa ku ngeri kokoolo akwata kokoolo wa Nabaana ate gy’akwatamu abasajja Kino kyatandika oluvanyuma lw’omuzannyi wa filimu Michael Douglas okufuna kokoolo we mimiro  nga tamuggye mu kunywa sigala oba mwenge wabula ku mukyala we Omusajja ono yategeeza nga bweyali yenywegeera ne mukyala we nga kiteberezebwa nti gweyaggyako obulwadde buno. Bangi okuva olwo bakiwakanya ate abamu…

Read More

Endya y’abaana entuufu

Abakola ku by’endya mu ddwaliro e Mulago bagaala nsimbi ezinabayamba okusomesa abakyala ku ndya entuufu ey’abaana Omusawo omukugu mu byendiisa, Florence Nalubowa agamba nti balina bingi byebamanyi ku ndya entuufu nate nga tebalina busobozi butuuka mu bazadde abeetaaga amawulire gano Nalubowa agamba nti kino kikosezza nnyo abaana olw’endwadde ezitaggwa Abaana emitwaalo 36 n’ekitundu beebakonzibye olw’endya embi mu Uganda.

Read More

Abalala bafunye omusujja gw’enkwa- Kuliko owe Nansana

Omuntu omulala kikakasiddw anti alina omusujja oguva nkwa z’omu nsiko ogumanyiddwa nga Congo Crimean Hemorrhagic Fever. Ono ali mu ddwaliro e Mulago ng’agyiddwa Nansana Yasin Kalungi yeeyali bba w’omukyala eyafa obulwadde buno sabiiti ewedde Omwogezi w’eddwaliro lye mulago, Enock Kusaasira agambye nti omusajja ono mu kadde kano bamwawudde nga bw’ajjanjabibwa Bakuddamu okumwekebejja kyokka ng’ate ab’oluganda lw’omukyala eyafa abalala 3…

Read More

Embeera teyerarikiriza

Ministry y’ebyobulamu egamba nti yakulangirira ng’eggwnaga bweriweddemu ekirwadde ekyefananyirizaako ekya Ebola ekimanyiddwa Congo Crimean hemorrhagic fever. OMuwandiisi ow’enkalakkalira mu ministry y’ebyobulamu Dr Asuman Lukwago agamba nti kino bajja kukikola ssinga tewabaawo Muntu yenna addamu kufuna kirwadde kino. Omuntu omu yeeyakafa ekirwadde kino ate omulala akyajjanjabibwa mu ddwaliro lye Kalongo Ono wabula asabye abantu okwewala okukwata mulala mu ngalo…

Read More

Akawundo akatambuza obulwadde

Abasawo mu ggwanga lya Saudi Arabia bazudde ekirwadde kya senyigga w’ebinyonyi ekyomutawaana nga kino kiva ku kawundo. Abakugu bagamba nti akawundo kano kaava mu gwanga lya misiri ekirwadde kino gyekasooka okuzuulibwa. Wabula wadde nga abakugu basanze ekirwadde kino mu kawundo, tebakakasa oba obuwuundo bwebuviirako ekirwadde kino okusaasanira mu bantu. Bano bagamba nti ekirwadde kyandiba nga eno kisasanyizibwa ebisolo…

Read More