Abakugu mu byobulamu kyaddaaki bafunye esuubi ery’okuzuula eddagala eriwonya ekirwadde kya Mongoota.
Abakugu mu gwanga lya Belguim bazudde ekiriisa nga kino kizimba omubiri nekirwanyisa ekirwadde kya Mongoota mu mubiri.
Okusinzira ku kunonyereza okuva mu kibiina ky’ensi yonna ekikola ku byobulamu, ekirwadde kya Mongoota kisinga kwegirisiza mu bugwanjuba n’amasekati ga Africa.
Abantu abasoba mu 7000 beebakwatibwa ekirwadde kino mu…
Abaami b’emiruka basabiddwa okukolagana n’obukiiko obukola ku byobulamu ku byaalo okubangula abantu ku buyonjo obwetaagisa
Akulira edistrit ye Mbarara, Deus Tumusiime agamba nti obuyonjo buva ku mitendera gya wansi ng’obukiiko buno busobola okuyambako mu kusomesa abantu ku mbeera entuufu ey’okubeeramu
Ono okwogera bino abadde ayogerako eri abantu ne Bubaare ku ssaza lye Kashair ku ngeri y’okukuumamu obuyonjo
Kawefube…
Enteekateeka zikoleddwa okwongera ku basawo abazaalisa mu ggwanga.
Okunonyereza kulaga nti Uganda erina abazaalisa 44000 bokka.
Akulira okuwandiisa abasawo abazaalisa John Wakida, akkiriza nti ddala kituufu abazaalisa tebamala kale nga basaana okwongerwako.
Wabula ate ono ategeezeza nga gavumenti bw’etandise kawefube ow’okuwandiika abasawo abalala.
Waliwo okutya nti ekirwadde kya Cholera kyandilumba abomu district ye Amuru
Omubaka w’essaza lye Kilak, Gilbert Olanya asabye ministry y’ebyobulamu okwanguw aokuddukirira abantu ng’ekizimba tekinnasamba ddagala
Omubaka ono ategeezezza palamenti nti amataba agaava ku nkuba eyamaanyi mu kitundu kino naddala ku kyaalo Llego mu distrit ye Atyak yaleka abantu bali bubi
Amazzi galegama nenzizi nezikyafuwala kale nga waliwo…
Ebyenyanja bimanyikiddwa nnyo olw’ekiriisa ekibirimu
Naye obadde okimanyi ti olusu lwaabyo luyinza okuvaako abamu okuziyira
Kino kisinga kukosa bantua bakola ku makolero g’ebyenyanja nga bangi batuuka n’okufuna Asthma.
Abalala batuuka n’okufuna ebirogologo
Kino kiva ku byuuma ebissa ebyenyanja bino n’ebibitereka okufulumya olusu lwaabyo olungi olutali lulungi
Ate bbyo ebisse, omukka ogufulumizibwa gubaamu obuwulunguse obuyinza okuyingira omuntu olwo n’abeera nga tasobola…
Obadde okimanyi nti okufuluuta kusobola okukendeera ssinga omuntua beera ng’ayimba yimba
Abasawo bagamba nti okufuluuta kuva mu misuwa gy’emimiro okubeera emigumu nga buli Muntu lw’ayimba gigonda n’atafuna muzibu mu kufulumya mukka mu kussa
Bino byazuuliddwa oluvanyuma lw’abafuluusi okukunganyizibwa nebabakolako nga basiiba bayimba era bazze batereera mpola
Eyakulembeddemu okuyimbisa abantu bano agambye nti kyamusanyudde okulaba ng’abantu bano tebakyafuluuta ate…
Ab’ebibiina by’obwa nnakyeewa bibaze ku mulimu gw’okuwanika amaloboozi mu nsimbi ezissibwa mu by’obulamu bw’abakyala
Wansi w’omukago ogwa civil society organisations on maternal health and new borns, ebibiina bino bigenda kwogeraganyaamu n’abakulu okulaba engeri ensimbi gyezongerwa mu byobulamu.
Batunuulidde nnyo emisaala gy’abasawo abazaalisa ne ba naasi beebagamba nti embeera gyebalimu ebaviirako okukola kanagweeramu eyo gyebigweere ng’abakyala beebakoseddwa
Omukungu okuva…
Ministry y’ebyobulamu ekakasizza nga bwewatannabaawo Muntu yenna mupya akwatibwa ekirwadde ekyefananyirizaako Ebola ekyalumba ab’omu district ye Agago.
Ekiwandiiko ekivudde mu ministry eno kiraga nti omuntu alina obulwadde buno akyaali omu ng’ajjanjabibwa mu ddwaliro lye Kalongo
Abantu abalala omukaaga abaali baweebwa ebitanda nao basiibuddwa oluvanyuma lw’okubekebejja okumala ennaku mukaaga nga tebalina kirwadde kino
Katia ba ministry banoonyereza ku bantu…
Enkola anayamba abakyala abalina akawuka ka mukenenya okukasiiga abaana baabwe etongozeddwa mu buvanjuba bw’eggwanga
Mu enkola eno emanyiddwa nga Option B plus,abakyala bakussibwanga ku ddagala nga embuto za wiiki 14 okutuukira ddala nga bazadde
Ng’atongoza enkola eno, omukoomukulembeze w’eggwanga Janat Museveni asabye abantu okukoma okumala gakyakala nga tebeekuuma ekyongedde obulwadde bw amukenenya.
Ng’ali ku mukolo gwegumu, minister mubeezi…
Omuntu omu kikasiddwa nti afudde oluvanyuma lw'obulwadde bwa Ebola okubalukawo mu district ye Agago.
Omuntu omulala naye ali ku ndiri okuva mu maka gamu ng'ono ajjanjabibwa mu ddwaliro lye Kalongo.
Omubaka omukyala ow'ekitundu kino Franca Akello agamba nti ministry y'ebyobulamu emaze okuyimbula abakugu baayo owkongera okwkebejja abantu abasemberedde omufu n'omulwadde.
Wabula ono agamba nti minisitule yabakakasizza nti Ebola…