Ebyobulamu
Omusujja gw’ensiri gukyatta abantu
Omusujja gw’ensiri zeezimu ku ndwadde ezakasinga okutta bannayuganda Alipoota ekoleddwa minisitule y’ebyobulamu ey’omwaka eraga nti abantu abasoba mu 5000 beebafa omusujja gw’ensiri mu mwaka gumu ate nga kitundu ku bannayuganda baakwatibwa ko omusujja gw’ensiri mu bbanga lino. Omusujja guno guddirirwa obulwadde bwa Pneumonia, Anemia ,endwadde […]
Etteeka ku siriimu litankanibwa
Okukubaganya ebiroowozo ku bbago ly’etteeka erikwata ku mukenenya kuzzeemu. Kino kiddiridde alipoota okuva eri minisitule y’ebyobulamu okulaga ng’obulwadde bw amukenenya bwebweyongedde ate nga ku luno buli mu bayizi ba University abali mu bisulo. Minista akola ku mpisa n’obuntu bulamu, Simon Lokodo agamba nti eetteeka lino […]
Enkambi ziggaddwa
Ministry ekola ku byobulamu mu ggwanga eggaddewo ebifo byeyassaawo okujjanjaba abantui abalumbiddwa ekirwadde ekyefananyirizaako ekye Ebola ekya Congo Crimean fever Kino bakikoze oluvanyuma lw’obutafunayo bantu bapya balina kirwadde kino Obulwadde buno bwabalukawo mu district ye Agago nebutta abantu babiri Omukungu mu minisitule y’ebyobulamu Jane Aceng […]
Okugema abaana
Abaana abali mu bukadde 2 abali wansi w’emyaka etaano beebagenda okugemebwa obulwadde bw’okugongobala Enteekateeka eno egenda okumala ennaku ssatu yakubuna mu disitulikiti 37 Muno mwemuli Amudat, Buduuda,Bugiri, Buikwe, Mayuge, Kyenjojo n’endala nyingi Omukungu mu minisitule y’ebyobulamu, Jane Aceng agamba nti bagaala kukendeeza ku muwendo gw’abaana […]
Temumala galongoosa matu
Obadde okimanyi nti okulongoosa ematu go n’ojjamu omuzigo ogubamu kiyinza okuvirako okufuuka kiggala Abantu basabiddwa bulijjo okwanguwa okugenda okulaba abasawo nga tebannaba kulowooza ku byakugasokoola DR Phenekansi Bwambale okuva mu ddwaliro ekkulu e Mulago agamba nti okusokooza obuti mu matu kiyinza okusa amatu olwo […]
Obutimba bw’ensiri
Minisitule ekola ku by’obulamu olwaleero etandise okugaba obutimba bw’ensiri mu Buvanjuba bw’eggwanga. Ono yoomu ku kawefube wa ministry eno okulwanyisa omusujja gw’ensiri mu ggwanga. Omwogezi wa minisitule, Rukia Nakamatte agamba nti disitulikiti 16 zeezigenda okusooka okukolebwaako ng’abe Bukedea ne Bukwo beebagenda okusooka okubwebakamu. Nakamatte asabye […]
Kaawa mulungi ku bakyala
Abakyala basobola okukendeeza ku bulabe obw’okufuna kokoolo akwata olubuto ssinga banywa ku kakaawa n’okulya obulungi. Abakyala era basobola okukola dduyiro olwo emibiri gyaabwe negiba bulungi Okunonyereza okukoledwa mu Bungereza kwekulabye bino era ng’abakyala bawereddwa amagezi okukozesa wakiri eddakiika 30 okwekuuma nga balamu bulungi. Wabula ate […]
Okusomesa ku musujja gw’ensiri
Minisitule ekola ku by’ensimbi yakuvaayo n’enteekateeka namutaayiika ey’okulwanyisa omusujja gw’ensiri. Kino kizze nga Uganda ekyalwana okwejja mu kibinja ky’amawanga agakyatawanyizibwa obulwadde buno naddala bwegutuuka ku baana Ng’ayogerako eri bannamawulire, minister akola ku byensimbi, Maria Kiwanuka agambye nti omwaka guno ,bakukwatagana ne ministry y’ebyobulamu okutongoza enteekateeka […]
Okunyw amazzi kugogola omubiri
Amazzi ga mugaso nnyo eri obulamu kyokka nga bangi bagagayaalirira Obadde okimanyi nti amazzi gakuuma omubiri nga mulamu nga gakola ebitundu 60 ku buli kikumi ez’obuzito bw’omubiri gwonna Amazzi gano nno gayamba okugogola ebikyaamu ebibeera mu mubiri kko n’okukola ku Matu , enyindo n’emimiro. Omuntu […]
Abavubuka tebakyafaayo ku mukenenya
Minisitule ekola ku by’obulamu akakasizza nti abavubuka okumala geegadanga kyekivuddeko mukenenya okweyongera. Minisita akola ku by’obujjanjabi obusookerwaako, Sarah Opendi agamba nti abavubuka bangi balowooza nti waliwo eddagala eriweweza ku mukenenya olwo nebalowooza nti baba bawona. Opendi wabula agamba nti bakusigala nga bakola obubaka obugenda eri […]