Ebyobulamu
Obunene tebuliimu kalungi
Abantu bangi beewana okubeera abanene nga bagamba nti bali fiiti era nti tebasobola kulwalwa Abeewana basaanye okuwulira ku bino Kati nno abasawo bagamba nti teri bunene bulimu kalungi mu byobulamu Abasawo bano bagamba nti yadde omunti tabeera na sukaali, pressure kko n’amasavu amatono, era obulamu […]
Eddwaliro tekuli kasolya
Embuyaga ekedde okukunta etikudde akasolya k’eddwaliro lya lya Health Centre iv nereka akasenge omuli abakyala b’embuto abasoba mu 40 nga bali mu kyangaala. Eddwaliro erikoseddwa lisangibwa Ntoroko mu bugwanjuba bw’eggwanga. Abakyala bano beegamye ku mbalaza nga ab’ekitongole ky’omusalaba omumyuufu okuva e Bundibugyo bayitiddwa dda okutaasa […]
Tutundire eddagala mu mikebe
Kkampuni ezitunda eddagala zigamba nti zifiiriddwa ensimbi mpitirivu oluvanyuma lwa gavumenti okuyimiriza okutunda eddagala mu bikebe. Akulira abatunzi b’eddagala mu kkampuni ya Kampala pharmaceuticals Uganda Limited Nazeem Mohamad agamba nti okussa eddagala mu buveera kwebakubisanya amanya g’eddagala lino kwa buseere nnyo. Mohammed agamba nti n’amawanga […]
China esobola okuyamba mu by’obulamu
Ebibiina by’obwannakyeewa ng’amakanda gabissa mu by’obulamu biwanjagidde eggwanga lya China okwongera ensimbi mu lutalo ku bulwadde bwa mukenenya. Bano bagamba nti China essizza ensimbi nyingi nnyo mu nguudo nga kati bagala ate etunuulire ebyobulamu. Omukungu mu kibiina kya AIDS Healthcare foundation Alice Kayongo agamba nti […]
Okunywa sigala butwa eri abalina mukenenya
Abantu abalina obulwadde bwa mukenenya ate nga banywa sigala bakendeeza obulamu bwaabwe era nga tebasobola kuwangaala nga banaabwe abatamunywa. Akulira ekibiina ekirwanyisa omuze gw’okunywa sigala, Gilbert Muyimbi agamba nti sigala ono anyway omuntu n’abeera ng’awewuka ekinafuya omubiri gwe olwo n’endwadde endala nezimulumba. Ono era asabye […]
Abantu bajja bakendeeza ku mirundi gyebegatta
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti ebirowoozo bya ssente bivuddeko abantu bangi obutayoya kwegatta na baganzi baabwe Kigambibwa okuba ng’abantu bangi abali wakati w’emyaka 16 ne 44 tebegatta na kuweza mirundi 5 mu mwezi. Bangi ku bano olw’okubeera n’ebirowoozo bya ssente emitima gifiira ddala neberabira baganzi baabwe […]
Omwana aliira mu kapiira
Endwadde teziggwa mu nsi era nga lwakukutte emirembe gikuggwaako Kati ono mwana wa myaka 5 naye bukyanga azaalwa aliira mu kapiira Omwana ono yalina ebizibu ebiwerako ku bitundu bye eby’ekyama Maama w’akaana kano, agamba nti embeera ya muwala we yeeyongedde okutabuka ate nga ne ssente […]
Obulwadde bwa Hepatitis B
Palamenti eyisizza ekiteeso ekisaba nti gavumenti ebeeko ky’ekolera omuwendo gw’abantu abalina obulwadde bwa Hepatitis B mu ggwanga ogweyongedde. Obulwadde buno bukwata kibumba era nga busenkenya mpola omuntu okutuusa lw’afa. Ekiteeso ekikola okusaba kuno kireeteddwa omubaka omukyala owe Kyenjojo, Linda Timbigamba agambye nti obulwadde buno businga […]
Obubenje bwa piki
Abasawo abalongoosa abantu mu ddwaliro ekkulu e Mulago balaze okutya olw’abantu abakubwa obutayimbwa buli lukya okweyongera Akulira abasawo bano, Dr. Michael Muhumuza agamba nti bafuna abantu abali wakati w’abataano n’ekkumi buli lunaku nga bakubiddwa obutayimbwa Dr.Muhumuza agamba nti abasinga baba bakoseddwa nnyo ku mitwe ekikosa […]
Akafuba kangi mu balina mukenenya
Omuwendo gw’abantu abalina mukenenya naye nga balina n’akafuba gulese abakulembeze nga banyeenya mitwe Kigambibwa okuba nti ebitundu 50 ku kikumi ku bantu bano balina akafuba Ab’ekibiina ekigatta abakyala abalina obulwadde bwa mukenenya bagamba nti ku bano ebitundu 45 ku kikumi bokka beebafuna obujjanjabi nga guno […]