Abaana abato okugugumuka nga beebase bayinza okuba akabonero akalaga nri banditawanyizibwa ku bwongo mu biseera byaabwe eby’omu maaso
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti yadde abaana abangi bagugumuka, bwekiremera ku mwana kayinza okuba akabonero akalaga obuzibu obusingako
Okuwoggganira mu tulo, n’okwogerera mu tulo bwebumu ku bubonero.
Abanonyereza bano bagamba nti kino kyakubayamba okumanya abo abayinza okugwa eddalu mu bukulu.
Abantu abasoba…
Abasawo mu ddwaliro erimanyiddwa nga Great Ormond Street Hospital mu kibuga London batandise omulimu gw’okukola okutu okukolerere.
Okusinziira ku nteekateeka zaabwe, bano bakusalanga ku Muntu obuyama ku bigere baguttegatte obunyama buno babukubemu eddagala, bumeremu okutu.
Bano bagamba nti kijja kuyamba abantu abatali bamu abafuna ebizibu gaabwe okusobola okufuna amalala.
Abantu bangi bagaala okunywa ku ka wayini mu biseera byaabwe eby’eddembe.
Naye okimanyi nti yadde wayini ono mulungi naye bw’omuyitiriza kiba kibi.
Abasawo bagamba nti omuntu yenna talina kusukka giraasi za wayini bbiri lunaku.
Omusawo mu ddwaliro e Mulago, Dr Charles Kasozi agamba nti omwenge gwonna bweguyitirira guttattana ebitundu by’omubiri ebitali bimu.
Dr Kasozi agamba nti wayini naddala omumyuufu…
Abalwadde abasoba mu 100 beebatubiridde ku ddwaliro ekkulu e Masaka oluvanyuma lw’abakulira eddwaliro okuggala ekifo awatuukira abali obubi
Ekifo kino kyaggalwa olw’ebigambibwa nti tekyalina basawo balina bukugu bumala.
Obwedda abalwadde abatwalibwaayo nga basindikibwa mu malwaliro amalala kyokka ng’abamu bekandazze nebagaana okuvaayo nga bagaala kukolwaako.
Omu ku bano ye Ruth Kobusingye abadde atutteyo omulwadde we nebabagoba naye kwekuva mu…
Obadde okimanyi nti embeera y’omwana erina akakwate ku myaka kitaawe kw’amuzaalira.
Kati nno bannasayansi bakizudde nti abaana abasinga okwewunika baba bazaalwa ba taata abakuliridde
Mu ngeri yeemu era abaana abazaalibwa abavubuka babeera bajagujagu era nga tebekubagiza
Bannasayansi tebattottodde lwaki kino kiri kiti kyokka nga bagamba nti kyandiba nga kiva ku bavubuka okusiiga abaana baabwe obukujjukujju .
Abaana abazaalibwa abasajja…
Kizuuliddwa nti abaana abazaalibwa ku kiso emikisa gyaabwe egy’okugejja nga bakuze mingi ddala.
Okuzuula bino, abasawo batunuulidde abaana emitwalo esatu mu kanaana
Abanonyereza okuva mu ggwanga lya Bungereza agamba nti kiba kirungi abakyala nebalabulwa ku bulabe obuli mu kuzaalira ku kiso kubanga obulabe butuuka ne ku baana baabwe
Okunonyereza kuno kwalaze nti ku buli baana 100 abazaalibwa obulungi…
Wakyaliwo obwetwaavu bw’eddagala eriweweeza ku bulwadde bw amueknenya
Abakyala abali mu lutalo ku mukenenya bagamba nti teri kibalemesezza mirimu nga bbula lya ddagala lino nga gyeriri lyabuseere.
Omu ku bakyala mu kibiina ekirwanyisa mukenenya mu bakyala mu mawanga ga East Africa, Margret Happy agamba nti kiba kirungi omuntu yenna w’azuuliddwa nti alina mukenenya okutandikirawo ku ddagala kyokka…
Ssabaduumizi wa poliisi y'eggwanga Gen Kale Kaihura atongozezza omulimo ow'okuzimba ekifo kya poliisi gagadde omunajjanjabirwa abalian ekirwadde kya kokoolo.
Ekifo kino kyakuzimbibwa ekitongole kya poliisi era nga lijja kuggwa mu myezi mukaaga.
Kaihura agambye nti eddwaliro lino lijja kuba n'obusobozi obujjanjaba abantu kikumi omulundi gumu era ng'abasirikale n'abantu ba bulijjo bakukolebwaako.
Omusawo wa poliisi Dr Moses Byaruhanga agamba…
Abakyala abali embuto ebaweza ebitundu nsavu ku buli kikumi mu bitundu bye Sese tebagenda mu malwaliro nga bali mbuto.
Kino kizuuliddwa bannalotale mu kawefube waabwe ow’okutaasa obulamu bw’abaana n’abakyala.
Dr Jacinto Amandua agamba nti abakyala bangi bazaalira waka ate abalala bagenda mu ba mulerwa oluusi ekivaako abaana okufa
Dr Amandua kino akitadde ku by’entambula ebizibu ng’abakyala bangi banafuwa…
Enteekateeka z’okuddabiriza amalwaliro agatali gamu agali wansi wa minisitule y’ebyobulamu zitandise.
Omwogezi wa minisitule eno, Rukia Nakamatte agamba nti bamaze okukwasa ba kontulakita amalwaliro kano era ng’omulimu gutandise
Nakamatte agamba nti batandise nga kutereeza bifo awagenda kuzimbibwa amalwaliro gano n’oluvanyuma era boogereko n’abantu abayinza okukosebwa
Amalwaliro gano gagenda kusakirirwa ebbanja eryava mu banka y’ensi yonna
Malwairo agagenda okuganyulwaamu kuliko…