Abasawo babiri bawumuziddwa oluvanyuma lwokukikakasa nti ddala bano bezibika eddagala .
Dr Joseph Isanga omusawo mu ddwaliro ly’e Kabonga awumuziddwa oluvanyuma lw’okukikakasa nti yezibika eddagala eribalirirwamu obukadde bw’ensimbi 30.
Akulira akakiiko k’abasawo akakwasisa empisa , Dr Okello Ogwang agamba Dr Isanga nga ono yasingisibwako n’omusango mu kooti ewozesa abakenuzi agobeddwa mbagirawo.
Alagiddwa okuzaayo layisinyi y’obusawo mu nnaku 7…
Abanywa juyisi omupakire mu bipappula n'obucupa bassa obulamu bwaabwe mu matigga.
Abakugu mu byobulamu bagamba nti yadde juyisi wa mugaso eri obulamu, juyisi owa bulijjo yasinga buli kimu.
Dr. William Lumu nga ye ssentebe w’ekibiina ekirwanyisa sukaali agamba nti juyisi omupakire abaamu sukaali mungi era ng'abantu tebasaanye kumwesembereza.
Awadde abantu amagezi kunywa juyisi omukamule okuva mu bibala era…
Minisitule ekola ku by’obulamu yakutandika okukola okunonyereza ku muwendo gw’abantu abalina endwadde ku ndwadde ezitasiigibwa ate nga zino ziruma omuntu okumala ebbanga
Ekigendererwa kya kumanya bameka ababulina n’engeri gyebayinza okuyambibwaamu.
Endwadde ezoogerwaako kuliko ezemitima, kokoolo, sukaali nendala nga zitta abantu obukadde 35 buli mwaka
Akulira ekiwayi ekirwanyisa endwadde zino,Dr Gerald Mutungi agamba nti
Ng’enkuba egenda mu maaso n’okutonnya, abe Kamwokya bakaaba kabuyonjo
Wetwogerera nga bano bakyaama mu buveera bwebanyugunya mu myaala ngenkuba etonnye
Buno gyebigweera nga buzibikidde emyaala ate amataba negabaddira
Abatuuze aboogerwaako beebabeera mu Zooni ya Kamwokya B ng’akulira ekitundu kino Ali Mutyaba agamba nti kabuyonjo eziriwo zakusasula ate nga bangi tebalina nsimbi
Abasawo mu ggwanga lya America bafulumizza ebikwata ku bakyala abagalana kyokka ng’omu ku bbo alina akawuka ka mukenenya
Omu ku bakyala bano wa myaka 46 ng’obulwadde kigambibwa okuba nga yabufuna mu myezi omukaaga gyeyamala ne mukyala munne nga bali mu mukwano
Omukyala ono ekika ky’akawuka ka siriimu ky’alina kiraga nti yakajja ku mukyala munne gwebabadde berigomba.
Akawuka kano…
Okukola dduyiro okumala essaawa bbiri n’ekitundu buli wiiki kikendeeza emikisa gy’omuntu okufuna senyiga
Okunonyereza kuno kukoleddwa ku bantu enkumu nnya mu lunaana mu ggwanga lya Bungereza
Okukola dduyiro okumala akaseera akatono tekirina kyekigasa
Wabula ate era senyiga ono agyira nnyo u biseera by’omusana
Okunonyereza okuzudde bino kukyagenda mu maaso nga kati kwakamala emyaka etaano.
Obulwadde bwa sukaali bwebwakasinga okuvaako abantu okufa ekikutuko mu bantu abakulu.
Obulwadde buno nno era bwebwakasinga okutta abantu mu nsi yonna era nga mu ugnada ababulina bali obukadde 4.
Kino kiva ku nsonga nti sukaali ayongera obulabe bw’omuntu okufuna obulwadde bw’omutima.
Naye nga obadde okimanyi nti ku bantu ekkumi abafa sukaali, mwenda basobola okutaasibwa
Omukungu mu minisitule y’ebyobulamu, Gerald…
Abanoonyereza bazudde nti ebizigo ebisiigibwa mu mbugo z’abakyala bisobola okuyamba okuziyiza ekirwadde kya Mukenenya.
Ekizigo kino ssinga omukyala ekyesiiga mu ssaawa ssatu nga yakegatta n’omusajja bannasayansi bakakasizza nti tafuna bulwadde.
Okunonyereza kuno kukoleddwa ku nkima.
Wabula bbo abasawo abakugu bagamba nti bakugenda mu maaso nga beetegereza ebyazuuliddwa naye nga mu kadde kano befunyiriridde kutumbula nkozesa ya kapiira
Minisitule ekola ku byobulamu ekkiriza nti abasawo abakyala bangi batuntunzibwa abasajja lwakugaana kubaganza.
Abakyala bano batuuka n’okubajja ku nkalala z’abalina okusasulwa.
Ku ntandika ya ssabbiiti eno, minista omubeezi akola ku nsonga z’abakozi ba gavumenti Ssezi Mbaguta yakkiriza nti waliwo abakyala abajjibwa ku nkalala lwakugaana bakama baabwe.
Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Asuman Lukwago agamba nti wabula ssi…
Gavumenti erangiridde enteekateeka z’okuzimbira abasawo amayumba.
Minista akola ku nsonga z’ettaka, Daudi Migereko agamba nti amayumba gano gagenda kubeera ku buli ddwaliro ekkulu okwanguyiza abasawo emirimu.
Migereko agamba nti abakozi abasinga badduka emirimu gyaabwe olw’ensasula embi n’embeera mwebakolera kale nga y’ensonga lwaki bagaala okutereeza