Amawulire
Ono abadde ku ddagala naye nga talina siriimu
Omusajja amaze emyaka 15 ng’amira eddagala eriweweeza ku mukenenya addukidde mu kkooti oluvanyuma lw’okukizuula nti talina bulwadde buno Zabron Hategeka yekebeza obulwadde bwa siriimu mu mwaka gwa 1999 era ab’akalwaaliro ka Adventist medical Centre nebamutegeeza nti yalina siriimu Bamusindika mu ddwaliro e Rubaga nayo abamukebera […]
Abawala bangi bakankana lwebasooka okuzza omukono emabega
Kizuuliddwa nti abawala bangi naddala mu byaalo bafuna obuzibu olunaku lwebazza omukono emabega nga baba tebamanyi kyakukola Kino kiva ku nsonga nti ku masomero gyebamala obudde obusinga obungi tebafuna kufiibwaako kumala Eno y’ensonga lwaki ekibiina kya AMREF kitandise okussaawa ebifo ebyenjawulo abaana abawala mwebanatendekebwa ku […]
Mulago teri basawo
Eddwaliro ekkulu e Mulago lyetaaga abakozi abalala bweriba nga lyakulongoosa mu mpereeza y’emirimu Akulira eddwaliro lino Dr. Byarugaba Baterana agamba nti tebalina basawo bakugu bamala ng’abaliwo kati bakola nnyo era emirundi egisinga baba bakoowu Byarugaba agamba nti eno y’ensonga lwaki n’abalwadde tebabawa budde bumala naye […]
Olutalo ku ndwadde ezitasiigibwa
Olutalo ku ndwadde ezitasiigibwa mu bitundu by’ebyaalo lwongeddwamau amaanyi. Ab’ekibiina kya AMREF health Africa beeyamye okwongera amaanyi mu kulaba nti bakuba enkambi mu byaalo okwongera okutuusa obujjanjabi ku bantu n’okubasomesa Akulira ekibiina kino Benet Leykun agamba nti ekigendererwa kyaabwe kutuuka ku bantu abatalina busobozi kujjanjaba […]
Eddagala ffu
Ebikumi by’enkumi z’obukadde bw’ensimbi zeezononeddwa ku ddagala eritayalina njawulo na panadaol Eggwanga lya Bungereza lyokka lyakonoona obukadde bwa pawunda 473 ku ddagala erimanyiddwa nga Tamifulu nga lino lyakolebwa kuyamba ku senyiga. Eddagala lino nga ligulwa gavumenti ezitali zimu okutegekera abantu Ababadde banonyereza ku ddagala lino […]
Engatto empanvu mbi ku b’olubuto
Abakyala abambala engatto empanvu nga bali lubuto bassa obulamu bwaabwe mu matigga Abasawo bagamba nti omuntu omuzito okwambala engatto empanvu kyangu okuyiguka ebinywa n’okulemesa omwana okutambula n’atuula wamu. Omusawo mu leeba e Mulago, Sarufiina Tunomuhangi agamba nti kino kikosa n’entambula y’omusaayi mu magulu Tunomuhangi agamba […]
Ebola ayongedde okutabuka
Omuwendo gw’abantu abafa obulwadde bwa Ebola mu ggwanga lya Guinea guyise mu 100. Ab’ekibiina ky’ebyobulamu eky’ensi yonna bagamba nti obulwadde buno bwebumu ku buzibu bwebakasinga okukolako bukyanga babaawo. Ab’ekibiina kino bagamba nti kyakubatwaalira emyezi emirala ena okutangira obulwadde buno okwongera okubuna Obulwadde buno bwakatta abantu […]
Abasoma obusawo bazze ku mirimu
Abayizi abasoma obusawo e Mulago bazzemu okukola oluvanyuma lw’ennaku ssatu nga beediimye lwa butasasulwa Gibadde giweze emyezi ebiri nga tebasasulw aoluvanyuma lw’emisaala gyaabwe okusindikibwa mu akawunta enfu Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago Enock Kusaasira agamba nti basobodde ensimbi zino okuzisindika ku akawunta entuufu era ng’abayizi bano […]
Twetaaga kulondoola ddagala- minisitule
Minisitule ekola ku byobulamu ayagala nsimbi za kutondawo ekiwayi ekyetongodde okulondoola eddagala erisindikibwa mu malwaliro. Omuwandiisi mu minisitule eno, Dr Samuel Kyambadde agamba nti eky’okubeera n’ekiwayi ky’eddagala naye nga tekiriiko alondoola kuba kwoza n’oyanika mu ttaka Kyambadde abadde mu kakiiko ka palamenti akakola ku byamateea […]
Minista alambudde eddwaliro- by’asanze bimukubye wala
Minista omubeezi akola ku byobulamu Ellioda Tumwesigye akyaddeko ku ddwaliro e Mulago mu ngeri buli omu gy’abadde tasuubira Tumwesigye abadde ava e Kyankwanzi agambye nti abadde ayagala kulaba mirimu bwegitambula n’okulaba oba eddwaliro liri mu mbeera nnungi Ono nno eno gy’agwiridde ku mukyala abadde yakazaala […]