Ebyobulamu

Abakyala 33 beebafa buli ssaawa nga bazaala

Ali Mivule

May 6th, 2014

No comments

Abakyala 33 okwetoloola ensi yonna beebafa nga bazaala. Ab’ekibiina ky’ensi ekikola ku byobulamu bagamba nti yadde wabaddewo okukendeera mu muwendo , tekyeyagaza kubanga 33 bakyala bangi nnyo okufa mu ssaawa emu. Emiwendo gino egifulumiziddwa ekibiina kino era gireese obujulizi obuggya ku biki ebivaako abakyaala okufiira […]

Abasawo e Lyantonde beedimye

Ali Mivule

May 2nd, 2014

No comments

Abasawo ku ddwaliro e Lyantonde bassizza wansi ebikola. Bano bawakanya okukwatibwa kwa musawo munaabwe Gorreti Nansubuga eyagaanye okukola ku mulwadde eyasindikiddwa RDC Sulaiman Matojo wabula n’amulagira okusimba ku lukalala. Abasawo bano bagamba nti musawo munaabwe talina musango kubanga buli muntu alina okusimba mu layini . […]

Aba Kkolera 53 basiibuddwa

Ali Mivule

May 1st, 2014

No comments

  Abantu abalina obulwadde bwa cholera abawerea ddala 49 beebakyaali mu ddwaliro nga bajjanjabibwa Kino kikakasiddwa kamisona akola ku byobulamu mu bitundu ebitali bimu Dr Anthony Mbonye Dr Mbonye agamba nti minisitule y’ebyobulamu efubye okulaba nti obulwadde buno tebwongera kubuna era nga tewanabaawo muntu mulala […]

Mgeme abaana

Ali Mivule

May 1st, 2014

No comments

Abazadde bawereddwa amagezi okutwala abaana baabwe bagemebwe ekirwadde kya pneumonia  kubanga kati amalwaliro gonna mu kampala kati eddagala erigema obulwadde buno galirina. Akulira eby’obujanjabi obwabulijjo  Doctor Ruth Aceng agamba nti abaana 14 kubuli kikumi wano mu kampala balwala pneumonia buli mwaka. Wabula agamba nti kino […]

Tewali ddagala lya balwadde ba mitwe

Ali Mivule

April 30th, 2014

No comments

  Wabaluseewo ebbula ly’eddagala mu ddwaliro elijjanjana ab’emitwe ku ddwaliro ekkulu eggulu Eddwaliro lino likola ku batabuse emitw en’abalina ensimbi naye nga ati babagoba kubanga tebalina kyakubakolera Akulira eddwaliro lino, Canaana Kateregegga agamba nti obuzibu buno bukulunguludde emyezi 2.

Abasajja babba eddagala lya bakyala baabwe

Ali Mivule

April 30th, 2014

No comments

Omuze gw’abasajja abalina obulwadde bwa mukenenya okubab eddagala lya bakyala baabwe gutandise okweralikiriza ab’ebyobulamu Abasaow ku ddwaliro kya Bardege health center three bagamba nti abasajja bangi bakoma kwekebeza olwo nebatandika kugabana eddagala ne bakyaala baabwe ate ng’abamu babba ekitereke kyokka Omu ku babangula abantu ku […]

Abalina kkolera kati basoba mu 80.

Ali Mivule

April 29th, 2014

No comments

Omuwendo gw’abantu abafunye obulwadde bwa Cholera mu disitulikiti ye Moyo gulinnye Abantu abalina obulwadde buno baweredde ddala 81 okuva ku 64 ababadde mu malwaliro olunaku lwajjo. Minista w’ebyobulamu Dr Ruhakana Rugunda ategeezezza palamenti olw’eggulo lwaleero nti bakyagenda mu maaso n’okukebera abantu abalala okukakasa oba balina […]

Omusujja gw’ensiri kikyaali kizibu mu bukiikakkono

Ali Mivule

April 29th, 2014

No comments

Obulwadde bw’omusujja gw’ensiri bwebwakasinga okutta abantu mu bukiikakkono bw’eggwanga Kino kiva ku nsonga nti abantu bangi omusujja guno tebagutwaala ng’ekikulu era nga bakola kitono okuguziyiza. Omuwi w’amagezi ku nsonga z’omusajja gw’ensiri Enisa Mulwana agamba nti ku bantu ekikumi beebajjanjaba okuva ebweru ne munda, ebitundu nkaaga […]

Obutimba buwewa mmere ya nkoko

Ali Mivule

April 28th, 2014

No comments

  Mu disitulikiti ye Lwengo ku kyaao kya Lwengo Rural, abaayo obutimba bw’ensiri babusiba ku biyumba bya nkoko SSentebe w’ekitundu kino Joseph Lubega bazonoona agamba nti ate abalala obutimba buno babukozesa kusengejja mmere ya nkoko Bazoonona agamba nti ekikwekweto ekigenda okuyoola abantu bonna abagwa mu […]

Cholera e Moyo- 4 beebakafa

Ali Mivule

April 28th, 2014

No comments

Minisitule ekola ku byobulamu ekakasizza nti obulwadde obutta abantu e Moyo cholera Mu ngeri yeemu era n’omuwendo gw’abafudde obulwadde buno gulinnye okuva ku basatu okudda ku bana . Abalala 64 baweereddwa ebitanda mu ddwaliro lya Obongi health center four Omwogezi wa minisitule y’ebyobulamu, Rukia Nakamatte […]