Obulwaaliro obutunda eddagala obutatukagana namutindo obusukka mu 3000 bwebwakaggalwa mu bitundu ebyesudde ekibuga Kampala.
Kati buli ddwaliro erikeberebwa nga lituukagana na mutindo liteekebwaako akabonero akalaga nti lisaanidde olwo obutalina bisanyizo buggalwa.
Akulira ekitongole ekikola ku by’eddagala Gordon Ssematiko agamba nti obulwaliro bungi bwakereberwa nga tebulina bisanyizo nga n’abasawo benyini ababukolamu tebalina bukugu
Ssematiko agamba nti ekikwekweto kyakugenda mu…
Kkampuni enkozi y’eddagala eya Glaxo-Smith kline eriko amakerenda g’ebiwuka g’etonedde abaana mu mawanga agakyakula mu Africa
Eddagala lino libalirirwaamu obuwumbi 4.
Akulira kkampuni eno mu Uganda, Nathan Wasolo agamba nti amawanga agawera agali wansi w’eddungu Sahara gagenda kufunamu nga muno mw’otwalidde ne Uganda.
Agamba nti kino abaana bangi balina ebiwuka kyokka nga tebalina ddagala era ng’eddagala lino lyelijjja …
Ekibiina ekigatta abasawo abasirisa abagenda okulongoosebwa kisabye gavumenti okutereeza embeera mwebakolera.
Amyuka akulira ekibiina ekigatta abantu bano Paul Masereka agamba nti emirimu gyaabwe mikulu nnyo eri eggwanga kyokka nga tebafiibwaako.
Bagala era gavumenti eyongere n’okutendeka abasirisa abalala okulaba nti omuwendo gwaabwe gweyongera kubanga batono mu ggwanga.
Minisitule y’ebyobulamu asabye abakulembeze b’ama disitulikiti okuwaayo amannya g’abasawo abatannaba kusasulwa misaala gyaabwe
Kiddiridde abasawo mu disitulikiti ye Bushenyi ne Ishaka okwekalakaasa olw’emisaala egitannasasulwa ate ng’abalala babasalako ensimbi zebatategeera.
Omwogezi wa minisitule, Rukia Nakamatte agamba nti ekiyinza okukolebwa kwekukolagana okulaba nti abatannaba kusasulwa bategerekeka.
Mu ngeri yeemu era Nakamatte asabye abasawo bano okubeera abakkakkamu ng’ensonga yaabwe bw’ekolebwaako.
Ab’ekitongole ekitereka eddagala basabye minisitule ekola ku gavumenti ez’ebitundu okuyisa amateeka aganayamba okukendeeza ku mbwa ezitayaaya
Kiddiridde abantua bawerako okulumwa embwa nga n’eddagala mu malwaliro awamu ttono okukola ku muwendo ogulinnye
Owmogezi w’ekitongole kino Daniel Kimosho agamba nti yadde bakyalina eddagala erigema abantu abalumiddwa embwa, okukendeeza ku balumwa kyakuyamba nnyo.
Asabye n’abantu okugema embwa zaabwe okwewala okulwaaza abantu
Abantu bana okuli n’omusawo kikakasiddwa nti balina obulwadde bwa Ebola mu ggwanga lya Sierraleone
Obulwadde buno kigambibwa okuba nti bwavudde ku nsalo ye Guinea ng’eno abantu 145 beebakalusuulamu akaba.
Tewanabbaawo ddagala lya Ebola era ng’abakugu balwana kulaba nti tebwongera kusasaana
Akakiiko akakola ku kulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya kakusisinkanamu sipiika wa palamenti ku tteeka eryakayisibwa ku mukenenya.
Akulira akakiiko kano Prof Vinand Natulya agamba nti etteeka lino teryetaagisa kubanga lyakukonya olutalo ku mukenenya.
Natulya agamba nti bagenda kukolagana n’ebibiina by’obwa nekyeewa ebirala okwongera okuwayaamu ne sipiika kko ne pulezidenti Museveni ku butassa mukono ku tteeka lino.
Yye akulira ekibiina…
Mu ggwanga lya Tanzania, abaana abatalwala musujja gwa nsiri bafuuse ekyerolerwa
Bannasayansi bbo batandise okubanonyerezaako okuzuula eddagala eriyinza okugema omusjja gw’ensiri
Abanonyereza bano bazudde nti abaana bano balina abasirikale abalwanyisa omusujja gwonna oguyinza okubakwata.
Kati babakubye empiso okubajjamu abasirikale bano bebakubye mu mmese zebakozesa okunonyereza ku ddagala eliziyiza siriimu.
Abantu bangi tebasobola kwebaka nga tebalidde era nga beekyuusiza mu buliri okutuuka lwebafuna kyebalya.
Abamu bakiyita kya lusaago naye nga buno bulwadde bwenyini.
Abasawo bagamba nti kino kiva ku Muntu obutaba na butoffaali obuyamba okutebenkeza omubiri nga teguliimu mmere.
Okunonyereza okukakasizza bino kukoleddwa ku mmese.
Obutoffaali buno abantu abatabulina era balya nnyo ekibaviirako okugejja ekiyitiridde
Obuzibu bw’emmotoka ezitambuza abalwadde e Pallisa butandise okweralikiriza abakulembeze mu kitundu kino.
Abalwadde bangi naddala abakyala b’embuto batindigga engendo okutuuka mu malwaliro nga n’oluusi bafuna ebizibu.
Omubaka akiikirira abantu be Pallisa, Jacob opolot agamba nti abantu bangi y’ensonga lwaki beepena amalwaliro nebadukira mu basawo b’ekinnansi.
Omubaka ono wetwogerera ng’awaddeyo emmotoka okuyambako mu kutambuza abalwadde kyokka ng’agamba nti wakyaliwo…