Abasawo bawereddwa amagezi okukozesa eddagala eppya ku bantu b’emitima mu kifo ky’okugaba Aspirin.
Bino biri mu mateeka amappya agafulumiziddwa ettendekero ly’ebyobulamu mu ggwanga lya Bungereza.
Bano bagamba Aspirin ono avaako abantu okusanyalala eky’obulabe eri obulamu.
Ababadde bakozesa Aspirin bawereddwa amagezi okukozesa eddwagala eddala nga Warfarin kubanga teririna bulabe
Ebivudde mu bakugu bano bisuubirwa okukosa abalwadde bangi ab’omutima ababadde bakozesa…
Tekyali kweralikirira kirwadde kya kkolera mu disitulikiti ye Namayingo.
Ennaku 2 eziyise, teri Muntu yazzemu kukwatibwa kirwadde kino.
Akulira eby’obulamu bwabantu babulijjo mu ddwaliro ekkulu e Jinja Dr. Attai Emorot agamba nti enkambi zebatekawo okukumiramu abalwadde b’ekirwadde kino kiyambye nyo okutangira ekirwadde kino okusasanira mu bitundu ebirala.
Agamba minisitule y’ebyobulamu yasindise dda abantu baayo era singa wabawo omutawaana…
Obadde okimanyi nti amannyo g’omwana okufa oba okuba amalamu kiviira ddala ng’oli lubuto
Kino kiva ku nsonga nti abaana batandika okumera amannyo nga bakyaali mu lubuto.
Abakugu mu ndwadde z’amannyo okuva mu ddwaliro ekkulu e Mulago bagamba nti omukyala ng’ali lubuto, yandifubye nnyo okulaba nti erya ebintu ebitakosa mannyo g’abaana
Dr Annet Kuteesa okuva ku ddwaliroluno agamba nti…
Ekitongole ekikola ku byomusaayi mu ggwanga kisabye abantu beebaguza omusaayi mu malwaliro okuloopa abakikola.
Kiddiridde abantu okwemulugunya nti babaguza omusaayi nga bagenze mu malwaliro.
Akulira etterekero ly’omusaayi ekkulu Jude Sande agamba nti omusaayi guno gwa bwereere kuabnga bano bagufuna ku bwereere
Olunaku lw’enkya mu nsi yonna lwakugaba musaayi era ng’abantu bakubiriziddwa okujjumbira.
Kkooti ey’okuntikko mu bulaaya etandise okutunuulira eky’okufuula obugejjo endwadde era nga kitwalibwa ng’omuntu alina obulemu ku mubiri gwe.
Eggwanga lya Denmark lyelyawaddewo okusaba nga lyagaala esalawo ku muvubuka agamba nti yagobwa ku mulimu olw’okubeera omunene ennyo.
Omusajja ayogerwaako alina kilo 160 era ng’agamba nti yagejja olw’obutafuga mumwa gwe kyokka nga tefunangako buzibu ku mulimu gwe
Ebinasalibwaawo kkooti eno…
Omusawo omukugu mu by’okuzalisa Dr. Tamale Ssali alya butaala.
Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Olive Kazarwe amwejerezza emisango gy’okulagajalira omulwadde naafa bwategezezza nga obujulizi obwaletebwa bwebubadde tebumatiza.
Kazarwe ategezezza nga Doctor Ssali bwatali mukugu mu ndwadde z’ebizimba mu bakayala naye nga omulimu gwe okwolondoola buli kimu ekyali kikolebwa ku mukyala eyafa yakikola nga bwekyali kyetagisa.
Omulamuzi era…
Abasajja bangi obalaba nga bassa essimu mu mpale zaabwe.
Kino kiyinza oyinza okukiraba ng’eky’olusaago, naye abasawo bagamba nti amasimu gano galina engeri gyeganafunayaamu abasajja
Abakoze okunonyereza kuno okukyagenda mu maaso mu mu ggwanga lya America kulaze nti enkaso z’abasajja zikendera zikendeera buli lweberiraanya amasimu era nga kino ssinga omuntu akikola ennyo, kiyinza okuvaako abasajja obutazaala.
Abanonyereza okuva mu…
Okulya enyaanya ng’eriko oluliba lwaayo nga mbisi kiyamba okukuuma omutima nga mulamu bulungi
Abazudde bino bannasayansi okuva mu Bungereza.
Okunonyereza okuzudde bino kukoleddwa ku bantu 72 abaawuddwaamu emirundi ebiri, abamu nebaweebwa enyaanya ate abalala nebaweebwa eddagala.
Kyeraze bulungi nti ababadde balya enyaanya emitima gyaabwe gyabadde miramu bulungi yadde nga tebagasseeko ddagala.
Kati abakugu bano bagenda kwongera okwekebejja ekiri mu…
Abali mu lutalo lw’okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya benyamidde olw’omuwendo gw’abantu abafuna obulwadde bwa mukenenya mu ggwanga
Ng’ayogerako eri bannamawulire mu kibuga, omukulu okuva mu kibiina kya Pharmaceutical Society of Uganda, Brian Bagyenda agambye nti obulwadde bwa mukenenya bungi nnyo mu bavubuka ate nga bangi tebamanyi na ngeri ya kubulwanyisaamu.
Bagyenda agamba nti yadde gavumenti efubye okusomesa abantu…
Abasawo balabuddwa ku kumala gawa abalwadde empeke za Aspirin.
Ekiwandiiko okuva mu ssomero ly’abakugu ku byobulamu erya National Institute of Health and Care Excellence kitegeezezza nga Aspirin bw’alimu ebirungo ebireeta entunnunsi era nga bwegutuuka ku Muntu alina obulwadde bw’omutima asobola okufa ekikutuko
Bagamba nti omuntu okuweebwa Aspirin alina okusooka okwekebejjebwa okukakasa nti omutima gwe teguliiko buzibu bwonna.
Aspirin…