Essuubi litandise okulabikako nti obulwadde bwa mukenenya buggya kuba bukkakkanyiziddwa omwaka 2030 wegunaatuukira
Bino biri mu alipoota eyafulumiziddwa ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku bulwadde bwa mukenenya
Alipoota eraga nti omuwendo gw’abantu abafuna obulwadde bwa Mukenya n’abafa guzze gukendeera
Wabula ekibiina kino kigamba nti kino ssikyakujjira ku mukeeka nga kyetaaga kukola nnyo okulaba nti kituukirira n’obutaddirira.
Wabula kkyo ekibiina kya…
Obukiiko bw’ebyaalo obukola ku byobulamu busabiddwa okukolagana n’abasawo kko n’abakulembeze abalala okusomesa abakyala abalina akawuka ka Mukenenya ku ngeri y’okuzaalamu abalamu.
Mu ngeri yeemu era bano basabiddwa okusomesa abakyala ku ndwadde z’ekikaba
Omukwanaganya w’emirimu mu kibiina kya Mayanja memorial foundation ekiri e Ibanda Juliet Kyomuhendo y’akoze okusaba kuno bw’abadde aggulawo eddwaliro lye Bufunda health center three.
Kyomuhendo asabye…
Abatunda emichomo ku makubo nebiribwa ebirala babayimiriza mu kibuga kye Kakiri okumala ebbanga eritali ggere.
Kino kikoleddwa okulaba nti bonna bazooka kuwandiisibwa n’okwekebejjebwa okulaba nti tebafuuka ate ba bulabe eri abantu beebaguza ebintu byaabwe.
Akulembedde ekibinja kyabasawo okuyimiriza abantu bano, Emmanuel Batemyetto agambye nti kibadde kizibunnyo okumanya ani yaani mu kale ng’okwewala ebizibu kuyimiriza bonna babawandiise buto.
Abavubuka…
Alipoota efulumiziddwa eraga nti ku buli bavubi ekkumi b’osanga , bana ku bbo babeera n’obulwadde bwa Mukenenya.
Okunonyereza kuno kukoleddwa ekibiina kya International Organization for Migration, nga kituuse mu disitulikiti mukaaga okuli Apac, Wakiso, Kasese, ne Masaka.
Bangi kyeyolese nti abavubi bano bakimanyi nti siriimu atta kyokka bwebatuuka mu bikolwa ssibwebeyisa
Omu ku banonyereza abakulu Dr. Bernadette Ssebaduka…
Akeediimo k’abasawo mu malwaliro ga KCCA kayingidde olunaku olwokubiri nga era abalwadde bakyakonkomadde awatali basawo babajanjaba.
Kanaluzaana, misaala kulwayo
Wano ku ddwaliro lya Kisenyi abasawo batudde ku bifuji balasa luboozi awatali kufa ku balwadde abasinda era nga bwekyabadde olunaku olw’eggulo abakyala b’embuto bebasinze okubonabona.
E Kawala embeera yeemu ne kuddwaliro lya Kiswa.
Olunaku olw’eggulo aba KCCA basuubizza okusasula emisaala…
Ekitongole ekikola ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kiteekateeka okukyuusa mu ddagala ly’ekijja ebweru okujjanjaba ebisolo.
Akulira ekibiina kino Gordon Ssematiko agamba nti bafunye amawulire nti eddagala erimu ku lyebayingiza terikyakola ku ndwadde ezimu
Ono agamba nti eddagala erimu nga acaricides eririna okukozesebwa okutta enkwa libadde terikyakola.
Kino kikakasiddwa mu disitulikiti eziwerera ddala 14 okuli Kiruhura,Isingiro,Mbarara…
Bannasayansi okuva mu Bungereza basemberedde okutuuka kun kola entangaavu enabayamba okukebera abantu obulwadde bw’okuwutta
Okunonyereza okukoleddwa ku bantu abasoba mu kikumi kulaga nti abasawo basobola okumanya oba omuntu atandise okuwutta nga batunuulira ekirungo kya Protein ky’alina mu mubiri gwe
Ebizuuliddwa abasawo bagamba nti byakubayamba okumanya engeri y’okukwatamu abantu abalina ekizibu kino nandiki n’engeri y’okukyewalamu
Wabula abakugu bano bagamba…
Omubaka akiikirira abantu be Bujumba mu disitulikiti ye Kalangala Fred Badda alaze obwenyamivu olw’obulwadde bwa mukenenya obukyaali waggulu mu kitundu kye
Omubaka okwenyamira akulaze akyaddeko ku kalwaliro ka Health center 4 e Kalangala gy’alaze okugaba bulangiti n’ebikozesebwa abasawo ebirala
Badda agamba nti yadde abasawo ne bannakyeewa bakoze ekimala okusomesa abantu ku ngeri y’okwewalamu obulwadde buno, abantu kirabika…
Kkooti enkulu mu kampala ewadde abe Mulago omukisa ogusembayo okuteesa n’abazadde ababulwaako omwana waabwe.
Bano balina okukola kino obutasukka nga 29 omwezi guno nga ssinga bagaana omusango gwakutandika okuwulirwa mu kkooti.
Kigambibwa nti Jennifer Musimenta ne bba Michael Mubangizi babulwaako omwana waabwe mu ddwaliro e Mulago mu ngeri etategerekeka
Bano bagamba nti bazaala abaana nga balongo nebabagamba nti…
Ba naasi okuva mu ddwaliro e Mulago beekubidde enduulu eri palamenti nga bawakanya eky’okugobwa mu mayumba g’abasawo
Nga bakulembeddwamu Rose Naafa, ba naasi bano bagamba nti kikyaamu okubagoba okuva mu mayumba gano nga tebabawadde na webadda
Abasawo bano nno basonze mu bakulu ku ddwaliro e Mulago beebagamba nti abayumba gaabwe bagaala kugassaamu kifo awasula abayiga obusawo kubanga…