Ebyobulamu
Ebola atabuse- omusawo afudde mu Nigeria
Obulwadde bwa Ebola bwongedde okutabuka. Mu ggwanga lya Nigeria, Omu ku basawo abaakola ku musajja enzaalwa ya Liberia alina obulwadde buno afudde Omusajja gweyakolako yafiira mu kibuga Lagos ssabbiiti bbiri e Mabega Minisita wa Nigeria akola k byobulamu akakasizza okufa kw’omusawo ono. Omusawo ono afudde […]
Abaafa mubookye- Liberia
Gavumenti mu ggwanga lya Liberia eragidde nti abantu bonna abafa obulwadde bwa Ebola bookyebwe Kiddiridde abantu abasinga okugaana okwewala abafudde obulwadde buno ekibwongedde okubuna Mu ggwanga lya Nigeria nno era obulwadde buno butuuse nga waliwo omusawo abufunye Obulwadde bwa luno bwebwakasinga okuba obubi era nga […]
Enkambi y’abalina Ebola
Ng’eggwanga likyagenda mu maaso n’okwerinda ekirwade kye Ebola omusasi waffe Daina Wanyana aliseko mu ddwaliro e Mulago, okulaba engeri eddwaliro gyeletegesemu. Bw’otuuka ku nkambi eno yadde wasaawe bulungi, kirabika nti ddala tebaddeemu Muntu Amatundubaali amakadde geegakwaniriza n’olukomera lwa sengenge olwassibwaawo nalyo lukutuse Wabula omwogezi w’eddwaliro […]
wiiki y’okuyonsa etongozeddwa
Minisitule y’ebyobulamu eteekateeka okussa envumbo ku kutunda emmere y’abaana ennongoseemu mu malwaliro Minisita y’ebyobulamu Dr Ruhakana Rugunda agamba nti abantu abatunda emmere eno bakozesa olulimi lwonna olw’ebyobusuubuzi nga bagamba nti emmere nnungi nnyo eri abaana nebwebatayonsa ekintu ekijje abakyala ku kuyonsa abaana baabwe Rugunda agamba […]
Okunywa omwenge mu bakuliridde kutta obwongo
Okunywa omwenge mu bantu abatandise okukulirira kutta obwongo bw’omuntu n’afuna ekizibu ky’okwerabirarabira Okunonyereza okukoleddwa mu America ku bakyala n’abaami ab’emyaka 50 ne 60 kulaga nti abo abanywa omwenge babadde batandise okwerabirarabira Abanonyereza bano bagamba ntie kyamangu kirina okukolebwa okutaasa abantu abagwa mu kkowe lino kubanga […]
Okulya ebibala n’ebivavava kiwangaaza
Okunonyereza okuggya okukoleddwa kulaga nti ssinga omuntu alya ebibabala n’ebivavava okumala ennaku ttaano ez’omuddiringanwa, kimuyamba okwekuuma nga mulamu n’obutagejja nnyo kyokka nga ssinga omuntu alya nnyo tekikola nga bwekirina kuba Okunonyereza kuno kukoleddwa mu mawanga agatali gamu 16 kulaga nti endya bw’eti ekendeeza obulabe bw’omuntu […]
Eteeka ku kondomu mu loogi lijje
Ab’obuyinza e Masaka bagaala tteeka erinaakola ku bannanyini ma loogi abatalina bupiira bugalimpitawa Bandowooza nti loogi zino zandibadde zisasula engassi ya mitwalo kkumi nga kw’otadde n’okusibwa Amyuka SSentebe wa disitulikiti ye Masaka,Jamil Miwanda agamba nti kino kyekyokka ekiggya okuyamba okukendeeza ku siriimu atambula nga ttabu […]
Okunyiiga kulwaaza
Obadde okimanyi nti okunyiganyiiga bulwadde. Omusawo w’emitwe mu ddwaliro ekkulu e Mulago, Dr Samuel Mugamba agamba nti abantu abanyiiga amangu babeera n’obuzibu mu mbeera zaabwe era kibakoseza ddala. Dr Mugamba agamba nti omuntu okunyiiga kimuviirako okusiba emisuwa , okulumwa omutwe n’omutima okukuba ennyo eky’obulabe ennyo […]
Eddagala erigema omusujja gw’ensiri lijja
Abakugu okuva mu nsi yonna abanonyereza ku ddagala erigema omusujja gw’ensiri basemberedde okutuuka ku buwanguzi nga bagamba nti omwaka 2015 wegunaatukira, eddagala lino lyandiba nga litandise okukozesebwa Bano bagamba nti byebakagezesaako biraga nti ku buli baana 1000 beebawa eddagala erigema omusujja guno, 800 ku bbo […]
Temwambala mpale na buleega bukadde
Abakyala abasinga obungi bettanira okugula engoye enkadde omuli n’ezo omunda naye okimanyi nti engoye ezo zabulabe eri obulamu bwo. Abakungu mu by’obulamu bagamba nti obuwale obukadde wamu n’obuleega buyinza okuviirako abakyala okulwala endwadde z’ensusu. Omusawo okuva mu ddwaliro ye Mulago Benedict Nassuna, agambye nti obugoye […]