Ebyobulamu

Abalema bafunye ebyuuma

Ali Mivule

September 9th, 2014

No comments

Eddwaliro lye Mulago lifunye ebyuuma ebikozesebwa abantu abalina obulemu ku mibiri nga bibalirirwaamu obukadde 26. Ebyuuma bino biwereddwaayo ekitongole kya rehabilitation worldwide okuva mu Bungereza. Kino kiddiridde abangereza 13 okujja okulaba nga bayambako abalina obulemu okubanguyiza obulamu. Muno mulimu amagulu, emikono, eby’ensingo, n’ebirala bingi Omusawo […]

Abe Mbale basasula mpewo

Ali Mivule

September 9th, 2014

No comments

Akakiiko ka palamenti akakola ku mbalirira y’ensimbi y’omuwi w’omusolo kakunyizza abakungu okuva mu ddwaliro e Mbale olw’ebigambibwa nti babadde basasula abasawo b’empewo. Kiddiridde omubazi w’ebitabo bya gavumenti okulaga nti ensimbi eziweza obukadde 19 zaweebwa abakozi abataliiyo Ssentebe w’akakiiko kano Alice Alaso agambye nti kyannaku nti […]

Okwetta kususse mu nsi yonna

Ali Mivule

September 5th, 2014

No comments

Mu buli sekonda 40, wabaawo omuntu eyetta Bino biri mu alipoota ekoleddwa ekibiina ky’ebyobulamu eky’ensi yonna Mu kadde kano ekibiina kino kigamba nti buno bwebuzibu obusinga mu byobulamu Ekibiina kino kiraze okwenyamira wabula nti amawanga matono agalina enkola ku ngeri y’okulwanyisaamu omuze gw’okwetta. Okunonyereza okuzudde […]

Amawanga ga kirimaanyi tegayambye nnyo ku Ebola

Ali Mivule

September 3rd, 2014

No comments

Amaggye gasaanye okuyingira mu lutalo ku bulwadde bwa Ebola okwetoloola ensi yonna. Abakoze okusaba beeb’ ekibiina kya medicine Medecins Sans Frontieres. Bano balumbye abakulembeze mu nsi yonna obutakola kimala kulwanyisa Ebola Ekibiina kino amawanga ga nagwedda gasuddeyo gwa nnagamba okuyambako amawanga g’obugwanjuba mu kulwanyisa obulwadde […]

Ssente z’envunza ziriwa- Palamenti

Ali Mivule

September 3rd, 2014

No comments

Akakiiko ka palamenti akakola ku byobulamu kagaala gavumenti okussaawo ensimbi z’okulwanyisa envunza mu ggwanga Minisitule ekola ku byobulamu egezaako kulaba nti eweebwa obuwumbi bubiri okulwanyisa obulwadde bw’envunza obwatandika ng’obw’olusaago. Okusinziira ku minisita akola ku byobujjanjabi ebisokerwaako Sarah Opendi, ensimbi zino zakukozesebwa okugula eddagala erifuuyira envunza […]

Abasawo b’ekikulukuto batono

Ali Mivule

September 3rd, 2014

No comments

Omuwendo gw’abakyala abalina ekikulukuto gweyongera buli lukya nga buli lunaku wabaawo omuntu omupya afuna ekirwadde kino Atwala ekiwayi ekikola ku bulwadde bw’ekikulukuto, Dr  Benard Opar kino akitadde ku basawo abamanyi ekirwadde kino abatono nga kizibu abalwadde bonna okukolebwaako Opra agambye nti eggwanga lyonna lirina abalongoosa […]

Eyazaalibwa n’amagulu ataano yewunyisa

Ali Mivule

September 2nd, 2014

No comments

Abasawo bazudde ebipya ku mwana eyazaalibwa n’amagulu ataano nga mu kiseera kino yalongoseddwa bulungi. Okusinzira ku omukugu mu kulongossa okuva ku ddwaliro ekkulu e  Mulago Doctor Nasser Kakembo, omwana yasangiddwa ng’omutiima gwe guli ku ddyo nga ne kibumba kiri ku ludda lwa kkono wabula nga […]

Ebola- abeesogga Uganda bakeberebwa

Ali Mivule

September 1st, 2014

No comments

Ng’ekirwadde kya Ebola kikyayongera okutta abantu ku ssemazinga wa Africa, ministry y’ebigwa tebiraze eyongedde okuteeka obukyakulizo ku banoonyi bobubudamu okuva mu ggwanga lya CONGO abagala okuyingira eggwanga. Kino kiddiridde ekirwadde kino okulumba eggwanga lya Congo era banji bali ku ndiri. Minisitry omubeezi ow’ebigwa tebiraze Musa […]

Ente zezinataasa abasoga kunvunza

Ali Mivule

August 31st, 2014

No comments

E Busoga government esabidwa okuwa abatuuze ente balunde, kino kibayambe okuzigyamu obusa obunaagoba envunza mukitundu kyabwe. Bino byogedwa omubaka Beatrice Rusaniya akiikirira   e kitundu ekya Kiruhura. Ono agambye nti ,nga  ogyeko  abatuuze okufuna amata mu nte zino, bagenda kugyamu obusa bwebanaamaala mumayumba gaabwe okugoba enfuufu […]

Abe Masaka bagaala nsimbi ndala

Ali Mivule

August 28th, 2014

No comments

Ensimbi ezitamala zikyamesezza enteekateeka z’okutumbula empereeza ey’omulembe eri abalwadde mu ddwaliro lye Masaka Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku mbalirira y’ensimbi z’omuwi w’omusolo, addukanya eddwaliro lye Masaka , Dr Florence Tugumisirize agambye nti wadde balina abalwadde bangi, ebikozesebwa bitono nga n’abakozi batono Tugumisirize agambye […]