Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Ebyobulamu

Omusawo bamutadde ku kisenge

Omu ku basawo abakulembeddemu okujjanjaba abalina ekirwadde kya Ebola mu ggwanga lya Liberia assiddwa mu nkambi oluvanyuma lw’omuyambi we okufa ekirwadde kya Ebola Minisita omubeezi akola ku byobulamu mu ggwanga lya Liberia agamba nti omusawo ono bamwawudde mu bantu kubanga yadde talina bubonero bwonna naye okwerinda kikulu Ekibiina ky’ebyobulamu ekyensi yonna kigamba nti abantu abasoba mu 3000…

Read More

Abe Mubende bafunye abasawo

Gavumenti ng’eyita mu minisitule y’ebyobulamu eriko abasawo abakugu 3 b’ewerezza okukola mu ddwaliro ekkulu e Mubende. Abasawo abawerezeddwa mwemuli omukugu mu ndwadde z’amagumba,omukugu mu kunonyereza ku ndwadde ez’enjawulo saako n’omukugu wa x ray. Akulira eddwaliro lino Dr Edward Nkurunziza ategezezza nga bwebatabadde na bakugu bano ekibadde kivirako emirimo gy’eddwaliro obutatambula bulungi ng’abalwadde abasinga basindikibwa Mulago. Ssentebe wa disitulikiti…

Read More

Kazambi akulukuta

Kazambi ayanjadde ku ddwaliro lye Nebbi ekireese okutya nti abalwadde ate bandyeyongera okulwaala Kazambi ono era akulukuta butereevu okutuuka mu mugga Nyacara ate nga guno abantu gwebasenamu amazzi. Omudumu gwa Kazambi ogwaabise gwaddabirizibwa emyaka esatu emabega nga gumase emyaka ebiri nga guli mbeera eno. Omu ku batuuze ku kyaalo Aksi e Nebbi Esther Masendi agamba nti olw’obwaavu ng’abantu…

Read More

Essomero kyadaaki lifunye Kabuyonjo

Kyaddaaki essomero lya Namwaya primary school mu disitulikiti ye Tororo lifunye kaabuyonjo. Kino kiddiridde Olupapula lwa Daily Monitor okufulumya eggulire ery’omwana wa primary one okukalira mu ssentebe wa diditulikiti eno lwassomero lye butaba na kabuyonjo. Messy Omalla yeewunyisa buli omu ku paleedi y’essomero bweyesimbye butoogo maaso ga ssentebe wamubuuza lwaki basoma nga tebalina kabuyonjo. Ssentebe Emmanuel Osuna yasuubiza…

Read More

Olutalo ku sigala lutandise

Gavumenti mu ggwanga lya bufaransa eyanjizza enteekateeka y’omuggundu mw’egenda okuyita okulwanyisa omuze gw’okufuuweeta sigala Bano bagenda kukaka abakola sigala okumussaako ebigambo beimulabula abamunywa n’okusomesa abavubuka Mu ggwanga lya Bufaransa , abavubuka beebasinga okukozesa sigala era nga bangi ate bamufuuweetera mu kinyumu Minisita w’ebyobulamu mu ggwanga lya Bufaransa Marisol Touraine agamba nti bagenda kukoppa ebyakolebwa gavumenti ya Australia mu…

Read More

Muliise bulungi abaana

Abazadde bajjukiziddwa ku bulungi bw’okuwa abaana baabwe emmere erimu ebiriisa byonna nga bawezezza emyezi mukaaga Omusawo w’abaana mu ddwaliro lya MildMay Dr Jane Kaweesi agamba nti abakyala abasinga naddala abasoose okuzaala bagaana okuwa abaana baabwe emmere yadde nga bawezezza emyezi mukaaga kale nga baba babakotoggera. Dr.Nakaweesi agamba emmere kikulu nnyo mu kuzimba omubiri.

Read More

ekikola ebyuuma kizze

Ebyuuma ebifafaafa mu ddwaliro e Mulago byakulongosebwa kati mu bwangu Ekitongole ekikola ku ndwadde ezibuna amangu kifunye emmotoka eriko buno byuuma ebikozesebwa mu kulabirira ebyuuma by’eddwaliro. Akulira ekitongole kino Alex Cotino agamba nti emmotoka eno ebalirirwaamu obukadde 600 yakuyamba mu kulongoosa ebyobulamu kubanga ebyuuma bija kuba bikola bulungi Yye akulira ekkolero lye Wabigalo central maintenance Eng. Sam Wanda…

Read More

Abalongo bannabansasaana bazaaliddwa e Soroti

Waliwo abalongo ba nabansasaana abazaaliddwa mu ddwaliro lye Soroti. Esther Akello ow’emyaka 19 mutuuze ku kyaalo Omulala mu gombolola ye Asuret e Soroti Abaana bano beegattira ku bubina. Atwala eddwlairo lino Dr Emmanuel Batibwe  agambye nti omuwala ono bamuwadde ekitanda olunaku lwajjo ng’olubuto lumuluma kyokka n’alemererwa okusindika,kwekumulongoosaamu abaana bano. Omukyala ono yeetaga obukadde 10 okulongoosa abaana bano kyokk ang’abasawo…

Read More

Abalwadde b’emitwe beyongedde

Omuwendo gw’abantu abatabufu b’emitwe beyongedde mu ggwanga Akulira ekiwayi ekikola ku balwadde b’emitwe mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Sheila Ndyanabangi agamba nti wakati w’omwaka 2009 ne 2012, abantu omutwalo gumu mu kasanvu beebalina ebizibu ku bwongo . Dr.Ndyanabangi agamba nti kino kisinze kuva ku mbeera etali nyangu kweyimirizaawo, enkulakulana n’obukubagano mu maka. Dr.Ndyanabangi ategeezezza nti abantu balowooza nnyo ku…

Read More

Teri Kabuyonjo e Lwengo

Ab’ebyobulamu mu disitulikiti ye Lwengo benyamidde olwa kabuyonjo z’olubatu eziri mu bitundu ebitali bimu Akulira okulondoola ebyobulamu mu disitulikiti ye Lwengo David Mugabi agambye nti okunonyereza kwebaakoze kulaga nti abantu ebitundu 20 ku kikumi beebalina kabuyonjo. Ono agamba nti ebimu ku bifo ebisinga okuba obubi kwekuli Kingo, Kisekka ne Lwengo Rural. Ono agamba nti abantu bangi bakyaama mu…

Read More