Waliwo omusawo akwatiddwa ng’abba eddagala lya gavumenti okuva mu ddwaliro lye Kawolo- Lugazi.
Akwatiddwa ye Hadijah Namutebi ng’asangiddwa ne paketi za Septrin, Coatem , amaganduula agambalwa abasawo abakomola abasajja abiri n’ebirala.
Byonna bibadde mu kalwaliro ke aka Mukisa Drug shop nga kasangibwa Namengo Lugazi mu disitulikiti ye Buikwe
Omukyala ono musawo mu ddwaliro lye Kawolo kyokka ng’abadde yawummula…
Abasawo abagaba eddagala ekyaamu n’okusigaza eddagala eriyiseeko mu masa byebimu ku bikosa abali mu mulimu gw’okutunda eddagala.
Ng’aggulawo omusomo gw’abali mu by’eddagala ,akola ku gw’okulondoola ebyobulamu n’engaba y’eddagala Dr Diana Atwine agambye nti abasawo bangi mu malwaliro ga gavumenti tebagaba ddagala ekiriviirako okuyitako.
Dr. Atwine agamba nti abasawo abamu era bagaba eddagala erisukka mu limu ate nga…
Abakyala 13 beebafa buli mwezi mu disitulikiti ye Mayuge
Abakyala bano bafiira mu mikono gya ba mulerwa
Bino biri mu kunonyereza okwakoleddwa ettendekero lye byobulamu e Makerere era ng’okufa okusinga kuva ku kuvaamu omusaayi omungi n’ebizibu ebijjawo awo mu kuzaala
Omu ku banonyereza Betty Kawala, nti buli gombolola lifaamu omukyala buli mwezi ate ng’awamu basukka nawo.
Kawala agamba nti…
Abantu abali mu mitwaalo 10 beebakeberebwa ekirwadde kya Ebola ku kisaawe Entebbe bukyanga kukebera kuno kutandika mu mwezi gw’omunaana.
Omukulu ku minisitule y’ebyobulamu Dr. James Sekajugo agamba nti ku bano 15 beebekengera kyokka ng’oluvanyuma basiibulwa oluvanyuma lw’okukakasa nti ssi balwadde
Omulimu guno gwakamalawo obukadde 20 ezakozesebwa mu kugula ebisabika byebakozesa okukebera abantu n’okusasula abakozi.
Yye omukulu mu kitongole…
Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga olwaleero bagenze mu maaso n’okulambula amalwaliro ng’olwaleero bagenze Iganga
Ekigendererwa mu kino kumanya bya bulamu nga bwebiyimiridde n’engeri y’okuyambako
Kati omu ku babaka, Godfrey Kiwanda agamba nti ebyobulamu bikyetaaga ensimbi kubanga ebyuuma ebimu tebikola
Ono era agamba nti n’obwaavu bungi ng’abantu batuuka okugenda mu ddwaliro nga tebalina byetaagisa
Yye nno omukulu mu kibiina kino…
Spiika wo lukiiko olukulembeera disitulikiti ye kyegegwa John Lugumaye Kalega alaze obweralikirivu olw’abasawo mu malwaliro ga gavumenti abasusse okwebulankanya nga ku mirimo.
Kino kidiridde abalwadde na bajanjabi mu dwaliro lya Kyegegwa heath centre 4 okwekubira enduulu eri abakulembeze mu disitulikiti ku butakolwako.
Kati Lugumaye agamba nti agenda kunonyereza ku nsonga eno era abanasongebwaako bakuggulwaako emisango.
mu dwaliro lino…
Ssentebe wekibiina ekigata abasima zaabu mu gombolola y'ekitumbi emubende Edward Ssenfuma alaze obwerarikirivu olwembeera y'ebyobulamu mu birombe ebisimwamu zaabu mu kitundu kino.
Senfuma tebalina kabuyonjo zimala ng’abantu abamu beyamba mu nsiko ezibetoloodde ekiyinza okuvirako endwadde ezobulabe eri abantu mu kitundu kino.
Ono agamba nti n’ebikolwa ebyobwenzi ebisusse mu birombe bino byoolese okwongera ku muwendo gw’abantu abalina ekirwadde…
Abakyala 11 okuva mu ggwanga lya Buyindi bafudde bwebabadde balongoosebwa okukomezebwa okuzaala
Bano balongooseddwa mu nkambi ekubiddwa okutumbula eky’okukomya abakyala okuzaala mu kawefube w’okukendeeza ku muwendo gw’abazaalibwa
Abali mu 50 bali mu bitanda nga ku bano 20 bali bubi
Abakungu mu minisitule ekola ku byobulamu bana beebawummuziddwa olw’ekibaddewp
Mu ggwanga lya Buyindi, abakyala bakugirwa nnyo okuzaala kyokka nga bangi…
Omuwendo gwabantu abafuna ekirwadde kya Ebola mu bugwanjuba bwa Africa gukendedde
Ekibiina ky’ebyobulamu ekya MSF kigamba nti kino kivudde ku malwaliro agajjanjaba abantu agawerako n’abasawo nga kati obukodyo bwebulina okwongerwaamu
Bano bagamba nti kyetaagisaawo ekibinja ky’abakugu abakola ku baba bafunye obulwadde mu bwangu nga tebannatabuka
Eggwanga lya Liberia lyerisinze okukosebwa ekirwadde kya Ebola ekitawaanya n’ababeera mu Guinea ne…
Nga kyakalangirirwa nga ekirwadde kya Marburg bwekiwedde mu ggwanga wabaddewo akasattiro mu tawuni ye Kasese oluvanyuma lw’omusajja abadde n’obubonero obwefananayirizaako ekirwadde kino .
Olunaku olwogulo minisitule y’ebyobulamu y’alangiridde nga Uganda bwetakyalimu Ebola.
Wabula e Kisagazi Alazio Bitaka yeralikirizza ababadde okumpi oluvanyuma lw’okusesema omusaayi nga n’obubi bwe bubaddemu omusaayi era ab’enyumba ye bonna bamudduse nga era abasawo okubva…