Ebyobulamu
Teri mifaliso Kabale
Ab’obuyinza e Kabale bayisizza ekiragiro ekiyimiriza abalwadde n’ababalabirira okutwaala emifaliso nga baweereddwa ebitanda. Kino kikoleddwa kukendeeza mujjuzo. Akulira eddwaliro lye Kabale Dr. Placid Mihayo agamba nti abalabirira abalwadde babadde bayitirizza okwebakiriza mu nkuubo nga n’abamu beebaka wansi w’ebitanda by’abalwadde. Eddwaliro lye Kabale lifuna abajjanjabi abawera […]
Etteeka ku bujjanjabi bujja
Ababaka mu palamenti basemberedde okumaliriza enteekateeka z’okubaga etteeka erinasobozesa abantu okufuna obujjanjabi nga bwekirina okuba. Omubaka we Kigulu mu bukiikaddyo Milton Muwuma agamba nti ebbago ly’etteeka lino likyetegerezebwa ekitongole kya gavumenti ekola ku by’amateeka olwo balyooke balireete Muwuma agamba nti etteeka lino lijja kusobozesa abantu […]
abazaalisa beekalakaasizza
Ba naasi n’abazaalisa abasoba mu 130 olwaleero beekalakaasizza nga bakumba okuva ku ddwaliro ekkulu e Mulago okutuuka ku minisitule y’ebyobulamu Ensonga ya musaala Abasawo bano bagamba nti bamaze emyezi mukaaga nga tebasasulwa bukyanga bassa mikono ku ndagaano y’omwaka omulamba okukolera eddwaliro e Mulago. Abasawo bano […]
Obunene bulwadde
Okubeera omunene ennyo kitoola ku buwangaazi bw’omuntu emyaka munaana. Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti ate ssinga omuntu ava buto nga munene kikosa obulamu bwe n’obuwangaazi. Abakoze okunonyereza nga bava mu kibuga Montreal ekya Canada bagamba nti obunene bwongera ku ndwadde ezitali zimu omuli ey’omutima, sukaali,puleesa n’endala […]
Ab’endwadde ezitawona tebaggwaamu ssuubi
Abantu abalina endwadde ezitawona basabiddwa obutaggwaamu ssuubi bagende mu malwaliro okufuna obudabuudibwa Omukulu mu kibiina kya Hospice Africa Uganda, Dr. Eddie Mwebesa agamba nti obujjanjabi buno buzze buleetebwa amalwaliro agatali gamu kyokka ng’abalwadde bano abagendayo batono ddala. Dr. Mwebesa agamba nti abalina endwadde nga mukenenya […]
Akawuka ka siriimu kanafuye
Bannasayansi bazudde nti akawuka ka mukenenya kazze kanafuwa nga kati tekakyatta nga luli era nga ssi nakyangu kukwata mangu Abazudde bino beeba Yunivasite ya Oxford eraga nti akawuka kano kanafuye Akawuka kano era kalwaawo kati okunafuya omuntu nga bano bagamba nti kino kyakuyamba nnyo ku […]
TB yeeyongedde
Omuwendo gw’abalwadde bwa TB ogweyongedde mu disitulikiti ye Lira gutandise okweralikiriza abasawo Ebivaayo biraga nti disitulikiti eno terina waadi zissibwaamu bantu balina kafubo kale nga kyangu okusiiga ate abatabulina. Addukanya emirimu gy’ekibiina kya Pentecostal Assemblies of God health unit Benjamin Okwir agamba nti disitulikiti yonna […]
abavuganya basiimye gavumenti ku Ebola
Akulira oludda oluvuganya gavumenti asiimye gavumenti olw’omulimu gw’ekoze mu kulwanyisa obulwadde bwa Ebola ne Marburg Ng’ayogerako eri bannamawulire ku palamenti, Wafula Oguttu agambye nti minisitule yakola bulungi okwanguwa mu kuddukirira embeera ng’essaawo okukebera abantu ku kisaawe Entebbe ne ku nsalo. Ono agamba nti Uganda efuuse […]
Museveni alabudde ku mukenenya
Pulezidenti Museveni asabye abavubuka okussa envumbo ku by’okwegadanga bwebaba bakulwanyisa mukenenya Bino pulezidenti abyogedde ayogerako eri abantu be Kabarole abakungaanye okwetaba ku mikolo gya mukenenya. Pulezidenti agambye nti ssinga abavubuka beekuma nebewala okwegadanga okutuuka nga bafumbiddwa oba okuwasa kijja kuyamba nnyo. Mu kampala emikolo gy’olunaku […]
Kizaala ggumba asakiriddwa
Gavumenti etaddewo obuwumbi 622 okuyamba okutuusa enkola za kizaalaggumba ku bantu okwetoloola eggwanga. Minisita akola ku by’obujjanjabi obusookerwaam Sarah Opendi agamba nti ensimbi zino zakukozesebwa mu myaka etaano egijja nga buli mwaka obukadde 39 zeezijja okukozesebwa Opendi agamba nti ekigendererwa kyaabwe kwongera ku muwendo gw’abantu […]