Ebyobulamu

Okwebaka kikulu

Ali Mivule

January 14th, 2015

No comments

Ekimu ku bisinga okuyamba abaana okukwata byebasoma kwekwebaka. Okunonyereza okukoleddwa ku baana 216 kulaze nti abaana abeebaka bakwata mangu ate tebeerabirarabira Abakoze okunonyereza kuno bavudde mu America ng’era bawadde abazadde amagezi okufissaawo akadde basomere abaana baabwe emboozi nga bagenda okwebaka. Bano bagambye nti okwebaka kikulu […]

Ow’emyaka 3 ameze amabeera asobola okuwona

Ali Mivule

January 12th, 2015

No comments

Omwana ow’emyaka 3 eyameze amabeere n’okugenda mu nsonga yamazeeko buli omu ebyewangula. Omwana ono nga bakadde be babeera Lwengo alina buli mbeera abakulu gyebayitamu era abantu bamufudde kyakwolerera Ebireeta embeera eno bingi naye ekirungi nti ewona Omusawo omukugu mu nsonga z’abaana Dr. Jessica Nsugwa agamba […]

Okugema Polio kuddamu wiiki eno

Ali Mivule

January 12th, 2015

No comments

Oluvannyuma lw’ekirwadde kya polio okweyongera mu ggwanga nga kisibuka ku bantu abayingira eggwanga okuva mu mawanga maliraanwa ministry y’eby’obulamu ng’eyita mu kitongore kyaayo ekirwanyisa naganga wa polio etandise enteekateeka y’okuddamu okugema abaana bonna abali wansi w’emyaka etaano nga  mu district y’e Mubende y’emu kwezo ezitandikirwako […]

Nsalessale ku bigendererwa atuuse-bitono ebikoleddwa

Ali Mivule

January 12th, 2015

No comments

Ng’ensalessale w’ebigendererwa by’ekyasa esemberera, gavumenti esongeddwaako olw’obutakola kimala kutuukiriza bigendererwa bino. Omukungu mu kibiina ky’obwa nnekyewa ekya World Vision James Kintu agamba nti mu bisinze okulemerera gavumenti mwemuli omuwendo gw’abakyala abafiira mu sanya ogweyongera buli lukya Kintu agamba nti kyenyamiza nti abakyala 17 bafa buli […]

Balongooseddwa

Ali Mivule

January 12th, 2015

No comments

Abalwadde abasoba mu 1000 beebalongoseddwa mu nkambi ekubiddwa ku ddwaliro lya Mutakoha erisangibwa e Mbarara. Okulongoosa kuno kukulembeddwaamu Dr. Yvonne Ying ne Dr. Reid okuva mu Canada. Omukugu mu by’okulongoosa abantu abalina obulemu ku ttendekero ly’ebya sayansi e Mbarara Dr. Justina Najjuka agambye nti basinze […]

Abasoma obusawo bakyediimye

Ali Mivule

January 7th, 2015

No comments

Abasoma obusawo e Mulago olwaleero bagenze mu maaso n’okwediima kwaabwe era nga bagamba nti teri kudda ku mirimu okutuuka nga basasuddwa. Abasawo bano batadde wansi ebikola olunaku lwajjo nga nabe ava ku butasasulwa okumala emyezi 3 Abasawo bano abayiga abasoba mu 150 bagamba nti basanze […]

Okugezesa eddagala lya Ebola kutandise

Ali Mivule

January 7th, 2015

No comments

Okugezesa eddagala erinayamba okujjanjaba obulwadde bwa Ebola kutandise mu ggwanga lya Liberia. Eddagala lino erimanyiddwa nga Brincidofovir  ligezesebwa ku balwadde ba Ebola abeewaddeyo bokka Bbo abatakkiririza mu ddagala lino tewali akakakiddwa nga baweebwa ddagala lya bulijjo okubakkakkanya. Bannasayansi okuva mu yunivasite ye Oxford abaakulemberamu okunonyereza […]

Eddagala ly’embwa libuze Karamoja

Ali Mivule

January 7th, 2015

No comments

Abantu mu bitundu bye Karamoja basattira lwabbula lya ddagala lyabulwadde obuva ku kulumibwa embwa. Embwa nyingi ziri mu ggobe mu bitundu bino nga era banji balumiddwa wabula olutwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Moroto bavaayo tebafunye bujanjabi olw’ebbula ly’eddagala ly’obulwadde bwa rabies. Omu ku basawo mu […]

Eby’okucanga abaana e Mulago bilinnye enkandaggo

Ali Mivule

January 6th, 2015

No comments

Waliwo ekibinja ky’abasawo nga kwogasse abalwanirira eddembe ly’obuntu abalumbye eddwaliro ekkulu e Mulago nga baagala okunyonyolwa lwaki okucaangacanga abaana mu ddwaliro lino kususse nga abazadde baweebwa n’abaana abatali baabwe. Kino kiddiridde omwami  Fred Sunday ne mukyaalawe  Province Atwongire okulumiriza nga bwebaweebwamu omulambo gw’omwana omulala mu […]

Obulwadde bwa Hepatitis B butabuse

Ali Mivule

January 6th, 2015

No comments

Abakulembeze mu disitulikiti ye Paliisa balaze okutya olw’abantu abalwaala ekirwadde ky’ekibumba ekya Hepatatis B okweyongera. Okusinga amagombolola okuli   Petete, Opwateta ne  Kameke gegasinze okukosebwa nga era abantu 10 bebalwala ekirwadde kino nga 3 baba bayi. Akulira eby’obulamu mu mu disitulikiti eno  Anthony Kalele agamba ekisinga […]