Ebyobulamu
E Mulago teri sikaani
E Mulago ekyuma kya sikaani ekyafa mu ddwaliro e Mulago kirese abalwadde bangi nga basobeddwa. Jennifer Namwebe ow’emyaka 25 yomu kubalwade e Mulago, atutegeezeza nti atubidde n’omwana we ow’emyaka esatu eyafuna obuvune ku bwongo. Namwebe agamba nti abalwadde abalala babasindise Namirembe ne Lubaga kyokka nga […]
Okugezesa eddagala lya Ebola kutandise
Ettendekero lye Makerere litandise kawefube w’okugezesa eddagala erigema obulwadde bwa Ebola Ekigendererwa kya kutegeera engeri eddagala lino gyeriyinza okukolamu ate nga terikosezza bantu Akulira essomero lya Makerere University Walter Reed project Hannah Musoke agambye nti bagenda kugereza ku bantu 90 abali wakti w’emyaka 16 ne […]
Kokoolo alina akakwate ku bitundu
Eddwaliro lya kokoolo mu Uganda limenye ebika bya kokoolo n’engeri gy’akosaamu ebitundu ebitali bimu Bano batunuulidde kokoolo ow’’omu lubuto, ow’ekibumba n’owa mayuuga ng’ono asinga kukwata baana Omusawo omukugu okuva mu ddwaliro lya kokoolo Dr. Fred Okuku agamba nti abadde ababeera mu bitundu bya WestNile bafuna […]
Akawuka ka Ebola kakyuuse
Banasayansi abalondoola ekirwadde kya Ebola mu ggwanga lya Guinea bategezezza ng’akawuka akaleeta ekirwadde kino bwekatandise okukyuuka mu nkula yaako. Abakugu bano ku ttendekero lya Pasteur mu ggwanga lya Bufaransa baagala kati kumanya oba akawuka kano kati keyongedde amaanyi mu kukwata okuva ku Muntu omu okudda […]
Ebifo ebikebera endwadde bitono nnyo
Minisitule y’ebyobulamu yakwongera ku bifo ebikeberebwaamu endwadde ezitali zimu. Kino kiddiridde okwemulugunya nti ebifo bino bitono ddala ekikereeya obujjanjabi kubanga okukeberebwa kuba tekunnakolebwa Kamisona akola ku kuziyiza endwadde, Alex Opio agamba nti bandyagadde okubeera n’ekifo ekikeberebwaamu endwadde mu buli disitulikiti kyokka nga tekisoboka Dr Opio […]
Ekyuuma ky’abe mbuto kituuse
Eddwaliro lye Mulago lyakufuna ekyuuma ekinakola ku ndwadde ezitali zimu ezikwata ku by’okuzaala by’abakyala. Akulira eddwaliro lino Dr. Byarugaba Bateerana agamba nti mu kuddabiriza eddwaliro lye Mulago okugenda mu maaso, essira lissiddwa ku nsonga za kuzaala bya bakyala. Dr.Bateerana agamba nti ebyuuma ebisinga ebiri mu […]
Sukaali mubi ku mutima
Abakugu bazudde nti omuntu nebw’abeera ne kasukaali akatono mu mubiri naye ng’atandise okulirira,kimussa mu bulabe bw’okulwalira ddala omutima Kino kikwata ku bantu abali wakati w’emyaka 35 ne 55. Kino kiva ku nsonga nti buli Muntu lw’agatta emyaka 10 ku bulamu bwe ayongera okunafuwa Abasawo abatunuulidde […]
Omusaayi tegumala mu ggwanga
Eggwanga lyetaaga yuniti z’omusaayi lukumi buli mwezi okumalawo ebbula ly’omusaayi mu ggwanga Akulira ekitongole ekikola ku kugaa omusaayi ekya Uganda Blood Transfusion services Dr. Dorothy Kyeyune agamba nti ku guno bafuna yuniti 800 zokka Kyeyune agamba nti omusaayi gwebakungaanya ebitundu 60 ku kikumi baguwa baana […]
Abasawo tebamala
Akakiiko akakola ku byobulamu kagaala minisitule y’ebyobulamu okujjawo natti gyeyassa ku kuwandiisa abasawo mu ggwanga Akulira akakiiko kano Dr. Pius Okong ategeezezza sipiika wa palamenti nti kino kikosezza emirimu kubanga abasawo batono ate nga tebasobola kuwandiisa bapya. Dr. Okong agamba nti amasomero g’abasawo gafulumya abayizi […]
Abakyuusa emibiri gyaabwe bakendedde
Omuwendo gw’abantu abalongoseebwa okugezza oba okukozza ebitundu by’emibiri gyaabwe gukendedde mu Bungereza Ekibiina ekigatta abasawo abakola okulongoosa kw’ekika kino beebafulumizza alipoota eraga nti mu mwaka 2014 abantu emitwalo ena n’ekitundu beebalongoosebwa okuva ku mutwalo etaano mu mwaka gwa 2013. Okugezza amabeere n’okusongoza enyindo byebasinga okwettanirwa […]