Bannakampala batandise okwekuniza ng’amafumbe olw’obutabaawo kabuyonjo
Kino kiddiridde KCCA okuggala kabuyonjo zaayo ezimu okusobola okuziddabiriza
Kabuyonjo eziggaddwa kuliko eri ku kibangirizi kya ssemateeka ne ku kkanisa ya KPC.
Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba wabula asabye abantu okusigala nga bakkakkamu okutuuka nga bamaze okulongoosa
Kabuyonjo za KCCA za bwereere kyokka nga ez’obwannanyini zzo za 200 ne 300 okusinziira w’oli
Obadde okimanyi nti okunywegeera omuntu kiyinza okukuleteera ekirwadde kya Hepatitis B?
Abasawo bagamba nti yadde kuno kukkakkanya omutima, kutambuza mangu obulwadde bunoo kubanga akawuka akabuleeta katambula mangu
Wilson Muhumuza omusomesa ku ddwaliro ly’abasawo e Mulago agamba nti obulwadde buno okunywegeera tekukoma ku kutambuza bifuba n’amannyo wabula n’obulwadde buno.
Muhumuza agamba nti nga bwekiri ku musaayi, obulwadde buno buyita…
Amaaso kintu kikulu ku mibiri gyaffe naye abantu batono abagafaako ekiri awo
Omusawo mu ddwaliro lye Kibuli Muhammod Elgazar agamba nti omunti yandibadde agera akaseera n’atwaala amaaso ge okukeberebwa okwewala embeera okusajjuka nga tegakyasobola kukolebwaako
Ono agamba nti era amaaso kabonero akayinza n’okusonga ku ndwadde endala kale nga galina okuba amalamu
A sabye abantu okulya obulungi okukuuma amaaso…
Eddwaliro eribadde liyamba ku balina obulwadde bwa mukenenya erya Mild may kati lifuuse ddwaliro eriwedde emirimu nga lyakuwereeza mu buli kimu.
Amyuka akulira eddwaliro lino George Wanishinyi agamba nti eddwaliro lino basazeewo okuligezza okutereeza eby’ebyobulamu e Wakiso n’ebitundu ebiriranyewo.
Omubaka omukyala owe Wakiso Rosemary Sseninde agamba nti eddwaliro lino ligenda kuyamba okuwereeza abantu ate ku nsimbi ensaamusaamu
Embuto ezisoba mu 830 zezigibwamu wano mu ggwanga buli lunaku.
Amawulire gano agawuniikiriza gaasanguziddwa minisita w’eby’obulamu akola ku bujanjabi obusookerwako Sarah Opendi eyategezezza nga abakyaala 30% bwebafiira mu ssanya lwakukwakulamu mbuto ekibaviirako obuzibu.
Ono agamba kikwasa ennaku era n’asaba abantu okuwagira enkola za gavumenti ez’okutumbula enkola ya kizaala gumba.
Omuwendo gw’abakyala abafiira mu sanya mu disitulikiti ye Butalejja gweyongedde nga buli bakyala emitwaalo kkumi abazaala 530 bafa.
Bino byogeddwa atwala ebyobulamu mu disitulikiti Dr. John Bosco Matovu.
Dr Matovu agambye nti wano webasinzidde okuvaayo n’enkola empya egenda okuyita mu ba gombolola 12 agakola disitulikiti eno nga basomesa abakyala n’abasawo ku ngeri y’okukendezaamu ekizibu kino.
Enteekateeka eno ey’emyaka…
Okunonyereza okukoleddwa mu mawanga ga bulaaya kulaga nti abakyala bangi abali mu myaka egizaala banene nnyo nga kiyinza okubabeerera ekizibu okuzaala
Mu banonyereza kubaddeko ne bannasayansi okuva mu kibuga Edinburg abategeezezza ng’era abaana abazaalibwa abakyala abanene bwebatera okulwaalalwaala
Bano bagamba nti buli mukyala yandibadde alwanyisa omugejjo kubanga gubakosa n’abaana beebazaalibwa
Okunonyereza okukoleddwa mu ggwanga lya SierraLeone kulaga nti ezimu ku nsimbi ezaali ez’okulwanyisa obulwadde bwa Ebola abakulu bazibwebwena
Okunonyereza kulaze nti ensimbi ezisoba mu bukadde bwa dollar 3 n’ekitundu zeezasanyizibwa ng’ate tezirina mbalirira.
Abantu abasoba mu mitwalo 23, beebakafa obulwadde bwa ebola mu mawanga ga West Africa omuli Sierra Leone, Liberia ne Guinea.
Kizuuliddwa nga bannayuganda abasoba mu mitwalo 70 bwebawangaala ne siriimu naye nga tebakimanyi sso nga abalala tebaagala kukkiriza.
Akulira ekibiina ekigabi ky’obuyambi ekya UNAIDS Musa Bungudu agamba abamu bagwa ne ku ndiri wabula nebagaana okukkiriza nti balwadde nga era kino kiviiriddeko obulwadde bwa siriimu okusaasanira ku misinde.
Bungudu agamba ensonga eno ekalubizza olutalo lw’okulwanyisa siriimu mu ggwanga.
Bungudu…
Abantu abasoba mu 3000 beebafunye obujjanjabi ku bwereere mu nkambi ekubiddwa e Buyoga mu Bukomansimbi
Abasawo abatali bamu okuva e Masaka ne mu bibiina ebitali bimu nga Uganda cares, TASO, Kitovu mobile beebakungaanidde ku kkanisa ye Buyoga okujjanjaba abantu nga bakuza olunaku lw’ebyobulamu e Masaka
Mu ndwadde ezijjanjabiddwa kwekuli senyiga, amannyo, emitwe, okukebeza obulwadde bwamukenenya n’okubudabuuda ababulina
Omuwandiisi…