Ebyobusuubuzi
Abasubuzi b’enyama basomeseddwa ku mutondo.
Bya Samuel Ssebuliba. Ekitongole ekikola ku by’emitindo ekya Uganda national bureau of standards kisabye abatunda enyama mu gwanga okufaayo ku by’omitindo gw’enyama, kino kitaase ekifaananyi ky’enyama ya uganda kubutale obw’omunda . Bweyabadde ayogerako eri abatunzi b’enyama akawungezi akayise,amyuka akulira ekitongole kino , nga ono yakola […]
Embalirirwa ya 2018-2019 eyisiddwa palamenti .
Bya Samuel Ssebuliba. Palamenti olwaleero eyisizza embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2018/19 nga eteredwamu omwesedde 32 mu obuwumbi . Embalirirwa eno eyisiddwa erimu obwesedde 9.400 nga zino zakudukanya emirimo gya government, Obwesedde 13 zabyankulakulana, songa obwesedde 10 zakudukanya bitongole bya government. Wabula ye minisita akola ku […]
Abalimi ba vanilla basomeseddwa ku ky’okukuuma omutindo.
Bya Ivan Ssenabulya. Abalimi ba Vanilla wano e mukono basabiddwa okufaayo ku nsonga y’omutindo naddala nga beewaala okukungula akyali omuto. Kuno okulabula kukoleddwa akulira ekibiina ekya UVAN Ltd Aga Ssekalala Jr, nga ono okwogera bino abadde asisinkanye a bantu be Kimennyedde wano e mukono. Ono […]
Banka enkulu egwana kunonyerezaako ku nkozesa yaayo eyensimbi.
Bya Samuel ssebuliba. Ebitongole bya Gavument ebikola ogw’okulondoola ensimbi okuli Palamenti , kalisoliiso wa gavumenti ne ssabalirizi webitabo bya gavumenti basabidwa okutwala akadde beetegereze ebigenda mu maaso munzirukanya ya banka enkulu eye gwanga. Bino bigidde mukadde nga banka eno yaakavaayo okusaba eweebwe obuwumbi 500 nga […]
Okuzimba ebibangirizi by’abannamakolero sibyakuyamba.
Bya Ben Jumbe. Banabyanfuna bakolokose entekkateeka za government ez’okuzimba ebibangirizi by’abanamakolero ebirara okwetoloola egwannga lyonna. Bino bigidde mukaseera nga government eyagala kuzimba ebifo ebiwerere dala 22 ng’omu kukaweefube owokusitula eby’amakolero mu gwanga Twogedeko ne Dr Fred Muhumuza nga ono mukugu mu by’enfuna n’agamba nti bamusiga […]
Kompuni ya UTL yakuweebwa layisinsi ya myaka abiri.
Bya Rutah Kemigisa. Kyadaki Gavumenti t eragidde kampuni eya Uganda Telecom Limited okukwatagana n’akakiiko akakola ku by’empuliziganya balabe bwebayinza okwogezaayo liyinsi yaabwe kati eweze emyaka 20. Bwabadde ategeeza banamawulire ebyakaanyizidwako mu lukiiko lwaba minister minister akola ku by;amawulire nga ono ye Frank Tumwebaze agambye nti […]
Shoprite yakugulawo amatabi amalala abiri mu kampala.
Bya samuel ssebuliba Ssemaduuka wa Shoprite tutegeezedwa nga bwategese okwongera okuggulawo amatabi amalala mu uganda Bino webigiidde nga shoprite yakagulawo etabi edala wano ku Acacia mall,songa era basuubizza nga bwebagenda okugulawo ematabi amalala abiri. Twogedeko n’akulira Shoprite mu Uganda Jayte Slabbert nagamba nti mutabi lya […]
Okutimba enkalala z’abalonzi kutandise.
Bya Ben Jumbe. E Rukungiri ewagenda okubeera okulonda okw’omubaka omukyala owa district agavaayo galaga nga okutimba enkalala z’abalonzi bwekutandise leero olwo abalonzi batandike okunoonya amanya gaabwe, ko n’okumanya abaafa , n’abaasenguka. Entekateeka eno etandise leero, wabula nga yakugendera ddala mu maaso okutuusa nga 9th May […]
Ssabaminisita anyonyodde ekivudeko okulinya kwa seminti mu uganda.
Bya Samuel Ssebuliba. Ssabaminister we gwanga lyatu Uganda Dr Ruhakana Rugunda ategeezeza nga ebeeyi ya seminti okulinya bwekivudde ku bantu abagula seminti okweyongera okulinya buli kadde. Bino bigidde mu kaseera nga abantu abagula cement mu Uganda bakaaba olw’ebeeyi eyewanise nga mu kaseera kano ensawo […]
Banabyanfuna balabude ku musolo gwa Mobile money ne Bank.
Bya Samuel Ssebuliba. E bibiina by’obwanakyewa bisabye gavumenti okuddamu okwetegereza emisolo emipya gyeyagala okuteeka ku banayuganda mu mwaka guno ogwebyensimbi ogujja, kubanga egisinga gyakunyigga banayuganda. Bwabadde ayogera ne banamawulire Nelly Busingye okuva mu kibiina kya SEATINI Uganda , agambye nti emisolo ku mobile […]