Bya Ritah Kemigisa.
Mukaweefube ow’okwongera kubungi bw’emwanyi ezitundibwa e bunayira ekitongole ekikola ku by’emwanyi kitegeezesa nga bwekigenda okusagula obutale obulala mu mawanga aga Maghreb , nga kuno kwekuli China, North Korea and Russia n'amalala.
Twogedeko n'akulira ekitongole kino Emmanuel Lyamulemye n'agamba nti situgaanye emwanyi ya uganda yankizo nyo mu katale k'ensi yonna, naye ate mumawanga agamu tenatuuka,…
Bya samuel Ssebuliba.
Ministry ekola ku by’okuzimba etegeezeza nga bwesuubira okumaliriza okuzimba omwalo gwe Bukasa ogw'okulukalu obutasukka mwaka 2020.
Kinajkirwa nti omulimo guno ogw’okumalawo obukade bwa dollar 180 guludde nga tegutandika nga kino kyava ku batuuze abaali kutaka okusooka okugaana okusenguka
Bwabadde ayanja entekateeka egenda okugobererwa mu kuzimba omwalo guno minister - Eng. Ntege Azuba agambye nti buli…
Bya samuel ssebuliba
Government esabidwa okuwaayo ebitundu 30% ku nsimbi z'esoloza mu motoka enkadde zigende eri ensawo eyatekebwaawo okulwanirira obutonde bwensi emanyiddwa nga environmental fund.
Mukaseera kano government esolooza wakati w'ebitundu 25%- 50% okuva ku motoka enkadde nadala zino entono , songa zo loole mpaawo azinyega.
Twogedeko ne Nelly Busingye nga ono yaakola ku by'emirimo mu kitongole ekya…
Bya Ben Jumbe.
Minister akola ku by’obulimi n’obulunzi omukulu Vincent Ssempija alabudde abalimi bannayuganda okwewala okutunda buli kamere kebalina, kubanga enjala eyinza okubazingako akadde konna.
Ono waavirideyo nga abalimi ba uganda nadala abalina kasooli bamutunda okumulawo, neberabira enjala eboolekedde gyebujja.
Kati minister agamba nti buli alima emere ey’okutunda agwana asooke kufa ku bantube kyebagenda okulya, olwo alyoke atunde.
Bya samuel ssebuliba.
Ekitongole ekiwooza ky'omusolo kitegeezeza nga bwekitagenda kukoma kuyigga motoka ezirudde nga z'ebalama okuwa omusolo mu uganda.
Bino webigidde nga akawungezi akayise ekitongole kino kyakategeeza nga bwekikutte emotoka 52, nga zino zibadde zikozesa enamba engwira, kyoka nga zisusizza emyezi 3 mu gwanga nga bwekiragibwa mu mateeka.
Kati twogedeko ne Ian Lumanyika nga ono yayogerera ekitongole kino…
Bya Ruth Anderah
Kampuni zabanamateeka bbiri, MMAKS Advocates ne AFK Mpanga baddukidde mu kooti ejjulirwamu, okuwakanya kooti yebyobusubuzi eyabagoba mu musango gwa Banka ya Uganda enkulu ne nagagga Sudhir Ruparelia.
Nga 21st December womwaka oguwedde 2017 omulamuzi wa kooti yebyobusubuzi David Wangutsi yagoba banamteeka Timothy Masembe Kanyerezi ne David Mpanga obutaworereza Bank ya Uganda enkulu olwa kyekubiira…
Bya Ndaye Moses
Kampuni yaba-South Africa eya Insure-Sanlam, nga bakola 2% ku yinsure zakuno, mu butongole yeddizza jinaayo eya Lion Assurance Company-Uganda.
Executive wofiisa wa Sanlam mu Uganda Gary Corbit ategezezza nti obuguzi buno bumazeewo obukadde bwa ddoolar 6.5 nga waliwo essuubi nti kigenda kwongerako 1% ku mirimu gya Inrurance mu Uganda.
Aba Sanlam insurance kankano balina emigabo…
Bya Ndaye moses.
Ekitongole ekikola ogw’okutereke ensimbi z’abakozi ekya NSSF kitegeezeza nga bwekigenda okuteeka omulaka ku kwongera ku bungi bwabantu abatereke ensimbi mu kitavu kino mu banga ely’emyaka 5 egigya.
Twogedeko n’akulira ekitavu kino Richard Byarugaba, n’agamba nti mu myaka etaano beetaga abateresi abalala obukadde 5 okubeegatako.
Ono agamba nti mu kaseera kano abantu abalina emirimo 10% bokka…
Bya samuel ssebuliba
Abakugu mu byenfuna bategeezeza nga eby’enfuna bya uganda bwebitandise okukula, wabula nga kino kiri mungeri yakasobo ebitagambika.
Mumwaka gw’ebyensimbi oguwedde 2016-2017 eby’enfuna bya uganda byaakula n’ebitundu 3.9%, wabula nga kuluno ekitongole ekikola ku by’emiwendo kigamba nti byakukula n’ebitundu nga 4%.
Ramadan Goobi nga ono mukugu mu byenfuna agamba nti olwenkuba etonya ensangi zino eby’enfuna bya…
Bya Damalie
Abasuubuzi bembaawo mu Ndeeba bakayukidde Ssentebe wabwe olw’okubagaana okudamu okuzimba ebibanda byabwe ebyakutte omuliro nebigwawo omwatokomokedde emmaali yabwe.
Bano balumiriza Ssentebe wabwe n’olukiiko lwe okubaako ne kyebamanyi ku muliro ogwakwata akatale kano, nga guno gwabadde mulundi gwakutaano.
Kanasala w’ekitundu kino Edirisa Lwanga asasidde abasuubuzi abagiridwa emaali yabwe wabula n’asaba abakulembeze okolagana obulungi n’abasuubuzi bano okwejja mu…