Ebyobusuubuzi
Okulongosa ekibugga kye`Mukono
Abakwasisa amateeka mu kibugga Mukono bakoze ekikwekweto mwebayoledde ebintu byabasubuzi abasangiddwa ku mabbali ge kkubo. Batandikidde mu kabuga ke Wantoni okuyita mu masekatti ga Mukono ppaka e Seeta. Bayodde ebipande ebibaddewo mu bukyamu nga tebisasula musolo, emmeeza zabatunda Chapati naba ttoninyira, abobusimu nabalala bakoseddwa mu […]
Uganda yakutandika okugezesa okulunda ebyenyanja
Gavumenti ya Uganda yakutandika okugezesa okulunda ebyenyanja naddala mu district ye Kalangala nga omu ku Kaweefube gwetandise okuzza amaanyi mu byobuvubi awamu n’okulinyasa omuwendo gwebyenyanja ebijibwa munyanja Nalubaale nga bitundibwa ebweeru we gwanga. Ebyenyanja ebibadde bivubwa mu Nyanja eno bibadde bikeendede nnyo era nga abantu […]
Baddereva mu paaka ye Namayiba batisizza okwegungunga
Baddereva ne bananyini motooka mu paaka ye Namayiba batisizza okwegugunga balagge obutali bumativu kungeri nannyini paaka eno gyabayisaamu. Banno bagamba nti tebakyafuna basabazze olwenkolla nnannyini paaka eno gyeyateekawo ebanyigirizza. Badereva bagamba kublui Mmotoka eya buyonjo ereeta omusabazze mu paaka bagyijaako 3000 songa pikipiki bagyisolooza 2000 […]
Abasuubuzi bakaaba
Abasubuuzi abakolera e mu bitundu bye Nateete bakikidde ekitongole kya KCCA olw’okusengula emidaala gyabwe egyali gyisigadde mu kkubo nga tebawereddwa kiseera kimala. Bano okuli abatunda engoye,engatto ,amabaala n’ebirala bagamba nti baamenya ebizimbe byabwe kyokka nga tewali nakyebakolako wabula bbo nebasigala nga bakaaba. Twogeddeko n’abamu abakoseddwa […]
Mobilo mane wakutereezebwa
Banka y’eggwanga etandise okubaga ku mateeka aganafuga entambuza ya mobayilo mane mu ggwanga. Kino kiddiridde abantu okwemulugunya ku bafere abayingidde enkola eno nga bamaze okunyagulula abawera Omukungu mu Banka y’eggwanga Charles Owinyi Okello agambye nti waliwo amateeka agaliwo agabayamba kyokka nga tegamala Okello agamba nti […]
Omusolo gukaabya abatunda omwenge
Omusolo ogwalinyisibwa mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka guno erabise ng’etandise okukosa abasuubuzi b’omwenge. Bino bibadde mu musomo ogubadde guwaniriddwa ekitongole kya Nile Breweries e Mubende okubangula abasuubuzi engeri gyebalina okuyisaamu bakasitoma baabwe Avunaanyizibwa ku by’ettunzi n’enkulaakulana ya Nile Breweries Ronald Mayanja agambye nti omwenge gwaabwe gavumenti […]
Abavubi ku Nyanja Nalubaale balangiridde okwekalakaasa
Abavubi ku Nyanja Nalubaale balangiridde okwekalakaasa okunasuula nemiti nga bemulugunya ku musolo omugya ogwabatekeddwako. Bagambye bakusitula ebikola byabwe ppaka ku parliament bagala yeeba eyingira mu nsonga. Omusolo guno gugenda kutandika okukola mu mwezi gwomunaana. Balayiriradde obutaddamu kukwata nkasi ssinga gavummenti teyekyusa. Bano okuva ku myalo […]
Essengejjero ly’amafuta lijja
Uganda eteekateeka kuzimba ssengejjero ly’amafuta mu myaka 3 nga eggwanga lyetegekera okutandika okufulumya amafuta mu 2018. Minisitule y’ebyamasanyalaze n’obugagga obukusike era yakuteeka omukono ku ndagaano ne kampuni y’amafuta eya Total okuva e Bufaransa ne Tullow Oil eya Bungereza nga betegekera okutandika okutunda ku mafuta gano […]
Ebyuma by’amata biggya
Gavumenti egenda kutandika okuzimba ebyuuma ebinyongoza amata mu bukiikakkono bw’eggwanga. Kino kibikkuddwa minisita avunanyizibwa ku nsonga z’obulunzi Bright Rwamirama bw’abadde ayogerako eri ababaka ba palamenti ku ngeri gavumenti gy’engenda okwongera ku bungi bw’amata. Rwamirama agambye nti bassaawo dda ebyuuma bino mu bugwanjuba wamu ne mu […]
Omwoleso gutandise
Omwoleso gw’ebyobulimi ogwomulundi 23 guggulawo olunaku olwaleero wali e Jinja. Akuliddemu enteekateeka eno Peter Kisambira agamba ebyokwerinda binywezeddwa buli kimu okutambula obulungi. Mungeri yeemu abagenda okwetaba mu mwoleso guno bategezezza nga guno bweguli omukisa omunene okwolesa ebirime byabwe abantu bongere okubimanya n’okubigula.