Ebyobusuubuzi
Bannayuganda tebagaala kugula dikooda
Yadde nga nsalessale w’okujjako TV ezitaliiko dikooda atuuse, abantu bango tebafuddeeyo kuzigula Abatunda dikooda zino mu ggwanga bagamba nti abantu bakyagaanye okuzigula era ng’eggwanga terinnaba kwetegeka kukyuusa yadde nsalessale wa nga 17 omwezi gw’omusanvu. Kitunzi wa Star Time Aldrine Nsubuga agambye nti abantu bamanyiira nti […]
Akatale ke Gulu gafudde tekannaba kutongozebwa
Embuyaga eyamanyi ebanduddeko akasolya k’akatala k’e Gulu akakyazimbibwa nga era kabalindiridde mukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni okukaggulawo mu butongole ku nkomerero y’omwezi guno. Kino kizze tewanayita na wiiki nga abakulira municipaali ye Gulu kyebajje bazire akatale kano nga bagamba baakazimbye mungeri ya gadibe ngalye nga era […]
Ab’omu kiyembe bakaaba misolo
Abasuubuzi mu kibuga kampala basabye ab’ekitongole ekiwooza ekya Uganda revenue Authority okugereka emisolo nga basinziira ku bizinensi ki. Abasuubuzi okuva mu kiyembe beebakoze okusaba kuno bwebabadde basisinkanye abakugu okuva mu kitongole ekiwooza. Abamu ku basuubuzi betwogeddeko nabo bagamba nti emisolo gimala gagerekebwa gyebigweera nga gikosezza […]
Abasuubuzi beeyawudde
Abasuubuzi mu katale ke Wandegeya basobeddwa oluvanyuma lw’okulonda kwabwe okulangirirwa nti kumenya mateeka Ssentebe w’akatale kano Jonathan Gitta agambye nti bakyetegereza nkalala z’abasuubuzi okumanya abatuufu abaneetaba mu kulonda Wabula bbo abasuubuzi abategese okulonda kuno bagamba nti bagaala kulonda bakulembeze baabwe abanabatwala okukoma okwegayirira abo KCCA […]
Abasuubuzi ewa Kisekka bawangudde
Kkooti eragidde nti abakulembeze mu katale ka Kisekka basasule abasuubuzi olw’okumenya obuyumba bwaabwe Omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe agambye nti bano balina okusasula obukadde 55 eri abafiirwa ebintu byaabwe n’engassi ya kkooti Omulamuzi agambye nti kkooti yali yayisa ekiragiro ekiyimiriza okusenda amaduuka ng’abakulembeze banyooma […]
MTN erajaanye
Kampuni y’amassimu eya MTN ssi mativu n’ekyakakiiko akakola ku by’empuliziganya wano mu ggwanga okubakuba engassi ky by’obutagondera mateeka gabyampuliziganya. MTN y’alagiddwa okusasula obuwumbi 5 nga akakiiko kajilumiriza okunyoomola ebiragiro byako enfunda eziwera. Akakiiko kano kagamba nti bano baalabulwa dda okulongoosa mu network yaabwe,engeri […]
Banka y’eggwanga enalondoola “mobile money”
Banka enkulu ey’eggwanga yakutandika okulondoola enkola ya Mobayilo mane Kino kiddiridde alipoota okulaga nti abantu abasoba mu bukadde omunaana beebakozesa enkola ya mobailo mane. Mu ngeri yeemu era kino kigenda kukolebwa okusobola okukoma ku bagezi ababadde batandise okukozesa enkola eno okunyaga abantu. Akulira banka y’eggwanga […]
KKampuni ya Ice egguddwa
Ekitongole kya Kampala Capital City Authority ktaddaaki kiguddewo ekkolero lya Ice Cream erya Kookee Enterprises Ltd, oluvanyuma lw’emyezi 2 nga ligaddwa. Ekkolero lino lyagalwawo lwabukyaafu omwaka oguwedde. Kkooti enkulu era eragidde KCCA edize ekkolero lino layisinsi y’okuddamu okukakalabye emirimu gyabwe nga okuwulira omusango gwebaawawabira KCCA […]
Abe wa Ksiekka basasulwe
Abasuubuzi bomu katale ka Kisekka basabye kkooti enkulu eragire abakulembeze baabwe babaliyirire obuwumbi 5 nga babalumiriza okumenya emidaala gyabwe mu bukyamu nga ate emidaala gino webaali baggya eky’okulya. Nga bayita mu bannamateeka baabwe aba Brian Kalule, abasuubuzi banjo bategezezza omulamuzi Lydia Mugambe nga okumenya akatale […]
Bannayuganda bakaaba
Bannayuganda abasuubulira mu ggwanga lya South Sudan bazzemu okubanja gavumenti ebazimbire akatale ku nsalo eyawula amawanga gombi. Abasuubuzi bano bagamba nti okubeera n’akatale ku nsalo eyawula amawanga gano kyakubataasa okutibwa n’okufiirwa ebyabwe singa okulwanagana kuddamu mu ggwanga lya South Sudan. Kati ssentebe w’abasuubuzi bano Rashid […]