Ebyobusuubuzi
Abasuubuzi bagaanye okusenguka
Abamu ku basubuuzi ku kibangirizi ky’ekisaawe kye Nakivubo abagobeddwa ekitongole kya KCCA basabye baweebweyo akabanga okutuuka ku nkomerero y’omwaka guno basobole okufuna gyebagenda. Bano abasangiddwa nga bakyalemedde mu buyumba obugambibwa okusengulwa essaawa yonna bagamba KCCA esooke ebaddizze sente za layisinsi zebazze basasula. Bano okugobwa kyaddiridde […]
KCCA egobye abatundira wabweru w’amaduuka
Ekitongole kya KCCA balagidde abasuubuzi bonna abatundira ebyamaguzi byabwe wabweru w’amaduuka okwamuka ebifo bino. Bano baweereddwa omwezi guno nga tegunaggwako okwamuka embalaza z’amaduuka. Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju ategezezza nti baasindise dda abakwasisa amateeka baabwe okubowa ebyamaguzi byonna ebiri ku mbalaza nga era banananyini maduuka […]
Bizinensi endala ziggaddwa
Ab’ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority bazzeemu ebikwekweto ku bepena emisolo mu kibuga Nga bakulembeddwaamu Kibanja wa URA Abdul Salam Waiswa,bano baggadde amaduuka 10 kamukamu plaza ku luguudo oludda Entebbe. Mu gaggaddwa mwemubadde erya Bin-It abayoola kasasiro e Kamwokya ne Abu Jihad Construction Company e […]
Amaduuka gaggaddwa
Ekitongole ekiwooza ky’omusolo kigadde amaduuka 6 wano mu Kampala lwabutasaula musolo. Amaduuka gano gagaddwa wali ku kizimbe kya Energy Centre nga okusinga gabadde gatunda byamasanyalaze. Akulira okukunganya amabanja mu kitongole kino Abdul Salam Waiswa ategezezza nga bwbatajja kukkiriza bantu kukola bzizinesi nga tebasasudde musolo nga […]
Aba Tullow Bagonze ku misolo
Kampuni ensimi y’amafuta eya Tullow Oil Group epondoose n’ekkiriza okusasula ssente zonna ezamagoba ku migabo gyabaguza kampuni ya CNOOC mu 2012. Aba Tullow Oil bajja kuno okusima amafuta wabula oluvanyuma amigabo gyabwe nebagiguza ana CNOOC ab’ekitongole ekiwooza ky’omusolo kuno nebasaba obukakadde bwa ddoola 473 ku […]
Aba biroole beediimye
Abagoba ba biroole abasoba mu 100 beebediimye nebasimba ebimotoka byaabwe ku nsalo ya Uganda ne ne Demokulatiki repabuliki ya Congo oluvanyuma lwa congo okuggala ensalo eno Ba dereeva bano basazeewo okusimba biroole byaabwe nga bikubyeeko ebya maguzi mu kibuga kye Odianyadri mu disitulikiti ye Arua. […]
Embalirira ezunza ababaka emitwe
Nga eggwanga lyetegekera okusomebwa kw’embalirira y’eggwanga wiiki ejja, bannayuganda bangi bakyatakula emitwe nga tebagitegeera bulungi. Mu tteeka eppya embalirira y’eggwanga eyawuddwamu emirundi 2 nga esooka ey’obusiriivu 16 zigenda okukozesebwa mu nkulakulanya ezijja nga era zezigenda okuyisibwa palamenti. Obusiriivu 7.9 zakulabirira bitongole bya gavumenti ebyatondebwawo mu […]
South Africa ebyegaanye
Ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga lya South Africa kyeganye ebigambibwa abanoyereza ku misango mu ggwanga lya Amerika nti baawayo enguzi yabukadde bwa doola 10 okusobola okutegeka ekikopo ky’ensi yonna eky’omupiira mu 2010. Bano bagamba nti okusaba kwabwe kwali kwamazima nga era kwakulemberewamu omugenzi Nelson Mandela […]
Abe Masaka bayigga zakukyaaza bachina
Disitulikiti mu bitundu bya Greater Masaka biyigga obukadde 80 okukyaaza bamusiga nsimbi aba China mu kitundu kyabwe. Ssentebe wa disitulikiti ye Masaka Joseph Kalungi agamba betaaga ensimbi zino okutegeka olukungaana olugenda okwetabwamu abakulembeze okuva mu disitulikiti 8. Kalungi agamba disitulikiti ye y’awaddeyo dda […]
Ebyamaguzi byakusasula ku yintaneti
Ekitongole ekivunanyizibwa ku mutindo gw’ebintu mu ggwanga kitongozza enkola y’okusasula emisolo gy’ebyamaguzi ebiva ebweru weggwanga ku yintaneti. Akulira ekitongole kino Ben Mayindo agamba bakufissa kumpi obukadde nga 100 ezibadde zisasanyizibwa ku mpapula ezetaagisa okuyisamu ebyamaguzi buli mwaka. Agamba era kino kyakukendeeza ku misoso egirina okuyitibwamu […]